Waliwo ekibinja ky’abayisiraamu abagumbye wabweru wa kkooti ye kololo ewavunanibwa banaabwe abaakwatibwa olw’abakulembeze b’abayisiraamu abazze batibwa.
Kino kiddiridde abasiraamu nga bakulembeddwamu Sheikh Yunus Kamoga okusaba kkooti ebalage sitetimenti ku misango egibavunanibwa ssaako n’obutambi bw’obujulizi ku misango gino.
Nga bayita mu munnamateeka waabwe Fred Muwema,abasiraamu bano bagamba nti obujulizi obwabatwaza mu kkooti enkulu tebulaga ngeri gyebazzamu emisango egibavunanibwa.
Wabula…
Poliisi etandise okunonyeraza ku kabenje omwafiiridde abantu 3 akawungeezi akayise wali e Iganga.
Akabenje kano kaagudde kumpi n’omugga gwe Nakalama oluvanyuma lwa taxi eyabadde edda e Busia okulemerera omugoba waayo n’ekuba akafunvu neyevulungula enfunda eziwera.
Akulira poliisi y’ebidduka e Iganga William Bariyo agamba akabenje kano kabaddewo wakati mu namutikkwa w’enkuba olwo dereeva wa takisi nga takyalaba gy’alaga.
Abafudde…
Mu disitulikiti ye Buyende,waliwo omuvubi ow’emyaka 80 agudde mu Nyanja n’afa.
Musana Kwagala omutuuze ku mwalo gwe Iyingo y’abidde nga agenze okukima obutimba obumenya amateeka bweyabadde akweese okuva eri ababukwata .
Eryato kw’abadde ayambulira liyuuze nerigwa mu mazzi.
Akulira eby’obuvubi mu disitulikiti eno John Muwadi ategezezza ategezezza nga akabenje kano bwekavudde ku mbeea y’obudde embi era n’alabula abavubi…
Omusujja gwa Typhoid gwongedde okusasanira mu bitundu by’eggwanga ebirala.
Abantu nga 311 bateberezebwa okubeera n’omusujja guno mu disitulikiti ye Maracha .
Akulira okulambula eby’obulamu mu disitulikiti eno Rasul Jurua agamba omusujja gubakutte mu myezi 3 egiyise nga era batandise okwekenenya abatunzi b’emmere mu kutundu kino.
Ye akulira abakozi mu disitulikiti eno Francis Opolot, wano w’asabidde amaka gonna okusima…
Kyaddaaki kansala w’egombolola ye Makindye Allan Ssewanyana ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 80
Abamweyimiridde 5 buli omu abadde wakakadde kamu ezitali zabuliwo.
Ku lunaku olwokutaano ssewanyana y’agulwako omusango gw’okwogera kalebule ku kampuni ya betting eya Top Bet nga bwebabba bakasitoma baayo wamu n’obutasasula bakozi baayo.
Ssewanyana alagiddwa okudda mu kkooti nga 22 April mu maaso g’omulamuzi …
Ssabawaabi wa gavumenti ejjeyo emisango egibadde givunanibwa dereva wa KCCA eyadda emabega n’afotola omwana ow’emyaka ebiri n’ekitundu wali ku ofiisi za KCCA ku City hall.
Ku ntandikwa y’omwaka guno KCCA y’aliyirira bazadde b’omwana ono n’obukadde 50 nga era maama w’omwana Madinah Namutebi y’akola sitetimenti endala ejjayo omusango oluvanyuma lw’okufuna ensimbi zino.
Munnamateeka wa gavumenti Immacukate Nyambaju y’awaddeyo…
Waliwo abavubuka 12 abakwatiddwa lwakwetaba mu misinde egyawereddwa poliisi.
Bano bebamu ku begattira mu kibiina kyabwe eky’abavubuka abaavu nga babadde bategese emisinde egy’okutolontoka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.
Bano bayooleddwa okuva mu bitundu bya Wandegeya ne kabalagala .
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nga abavubuka bano bwebataasaba lukusa kutegeka misinde gino nga ate bazze…
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asekeredde abatandise okuseketerera enkola y’okusonda ettofaali nga era ssi wakupondooka olw’ebigambo by’abantu .
Kamala byonna aweze nga bwagenda okutwala maaso enteekateeka eno ekizimbe kya Masengere nebwekinaaba kiwedde okukwasibwa ssabasajja ku mazalibwa ge nga 13 omwezi ogujja.
Bino Katikiro abyogeredde mu lukiiko olubadde wali e Bulange Mengo nga luteesa ku ntegeka z’amazalibwa…
Abantu 6 bakutuse emikono n’amagulu oluvanyuma lw’akabenje akagudde ku kyalo Nabbuzi e kamengo
Akabenje kano kavudde ku takisi namba UAP 556 S ebadde egezaako okutaasa owa Bodaboda ayingidde oluguudo neyerindiggula ennume y’ekigwo neyefuula enfunda eziwerako.
Takisi eno ebadde eva Kampala nga eyolekera Masaka.
Aduumira poliisi y’e biduka e Kamengo Justus Muhoozi ategezezza nga abali abali obubi bwekuliko abakyaala…
Ka bbomu akabalukidde okumpi n’ekkomera lye Gulu kalumizza abasibe babiri n’okukosa omwana ow’emyaka 15 abadde ayitawo
Bino bibadde ku kisaawe kya Kawunda nga kino kiriraanye ekkomera mu munucipaali ye Gulu
Abalumiziddwa baddusiddwa mu ddwaliro e Gulu okuyambibwa
AKabenje kano wekabeereddewo ng’abasibe bali mu kukima mazzi
Omukuumi mu kkampuni ya Exposs Security group Patrick Ayella, agambye nti bawulidde ekibwatuuka ekya…