Poliisi erinye eggere mu kukumba kwabannakibiina kya Pan Africa Live Debate ababadde baagala okukwanga ekitebe ky’eggwanga lya South Africa ekiwandiiko ekivumirira ekitta bagwiira mu ggwanga lya South Africa.
Ban babadde bategese okukumba okw’emirembe okukwanga omubaka w’eggwanga lya South Africa ekiwandiiko ku nsonga eno wabula poliisi n’ebasindikira ebbaluwa ebayimiriza okugenda mu maaso n’enteekateeka zaabwe.
Okusinziira ku bbaluwa eno…
Endoolito ku ttaka okwali kutuula essomero lya Nabagereka Primary School zikyalanda.
Olwaleero akakiiko ka palamenti ak’enjawulo akateekebwawo okulondoola ekibba ttaka mu Kampala okuli n’eryamasomero, kayimirizza okuzimba kwonna ku ttaka lino oluvanyuma lw’okusanga ebizimbibwa ku ttaka lino.
Nga bakulembeddwamu ssentebe w’akakiiko, ba memba ku kakiiko kano balagidde KCCA okumenya ebyo byonna ebigenda mu maaso n’okuzimbibwa okutuusa nga enkaayana…
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Lwebitakuli mu disitulikiti ye Sembabule oluvanyuma lwomu ku banaabwe okukubibwa amasanyalaze n’afa.
Abdullah Lubega 24 omutuuze mu kabuga ke Lwebitakuli y’akaliddewo oluvanyuma lw’okwanika olugoye ku waya y’amasanyalaze mu butanwa nga eno ebadde kumpi ne waya kwatera okwanika engoye.
Omukwanaganya w’abakozesa n’okusasanya amasanyalaze mu kitongole kya UMEME mu kitundu kino Lt. Yafesi Tebayungwa ategezezza…
Bbomu endala etegeddwa mu motoka ebalukidde mu mu maaso g’ekifo ekiriibwaamu emmere n’esse abantu 11.
Abatannaba kumanyika muwendo bbo bakoseddwa byansusso.
Akafo omubadde bbomu kali mu maaso ga wooteri endala emanyiddwa nga Central Hotel ng’eno yettanirwa nnyo bannabyabufuzi.
Bino bizza nga n’olunaku lwajjo era abatujju ba Alshabaab beebamu kyebajje batte abantu mukaaga okwabadde ne munnayuganda
Ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebintu olwaleero kikoze ekiwkekweto mu maduuka ag’enjawulo agatunda emizigo by’abakyala okujjamu ebicupuli
Bano batuukidde ku kizimbe kya Gazaland ng’eno ebintu obuli kalifuuwa, ebizigo by’okwesiiga n’ebyo mu nviiri byebikwatiddwa
Ebizigo bino ebisinga byaali byayitako emyaaka kkumi emabega
Akulembeddemu ekikwekweto kino Gaston Kironde agamba nti ebintu ebimu byaali byawandiikibwaako mu lulimi lw’ebweru ng’abantu tebasobola kusoma biriko
Ab’ekitongole kya KCCA bakyagaanye okubaako nekyebanyega ku ki tulakita ekyasse omwana eyabadde azannya .
Olunaku lwajjo omugoba wa ki tulakita kino Patrick Mukwabi yawabye n’ayingirira abaana ababadde bazannya e Lugala mu divizoni ye Lubaga okukkakkana ng’asse omu.
Omusajja ono kigambibwa okuba nga yabadde ayogerera ku ssimu okukoona omwana ono ow’emyaka 2.
Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba…
Emmotoka y’amaggye ekoonye abantu babiri nebafiirawo.
Baasi eno y’amaggye eno ekoonye aba bodaboda basatu wali e Bwaise kyokka babiri nebafa nga batuusibwa e Mulago
Omwogezi w’amaggye g’omubbanga, Maj Tabaro Kiconco agamba nti ab’amaggye bano babadde bagenda Bombo nebagwa ku kabenje kyokka nga tewali alumiziddwa
Tabaro agamba nti okunonyereza ku kivuddeko akabenje kugenda mu maaso
Ng’ebula emyezi kkumi gyokka okulonda omukulembeze w’eggwanga kubeewo, akakiiko k’ebyokulonda kagamba nti tekalina nsimbi zimala kutegeka kulonda kuno.
Akakiiko kano kalina eddibu kya buwumbi 70.
SSentebe w’akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu bino y’abyogedde bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka.
Mu bitannaba kukolebwaako kuliko okusasula abanaakola ku kulonda n’okugatta ebinaava mu kulonda.
Kiggundu agamba nti nga tebafunye…
Eyali omukulembeze w’eggwanga lya Misiri Mohammed Morsi akaligiddwa emyaka 20 mu kkomera lwakutta bekalakaasi abaali bamuwakanya nga akyaali mu buyinza.
Guno gwegumu ku musango ogusinze Morsi kwejjo enkumuliito egigyamuvunanibwa.
Gavumenti ya Morsi y’avuunikibwa amagye mu July 2013 oluvanyuma lw’enkumi n’enkumi z’abantu okwekalakaasa nga bawakanya obukulembeze bwe.
Okuva olwo n’ekibiina kye ekya Muslim Brotherhood kyaawerebwa nga era n’abawagizi baakyo…
Munnayuganda akakasiddwa okuba omu kwabo abafiiridde mu bulumbaganyi bw’abatujju ba Al shabab abateze bbomu ku baasi y’abakozi b’ekibiina ky’amawanga amagatte mu ggwanga lya Somalia.
Kino kikakasiddwa ekitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekikola ku nsonga z’abaana ekya UNICEF.
UNICEF omugenzi emumenye nga Brenda Kyeyune nga era akoledde ebibiina by’obwanakyewa ebyenjawulo.
Abantu 6 bebaafiiridde mu bulumbaganyi buno nga kwabaddeko bannakenya 2…