Katikiro wa Buganda Charles Peter ategezeza Obuganda nga bwagenda okutandikawo polojetiki endala ezikulakulanya obuganda oluvanyuma olwokumaliriza Masengere n’amasiro ge Kasubi.
Kino kidiride abantu okusaba Katikiro, Buganda ezimbe eddwaliro lyayo erigenda okujanjba abantu.
Wabula Mayiga agambye nti ensonga zino obukulembeze bwe bubiriwoozako era byakukolebwa mu banga tono okuva kati.
Mayiga agambye nti singa Obuganda buneyongera okuwa ettafaali Polojekiti nyingi…
Omusango gw’abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 nebatta abasoba mu 70 ssigwakuwulirwa olwaleero.
Kino kiddiridde abamakomera okutegeeza nga bwebafunye ebiragiro okuva eri kkooti obutatwala basibe bano olw’embeera eriwo.
Omwogezi w’ekitongole ky’ebyamakomera Frank Baine agamba baakusisinkanmu aba kkooti enkulu okuteesa eky’okuzzaako ku nsonga y’abasibe bano.
Olwaleero omujulizi wa gavumenti Mahmoud Mugisha abadde asuubirwa okwongera okuwa obujulizi.
Mu 2011 Mugisha y’akkiriza omusango…
Bannamateeka ba gavumenti baweze obutatiitiira wabula okugenda mu maaso n’omusango gw’abo abateberezebwa okutega bbomu mu kampala nezitta abantu abasoba mu 70 yadde nga munnamateeka waabwe Joan Kagezi y’atiddwa.
Ssabawaabi wa gavumenti Michael Chibita agamba okufa kwa Kagezi kkonde ddene eri ekitongole ekiramuzi ssibakupondooka.
Bino ssabawaabi abyogedde atuseeko mu kifo ewatiddwa omugenzi wali e Kiwatule.
Omwogezi w’ekitongole ekiramuzi Erias…
Kikakasidwa nga omuwaabi wa government Joan kagezi bwatemuda ekiro kya leero ku saawa nga Bbiri bwabade ada mumakaage agasangibwa mubitundu bye Najeera.
Ono abamukubye amasasi bade abatambulira ku bodaboda, nga bano bamusanze kubufunvu [humps] bwe kiwaatule nebamukuba amasasi agamutidewo.
Ayogerera police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango akakasiza okutibwa kwa kagezi, natubuulira police etandise okunoonyereza kubatemu bano.
Yye amyuka…
.
Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Zubair Sowedi Kayongo mulwadde.
Kayongo aweereddwa ekitanda ku Case hospital
Omwogezi w’ekiwayi kye Kibuli Sheikh Hassan Kiirya agamba nti kituufu Supreme mufti mulwadde kyokka ng’embeera teyeraalikiriza
Akakiiko akatekeebwawo okunonyereza ku ngeri y'okukulakulanyamu ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba olunaku olwaleero kawaddeyo alipoota yaako eri Katikiro Charles Peter Mayiga .
Akikiiko kano akakulembeddwamu Dr Kenneth Ssemwogerere kaweebwa emyezi mukaaga okufulumya alipoota eno.
Bw’abadde akwasibwa alipoota eno, Mayiga atendereza abakulu ku kakiiko kano okukola omulimu mu budde awatali kwekwasa nsonga yonna.
Mayiga era agambye nti abantu ba…
Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura agamba nti okutiisatiisa abatujju kwebakola tekujja kubakosa era bakole gyaabwe
Bino bizze ng’abantu batandise okweralikirira nti okukanga kuno kwandigoba bamusiga nsigo
Ng’ayogerako eri bannamwulire, Kaihura agambye nti waliwo akakiiko akassiddwaawo okulawuna ebifo byonna ebiyinza okulumbibwa abatujju
Asabye abantu okubeera obulindaala okuloopa ekyo kyonna kyebekengedde naddala abantu abatategerekeka
Ebigambo bya Kaihura bizze nga wakayita…
KKampuni y’emifaliso eya Crestfoam tejja kuggulwaawo okutuuka nga bafunye alipoota ku muliro ogwatta abantu mukaaga
Minisita w’abakozi Kamanda Bataringaya akyaddeko ku kkolero lino,agambye nti bano basooka kusasula abaviibwaako abaabwe nga tebanaddamu kukola
Ono era yenyamidde nti ekkolero eddene nga lino lirina omulyango gumu nga gweguyingira ate negufuluma
Yye atwala ekkolero lino Joselyn Kateeba agamba nti bakutereeza kyokka ng’agamba…
Omusajja ow’emyaka 31 asibiddwa emyaka 2 lwakusangibwa na njaga
Dauda Lutwama amukalize ye mulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya City hall Elias Kakooza oluvanyuma lw’obujulizi okulaga nti ddala ono yali atambuza enjaga
Omulamuzi era yesigamye ku bujulizi obutwaliddwaawo mukyala wa Lutwama n’abaana nga bagamba nti buli lw’abadde aginywa ng’abakuba
Wabula omulamuzi asabye obukuumi eri mukyala wa Lutwama n’abaana…
Amaggye ga Nigeria gagamba nti geezizza ekitebe ky’abannalukalala ba Bokoharam mu Kibuga Gwoza
Abakambwe bano abawera battiddwa ate abalala bakwatiddwa
Amaggye gagamba nti kati gali mu kweruula kifo kino ekyaali kyeddizibwa abakambwe bano
Bino bizze nga Nigeria yetegeka kulonda mukulembeze w’eggwanga olunaku lw’enkya