Disitulikiti y’e Mpigi eyisizza embalirira ya buwumbi 21 n'obukadde 400 .
Ensimbi zino okusinga zakuzimba nguudo, okuyamba ku by'enjigiriza n’eby’obulamu.
Eby’obulamu biweereddwa obuwumbi 2 n'obukadde 800 nga obukadde 293 zakuddabiriza ddwaliro ly’eNkozi akawaumbi kamu kasasule emisaala gy’abasawo.
Eby’enjigiriza biweereddwa obuwumbi 12 nga obukadde 477 za bonna basome wa pulayimale sso nga 982 za bonna basome wa secondary.
Ensimbi ezisinga…
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Gulu batiisizza okuggala Kanisa ya muzeeyi Severino Lukooya nga ono ye taata w’eyali yeyita nabbi Alice Lakwena, nga era kojja wa ssabayeekera Joseph Kony.
Ssentebe wa disitulikiti ye Gulu Ojara Martin Mapenduzi agamba eka nisa eno emanyiddwa nga ''The new Jerusalem Tabernacle ministries'' ebuza abantu nga ebagaana okugenda mu malwaliro nga balwadde…
Poliisi kyaddaaki ekkiriza ab’ekibiina kya DP okugenda mu maaso n’olukungaana lwabwe lwebasoose okulinyamu eggere.
Gyebuvuddeko poliisi esoose kugaana lukungaana luno kugenda mu maaso oluvanyuma lwabamemba abasoba mu 100 okukungaanira wali ku Sharing Hall e Nsambya.
Aduumira poliisi ye Kabalagala Francis Chemusto y’ategezezza nga bwelubadde lumenya amateeka kubanga tebategezebwako.
Wabula ye ssentebe w’ekibiina kino wano mu Kampala Vincent Mayanja…
Akakiiko ka palamenti akakola ku by’embalirira kagobye abakungu okuva mu KCCA nga bano babadde bagenze kusaba nti bongerweeyo obuwumbi musanvu
Ekibagobezza butajja na munnabyabufuzi yenna
Bano obuwumbi omusanvu zebeetaga za kuzimba katale ka USAFI
Bano nno okutuuka nga palamenti ky’ejje eyise obuwumbi 37 ez’okugula akatale keekamu
Amyuka akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi Judith Tusiime y’akulembeddemu ekibinja ekisaba ssente…
Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asiimye emirimo egikolebwa eddwaliro lya kookolo e Mulago, naddala mu kawefube waalyo ow’okujjanjaba ekirwadde kya kookolo wa nabaana.
Katikiro okwogera bino abadde akyaddeko e Mulago mu kawefube gw’alimu w’okukukungaanya ettofaali mu bukiikaddyo bwa Kawempe.
Katikiro ategeezeza nti abakyala bonna mu Uganda basaana bajumbire okwekebeza ekirwade kya kookolo okubanga kyandiba ekyangu…
Eyali akulira ekitongole ekikessi General David Sejusa azzeemu okusaba nti abayambi be abakwatibwa bayimbulwe
Abakwatibwa omukaaga kuliko ne bannamaggye nga bavunanaibwa kwetaba mu bikolwa by’ekiyekeera n’ekigendererwa ekivuunika gavumenti
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Gen Sejusa agambye nti abantu bano baludde mu kkomera ekityobola eddembe lyaabwe
Sejusa era awakanya eky’okuwozesa abamu ku bano mu kkooti y’amaggye ate nga ssi bajaasi
Abakwatibwa kuliko…
Poliisi mu disitulikiti ye Luweero eriko abantu 2 bekutte ku byekuusa ku kuttibwa kw’omukyala ow’emyaka 40.
Omulambo gw’omugenzi gusangiddwa emabega w’enyumbaye ku kyalo Tebalyala
Aduumira poliisi ye Luweero Justus Asiimwe omugenzi amumenye nga Hadija Nakate eyalumbiddwa abantu abatanategekeka mu makage nebamusanjaga.
Asiimye agamba abatemu baakozesezza akakisa k’enkuba eyabadde efudemba nebalumba omukyala ono asula yekka mu nyumba.
Bano basoose kumutuga…
Akakiiko k’eby’okulonda kalabudde abagenda okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo omwaka ogujja okukomya okukuba kampeyini nga tebanawebwa lukusa.
Kamissiona w’akakiiko kano mu bukiika ddyo bw’eggwanga Jenny Okello ategezezza nga okunonya akalulu bwekulina ekiseera kyakwo nga kakuyege mu kiseera kino amenya mateeka.
Ategezezza nga bwebawadde dda poliisi mu bitundu ebyenjawulo ebiragiro okukwata abo bonna abaatandise okunonya akalulu.
Okello agamba abamu baatandise…
Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakairima atadde ab’ekitongole ky’ebyamakomera ku ninga banonyereza ku bigambibwa nti waliwo abasibe abakozesebwa nga abaddu.
Kino kiddiridde abantu abatali bamu okwemulugunya nti abasibe abamu bakakibwa okulima mu nimiro z’abantu awatali kusasulwa nnusu yonna.
Aronda agamba ensonga eno esaana okunonyerezebwako kubanga kyonoona erinya ly’ekitongole nga era kityobola eddembe lyobuntu.
Kino kizze wakayita olunaku…
Omujaasi w’amagye ga UPDF captain Amon Byarugaba asingisiddwa omusango gw’okulyamu ensi ye olukwe.
Kkooti y’amagye e Makindye esingisizza kapiteeni ono omusango gw’okwetaba mu bikola by’ekiyeekera wansi w’ekibiina ky’abayeekera ekya Peoples Redemption Army rebel ekyasimba amakanda mu Congo .
Nga awa ensalaye ssentebe wa kkooti y’amagye Maj. Gen Levi Karuhanga ategezezza nga obujulizi bwonna bwebulaze nti Kapiteeni Amon…