Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Basse omwana waabwe nga bagoba mizimu

Poliisi mu disitulikiti ye Masaka ekutte abantu basatu lwakukakana ku mwana nebamukuba emiggo nti bamugobamu mizimu nebamutta. Pauline Nakayenga omuyizi mu kibiina ekyokusatu ku ssomero lya  Hill-Road Public Primary School y’akubiddwa obubi enyo nga era omubiri gwe gwonna gusangiddwako amabwa. Taata w’omwana ono Paul Tebandeke omusomesa ku ssomero lya King David S.S y’akwatiddwa ne nyina Florence Nalubowa…

Read More

Bbomu mu Somali esse 10

    Abantu 10 bafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu etegeddwa mu baasi y’ekibiina ky’amawanga amagatte mu ggwanga lya Somalia. Abeerabiddeko n’agabwe bategezezza omukutu gwa gw’amawulire ogwa BBC nga bwebalabye baasi eno nga ebwatuka. Abafudde kuliko banansi b’eggwanga lya Kenya ne Somalia abakolera ekibiina ky’amawanga amagatte. Abatujju ba Al-Shabab bano nga bakolagana n’abakambwe ba al-Qaeda balwanagana ne gavumenti ya Somalia okweddiza…

Read More

Ettendekero lye Bukalasa liggulawo leero

Ettendekero ly’ebyobulimi n’obulunzi erye Bukalasa mu disitulikiti ye Luweero  liggulawo olunaku olwaleero oluvanyuma lwa wiiki namba nga ligaddwa lwabayizi kwekalakaasa.   Akulira ettendekero lino Christine Anyait agamba baabadde n’olukiiko  nebakkiriziganya abayizi baddeyo leero basome wabula tategezezza oba ensonga z’abayizi ezaabaggye mu mbeera zinakolebwako.   Ku mande wiiki ewedde abayizi  bekalakaasizza olw’ettendekero lino okugonjawo enkola y’okusasula emitwalo 5 egy’okulwawo okwewandiisa…

Read More

Bakwatiddwa n’ebyambo by’amaggye

Poliisi ye  Lukaya mu disitulikiti ye  Kalungu eriko abasajja 2 bekutte n’ebyambalo by’amagye. Vincent Kwesiga ne  Asimwe Nabothi nga batuuze bokukyaalo  Lubale mu disitulikiti ye  Ntugamu . Bano bakwatiddwa akulira poliisi y’ebidduka mu disitulikiti eno Deo Kweyamba n’abaserikale b’ebidduka beyalagidde okuyimiriza kiloole mwebabadde namba UAV 773U ekibadde kidda e Rukungiri okuva e Kampala. Kweyamba ategezezza nga bwebayimirizza kiloole…

Read More

Akakiiko ku South Africa katondeddwaawo

Gavumenti etaddewo akakiiko ak’enjawulo akagenda okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo bannayuganda abattiddwa mu ggwanga lya South Africa Akakiiko kano era kakuvaayo ne alipoota ekwata ku bannayuganda abali mu ggwanga lino n’engeri gyebayinza okuyambibwa Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga James Mugume agamba nti akakiiko kano kaliko abakola ku by’okwerinda abagenda okulondoola ebigenda mu maaso…

Read More

Bbomu esse 33

Abantu 33 beebafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu mu kibuga Jalalabad ekya Afghastan. Bbo abali mu kikumi babuuse n’ebisago eby’amaanyi. Obulumbaganyi obukoleddwa omulumira mwoyo eyabalusirizzaako bbomu bubadde wabweru wa banka abakozi ba gavumenti webabadde bakungaanidde okufuna emisaala gyaabwe Tewali kibinja kyavuddeyo kwewaana kukola bulumbaganyi buno nga n’omwogezi w’abatalibaani yebwesamudde dda Abamu ku bafudde baana

Read More

abalimi tebayambiddwa- Nadduli

Ssentebe wa disitulikiti ye Luweero Alhajji Abdul Nadduli agamba nti bingi ebirina okukolebwa okuyamba abalimi okufuna mu byebakola. Nadduli yabadde alambuza ekibinja kyabakungu okuva e Roma abazze okulaba embeera y’obudde mu Uganda n’engeri n’ekiyinza okukolebwa okuyamba abalimi okubaawo mu mbeera enzibu. Abakulu bano okuva e Roma bazze kulambula bifo ebirimu ekibiina ekikola ku by’emmere n’obulimi ekya Food…

Read More

Amawanga geegasse ku butujju- omu akwatiddwa

Abakulira poliisi mu mawanga ga East Africa bategeraganye okulondoola abasibe bonna abaali basingisiddwaako emisango. Ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura agamba nti kino kijja kubayamba okulemesa abantu bano okuddamu okuzza emisango gyegimu nandiki n’okuzza egisinga Kaihura ategeezezza nga kino era bwekijja okubayamba okulwanyisa ebikolw aby’ekitujju Ab’ebyokwerinda mu mawanga ataano agakola East Africa bakukwatagana okulaba engeri y’okutuukirizaamu kino yyo  Poliisi e…

Read More

Okuziika supreme mufti- Nakibinge aweze

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye abakulembeze b’obuyisiramu okugenda mu maaso nekawefube w’okugatta abasiramu alekeddwa supreme Mufti sheikh Zubair Kayongo. Bino pulezidenti abyogeredde mu kusabira omwoyo gw’omugenzi wali ku muzikiti e Kibuli. Pulezidenti ategezezza nga omuganzi bw’abadde omwesimbu enyo nadala munteseganya ezibadde zigenda mu maaso kale ngabasirimu abalala balina okumulabirako. Museveni era agambye nti okunonyereza kwebaze okulaga nti…

Read More

Ekimotoka kisaabadde enyumba

Omwana ow’emyaka 4 afiiridde mu kabenje akagudde wali ku luguudo lw’e Masaka oluvanyuma lw’ekimotoka ki lukululana okusaabala amaka g’omutuuze. Ekimotoka kino namba UAP 545S kiremeredde omugoba waakyo nekisaabala amaka ga Christine Natumbwe nekitta omuzzukulu Leticia Namiiro,  ate abantu abalala 9 bawereddwa ebitanda ng’embeera mbi nyo. Aduumira poliisi y’ebidukka mu disitulikiti ye Mpigi Michael Ensinekweri  agamba omugoba w’ekimotoka…

Read More