Poliisi e Ssembabule eriko abantu 15 bekutte okuli n’omukuumi ku by’okunuuna amafuta okuva mu bimotoka ebiri mu kuzimba oluguudo oluva e Kanoni okudda e Sembabule.
Abakwate bano abatanategerekeka kuliko abavuzi ba biloole nga abalala bakozi ba kampuni y’abachina enzimbi y’oluguudo eyaweebwa omulimu gw’okuzimba oluguudo luno.
Noah Sserunjogi nga ono y’ayogerera poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga ategezezza nga…
Omujulizi wa gavumenti ku musango oguvunanibwa eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kizza Besigye abivuddemu.
Donatus Eguma ategezezza nga bwewaliwo abakungu ba gavumenti abamutiisatiisa okulumiriza Besigye ne banne.
Dr Besigye avunanibwa ne loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago, meya wa Kawempe Mubarak Munyagwa , akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe n’abalala nga bavunanibwa kukuma muliro…
Abavumirira abakyala abayambulidde ba minisita olw’enkaayana z’ettaka balabuddwa okukikomya.
Ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu bitundu bya Acholi Reagan Okumu agamba abatuuze balina eddembe okwekalakaasa ku nsonga ezibaluma.
Wiiki ewedde waliwo bannamukadde abakyala abeyambudde engoye zonna nebasigala buswa mu maaso ga minisita w’ebyettaka Daudi Migereko n’owensonga zomunda w’eggwanga Aronda Nyakairima nga bawakanya eky’okulamba ensalo wakati wa disitulikiti ya…
Enkuba eyamwaanyi ebaddemu nekibuyaga eree amaka agawerako gali ku ttaka nga n’ebirime mu nimiro nyingi byononeddwa mu gombolola ye Kamonkolo subcounty mu disitulikiti ye Budaka .
Ssentebe w’egombolola ye Kamonkoli Edinandi Piringo agamba emiruka ena okuli Kamonkoli, Nyanza, Kiraka ne Sekulo gikoseddwa sso nga ebyalo 7 abaayo bali mu maziga.
Ono atidde nti enjala ani amuwadde akatebe…
Ebya sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga obutasimbibwako Muntu yenna ku kifo ky’omubaka omukyala e Kamuli bigaanye.
Nga waakayita mbale nga ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli Salam Musumba ky’ajje asembe Kadaaga okwesimbawo awatali amu amuvuganya waliwo eyesowoddeyo okumusuuza omugaati.
Eyali omukozi w’ekitongole ekiwooza ky’omusolo Deborah Mwesigwa w’owulirira bino nga y’atongozza dda kawefube w’okwesimba ku Kadaga.
Mukyala Mwesigwa ategezezza nti…
Minisita w’ensonga zomunda w’eggwanga Gen Aronda Nyakairima akakasizza bannayuganda nga endaga Muntu zebaafunye bwezitasobola kujingirirwa.
Gen Aronda agamba nti baakitegedeko nga bwewaliwo abantu abamu abaabadde batandise ojingirira ezaabwe ku Nasser road ne Nkrumah okusobola okufuna paasipooti wabula baabaguddemu mu bwangu.
Aronda agamba kaadi zino baaziteekako obubonero obwekusifu kale nga kizibu okuzijingirira.
Ono era azzemu okukunga bannayuganda bafune endagamuntu…
Omubaka wa municipaali ye Soroti Mike Mukula asambazze ebigambibwa nti y’avudde mu lwokaano lw’okuddamu okwesimbawo mu kalulu ka 2016.
Mukula y’adda mu by’obufuzi mu 2011 oluvanyuma lw’okumegebwa munna FDC Willy Ekemu mu 2006.
Kigambibwa nti ku leediyo emu e Teso,Mukula y’ategezezza nga bwatagenda kuvuganya ku kifo kyabyabufuzi kyonna mu kulonda okujja.
Wabula mu mboozi eyakafubo naffe, Mukula Mukula…
Akakiiko akalondesa kawadde ebibiina obuwumbi 10 nga ku zino NRM erina kufunako obuwumbi munaana aba DP kyebagamba nti kirimu obutenkanya ng’ensimbi zino era tezimala
Yye nno omwogezi wa UPC David Lucima agamba nti beetaga ensimbi zino okwetegekera okulonda kwa wansi kubanga era ensimbi zino zoogerwaako semateeka
Lukima wabula agamba ensimbi zino kandiba akatego eri aba NRM okujja…
Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku kibba ttaka mu kampala kayise bukubirire atwala eby’okutekeerateekera ekibuga Andrew Kitaka
Akakiiko kano kabadde kakamala okuyimiriza okuzimba kwonna ku ttaka okwaali kutudde essomero lya Nabagereka kyokka era nekasaba ab’akakiiko k’ettaka okulaga empappula zonna ezikwata ku ttaka lino.
Akakiiko kano akakulirwa Robert Migadde kakyadde ku masomero agawera okuli Nakasero primary school ne Buganda…
Munnakibiina kya UPC David Pulkol asunsuddwa okwesimbawo ku bwa ssenkagale bw’ekibiina kino.
Pulkol ne Jimmy Akena bazze bawakanya enteekateeka ezinagobererwa mu kulonda kwa 2016 ezaafulumizibwa ssenkagale w’ekibiina kino Olara Otunu nga era bamulumiriza okweremeza mu ofiisi nga ekisanja kye kyaggwako dda.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kino Andrew Nyote ategezezza nga Pulkol n’abalala 6 bwebatuukirizza ebisanyizo by’okwesimbawo nga…