Abantu 2 okuli n’omuyizi wa yunivasite ye Kumi abadde asoma mu mwaka gwe ogwokubiri bagudde mu Nyanja ya Bisina ne bafa oluvanyuma lw’akaato kwebabadde basaabalirira okwebika mu mazzi.
Omuyizi mutuuze ku kyalo Kokong mu disitulikiti ye Ngora nga era y’abadde azzeeko waabwe ku wikendi.
Balubbira ku kyalo bamaze kumpi essaawa 24 nga banonya emirambo okutuuse lwebajizudde nga…
Eyali akulira ettendekero ly’ebyobufuzi erya Kyankwanzi Col. Shaban Bantariza asambira mabega nga jjanzi .
Kiddiridde okwejerezebwa emisango gy’okwezza Tulakita ebadde egambibwa nti yaweebwawo minisitule y’ebyensimbi wabula Bantariza n’agyezza nga agamba nti yagigula ku bukadde 67 .
Wabula abantu 7 abatuula ku kakiiko ka kkooti y’amagye nga bakulembeddwamu ssentebe waako Maj Gen Levi Karuhanga akizudde nti tulakita eno…
Eyali akulira ekitongole ekikessi Gen David Sejusa akyaddeko ku kitebe ky’ekibiina kya DP wali ku kizimbe kya City House.
Sejusa yevumbye akafubo n’abamu ku b’akakiiko k’ekibiina abokuntikko nga bakulembeddwamu ssabawandiisi w’ekibiina Mathias Nsubuga.
Waliwo atayagadde kumwatukiriza manya atutegezezza nga ab’akakakiiko akokuntikko ak’ekibiina bwebateesa ku bugenyi bwa ssejusa era nebakkiriziganya abakyalire.
Bukyanga ava mu buwanganguse, sejusa azze akolokota omukulembeze…
Ab’enganda z’omugenzi Rose Nankabirwa bagamba nti yadde omuntu waabwe teyalamye naye obwagaazi abantu bwebamulaze bwongedde okubagumya
Bano basiimye abo bonna abawaddeyo okutaasa obulamu bw’omuntu waabwe mu kaseera k’okugezesebwa kebalimu
Ab’enganda nga bakulembeddwaamu Ronald Bisereko agamba nti basanyufu nti bagezezzaako buli kimu kyokka ng mukama yageze .
Yye muganda w’omugenzi Catherine Naiga Turyagenda omugenzi amwogeddeko ng’omweruufu era abadde akola…
Ab’ekibiina kya NRM bafumuluzza enteekateeka zaabwe ez’okulonda abanakwata bednera y’ekibiina ku mitendera egitali zimu.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Justine Lumumba agamba nti bagenda kutandika okuwandiisa bannakibiina okuva nga 24 omwezi guno era bamalirize nga 16th omwezi gw’okutaano omwaka 2015.
Nga bano bakuyita mu lukalala lw’abalonzi okuva nga 18 omwezi ogujja era nga kino kyakuggwa nga 12 omwezi gw’omusanvu.
Ekibiina…
Pulezidenti Museveni awaddeyo emmotoka ng’ekirabo eri Ssabassajja Kabaka ku mazaalibwa ge ag’emyka 60.
Emotoka kika kya Land cruiser VX nga nzirugavu era ejiddeko ebbaasa kyokka ng’ebijibaddemu tebyogeddwa .
Emotoka eno eyanjuddwa amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi akiikiridde gavumenti ku mikolo gy’amazaalibwa mu Bulange Mengo.
Mu kwogera kwe Kamalabyonna wa Buganda owek Charles Peter Mayiga atenderezza omutanda olw’ensigo…
Abaserikale ba poliisi mu gombolola ye Ndagwe mu disitulikiti ye Lwengo bali mu kattu lwakulagajjalira mirimu gyabwe nebadda mu kutamirukuka.
Ssentebe w’egombolola eno James Mukasa agamba abaserikale abasinga emirimu baagivako badda mu kukoona bidde mu kifo ky’okukwasisa amateeka nga eno abatuuze babibwako ebyabwe n’okutibwa.
Mukasa agamba ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko Makondo ne Kabuyoga nga eno kizibu okusanga…
Akakiiko k’ebyokulonda ssikakwongezaayo nnaku z’abantu kwekebera ku nkalala z’abalonzi.
Akakiiko katekawo nga 30 April 2015 nga nsalesale w’okulongoosa enkalala zino olwo baveeyo n’enkalala empya ezinakozesebwa mu kulonda kwa 2015/ 16.
Akulira ekitongole ky’ebyamateeka mu kakiiko kano Jenifer Angeyo agamba ebiseera ebisinga bannayuganda balinda ssaawa esembayo okukola ebintu kale nga ssibakubongerayo kadde.
Angeyo bino abyogedde ayogerako eri bekikwatako ku…
Abantu ab’enzikiriza ez’enjawulo bakubiriziddwa okukwatira awamu okulwanyisa ekisaddaaka baana wano mu ggwanga.
Nga asabira emikolo gy’amazaalibwa ga ssabasajja ag’emyaka 60 egy’obuto, Omulabirizi w’obulabirizi bwe Namirembe Rt.Rv Wilberforce Kityo Luwalira aloopedde ssabasajja nga ekisaddaaka baana bwekisitudde enkundi.
Bisho Kityo Luwalira ategezezza nga abantu abamu bwebalemedde ku nzikiriza ezirimu okusaddaaka emiti emito ky’agamba nti kisobola okukoma nga bakwatidde wamu.
Wano…
Enkumi n’enkumi z’abantu ba ssabasajja w’owulirira bino nga batandise okutindigga engendo okwolekera olubiri lwe Bulange Mengo okwetaba ku mazaalibwa ga ssabasajja ag’emyka 60.
Ssabasajja era olunaku olwaleero lwakwasibwa ekizimbe kya Masengere ekizimbiddwa mu kusonda ettoffaali erikunganyiziddwa Katikiro Charles Peter Mayiga.
Bbyo eby’okwerinda biri ggulugulu nga poliisi n’amagye biyiiriddwa okwetolola Bulange nga n’amakubo agamu gazibiddwa.
Katikiro Mayiga agamba abakulembeze…