Wabaddewo okusika omugwa ku kitebe kya KCCA ku city hall oluvanyuma lw’omuloodi wa Kampala Erias Lukwago okugaanibwa okuyingira.
Lukwago abadde agenze kwegatta kwabo abaanirizza Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kusonda ettoffaali ku kitebe kino.
Lukwago abadde awerekeddwako omubaka wa Rubaga North Moses Kasibanti eyemulugunyizza ku nsonga eno.
Abantu 8 bafudde sso nga abalala 4 batuusiddwako ebisago ebyamanyi oluvanyuma lwabamukwata mundu okulumba yunivasite emu mu ggwanga lya Kenya.
Wabaddewo okuwanyisiganya amasasi ku yunivasite ya Garissa e Kenya nga amagye g’eggwanga gagezaako okulwanagana n’abakambwe abagambibwa okuwamba abamu ku bayizi.
Ssabapoliisi w’eggwanga lya Kenya Joseph Boinett agamba abalumbaganyi bano batuuse basasirabusasizi masasi mu lujja lw’ettendekero lino.
Boinett agamba…
Abantu 7 bafiiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Namasoga ku luguudo lwe Jinja.
Akabenje kano kavudde ku Taxi namba UAN 119F eyingiridde ekimotoka ki lukululana.
Abafudde kuliko n’omwana ow’emyezi 3 nga bbo 10 babuuse n’ebisago ebyamanyi.
Munnamawulire Bbaale Francis afudde.
Bbaale Francis abadde musomi w’amawulire ku UBC nga era y’omu ku baludde ku Tv eno.
Omugenzi afiiridde mu ddwaliro ekkulu e Mulago ekirwadde kya kookolo wa kawago aludde nga amubala embiriizi.
Bbaale w’afiiridde nga atendeka abasomo b’amawulire omulimu gw’akoledde ebbanga okuviira ddala ku mirembe gya UTV.
Omusunsuzi w’amawulire ku UBC Juliet Nayiga ayongera okutunyonyola.
Omuntu omulala afiiridde mu mpaka z’okunywa waragi e Lwengo.
Gerald Kamulegeya akanuse oluvanyuma lw’okuwakanira eccupa za waragi 6 ku kyalo Kanoni.
Kigambibwa nti Kamulegeya abadde awunzika eccupa y’omukaaga n’atondoka n’afa.
Kitegerekese nti Kamulegeya ono okwetaba mu mpaka z’okwekamirira waragi alina ebbaala gyeyasoose n’ayiwamu obuccupa obuwerako.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi ategezezza nga nga bwebakyayigga nanayini…
Maama wa Buganda Nabagereka Sylvia Nagginda ayongedde okuggumiza obukulu bw'ekisaakaate ekitegekebwa mu Buganda naddala ku mutendera ogw'amasaza ng'essira erisooka kwekunnyikiza empisa ez'omuganda ennono n'obuwangwa bw'abaganda.
Bino bibadde mu bubaka bwe bw'atisse omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda Owek Nelson Kawalya bw'abadde aggulawo ekisakaate ky'amasaza ekyomulundi ogw'ekkumi wali ku matutuma mu ssaza lya Mukwenda e Ssingo ekiritandika nga 26…
Abasuubuzi mu Katale ke Wandegeya batanudde okwekalakaasa lwa kumala nnaku nga tebarina masanyalaze.
Bano bagamba baakamala ennaku 3 nga tebarina mazzi kati ate baabasazeko n’amasanyalaze embeera gyebagaanye okugumikiriza.
Bano balumbye ofiisi ya ssentebe w’akatale kano Jonathan Gitta nga baagala alekulire okujjako nga babadizzaako amasanyalaze.
kino kijjidde mu kiseera nga abasuubuzi bano baagala kutegeka kulonda bakulembeze baabwe nga balumiriza…
Poliisi ekyayiiriddwa mu maka g’omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi eyatemuddwa wali e Kiwatule.
Abaserikale ba poliisi bebakuuma geeti nga era tebakkiriza munnamawulire yenna kuyingira munda.
Abamu ku baserikale abatayagadde kwatulwa manya bategezezza nga ab’enyumba bwebasabye baleme kukkiriza munnamawulire yenna munda bafune akaseera okukungubaga.
Wabula bbo abakungubazi abalala bakkirizibwa okuyingira.
Omulambo gw’omugenzi gugiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago negutwalibwa e…
Akakiiko k’ebyokulonda kafulumizza enteekateeka yonna ey'okulonda kw'omwaka 2016
Okuwandiisa abagenda okwesimbawo ku bukulembeze bw'eggwanga kwakubaawo nga 5th October era nga kwakumala ennaku bbiri
Abanesimbawo ku bifo by'okukiika mu palamenti bbo bakuwandiisibwa nga 9th ne 10th November 2015.
Okuwandiisa abanesimbawo ku bifo bya gavumenti ez'ebitundu kwakubaawo nga 19th November era kuggwe nga 23rd November 2015.
Kampeyini mu butongole zitandika nga…
Gavumenti ya Amerika ezzeemu okweyama okukwatagana ne Uganda mu kulwanyisa obutujju
Mu bubaka bw’eggwanga lino obw’okusaasira olw’okuttibwa kw’amyuka ssabawaabi Joan Kagezi, gavumenti ya America egambye nti tekkiririza mu bikolwa bya mivuyo kubanga bya kititiizi n’asaba abantu bonna okuvaayo okulwanyisa obutujju.
Gavumenti ya Amerika era etuusizza okusaasira kwaayo eri abaana, ab’enganda n’emikwano gya Kagezi
Bano bagamba nti Kagezi ajja…