Ssabaduumizi wa poliisi gen Kale Kaihura olwaleero akyaddeko ku ttendekero lye Makerere okulaba ebintu nga bwebitambula era nekizuulibwa nti ettendekero lino teririna kamera za CCTV.
Gen Kaihura agamba nti okubulawo kwa kamera zino kussaawo obuzibu obwamaanyi n’awa eky’okulabirako ky’obulumbaganyi obwaali e Kenya ku yunivasite ye Garissa
Kaihura agamba nti kamera zino ziyamba okulondoola abafuluma n’okuyingira ettendekero ekitasoboka…
Wabaddewo akasambattuko ku luguudo olugata kasese ku Fortportal, police bwezinzeeko oluguudo okukwata emmotoka abadde eteberezebwa okubaamu bomu.
Bino bibadde ku lutindo lwe Nyakasanga , era nga eno muno mu motoka poliisi ekukunuddemu abantu 4 abagambibwa okubeera abatujju nebatwala ku poliisi ye Kasese wakati mu bukuumi obw’ekitalo.
Ayogerera poliisi ye Rwenzori Bakali Muga akakasizza okukwatibwa kwa bano ababadde…
Nga ebula ennaku 3 okutuuka ku mazaalibwa ga ssabasajja,ab’ekitongole kya KCCA baguddewo enkulungo ya Nantawetwa esangibwa wali ku luguudo lwa Kabaka Njagala oluvanyuma lw’okuyooyotebwa.
Enkulungo eno eyitibwamu ssabasajja kabaka yekka
Akulira emirimu mu KCCA Jennifer Musisi agamba enkulungo eno esasanyiziddwako obuwumbi obusoba mu 3 kyaali kirowoozo kye ne banne okuli Hamis Kiggundu, Umar Nasooro ,Gordon Wavamuno, Mukasa…
Essiga eddamuzi lyakutandika okukwata ebigenda mu maaso mu kuwoza emisango ku butambi.
Kino kibukuddwa ssabalamuzi w’eggwanga omujja Bart Katureebe n’ategeeza nga bwekijja okuyamba okwekenenya ebikwata ku misango egitali gimu nga era kwakwanguyiza abalamuzi emirimu gyabwe.
Katureebe agamba eno yemu ku nteekateeka z’okulaba nga ebikolebwa essiga eddamuzi kati biterekebwa ebyuma bikalimagezi ebya compyuta.
Bw’abadde akwasibwa ofiisi mu butongole okuva…
Gavumenti esabiddwa okunonyereza ku bannayuganda 27 abagambibwa okuba nga baggaliddwa mu ggwanga lya Abu Dhabi
Kiddiridde ensonga eno okuleetebwa omubaka we Rubaga mu bukiikaddyo John ken Lukyamuzi ng’agamba nto bano bakwatibwa poliisi yaayo era ng’omu ku bbo yafudde olw’endya embu
Mu kwanukuula, ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda agambye nti ensonga eno nabo ebakutte ko era nga bakuginonyerezaako
Mu ngeri…
Abaakwatibwa ku musango gw’obutujju okuva wano mu Kisenyi basindikiddwa mu kkooti enkulu bavunaanibwe.
Empapula ezongerayo bano mu kkooti enkulu ziweereddwayo omuwaabi wa gavumenti Esther Narungi.
Okusinziira ku ssabawaabi wa gavumenti , baakuleeta obujulizi obulaga nti bano baali boogerageranya n’abakambwe ba Al shabab nga era baali bakwatagana n’akulira abatujju bano Adam Mohammed.
Okusinziira ku bujulizi , abavunaanwa baali baagala…
Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga basabye omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu okukangavvula ababaka ba palamenti abebulankanya entakera mu ntuula za palamenti.
Akulira ekibiina kya Anti Corruption Coalition Uganda Cissy Kagaba agamba ababaka bano basasulwa omusimbi mungi kale nga basaana okuweereza eggwanga awatali kwebulankanya.
Ono aweze nga bwebagenda okusaba palamenti ebawe empapula ababaka kwebewandiisiza nga bakiise bazitwalire abalonzi baabwe…
Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye atenderezza nyo omugenzi Wilfred Murumba nga ono y’abadde munnamateeka w’ekibiina kya FDC nga omuntu alwaniridde enyo obwenkanya.
Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ku ekeleziya ya Christ the king amakya galeero, Besigye ategezezza nga omugenzi Murumba bw;abadde ayimirira wo nyo ku lw’amazima nga era abadde teyekiriranye ku nsonga ez’enjawulo era…
Sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga alaze okwenyamira olwa gavumenti okulemererwa okunyonyola lwaki yesibiridde okuwereeza abasawo ebweru w’eggwanga okukuba ekyeyo
Kadaga agamba nti bawandiikira dda minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga okubanyonyola ekigenda mu maaso kyokka nga kati guyise ne mu mwezi nga tebalabikako
Kadaga agamba nti ensonga eno agenda kufuba okulaba nti etwalibwa mu palamenti…
Abakuumi b’amakomera basaanye okuddamu okutendekebwa okusobola okukwasanga bulungi abazzi b’emisango bakiwagi.
Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakairima agamba abakuumi bano tebafuna kutendekebwa kwakinamagye sso nga bakuuma abasibe abomutawaana.
Aronda agamba bano baabulabe nyo eri abakuumi bano kale nga baaana baaana okuddamu okutendekebwa engeri y’okukwasaganya abasibe bano awatali kubalumba kubatuusako bulabe.
Ono era ategezezza nga Uganda bwekwata ekifo…