Amawanga agatali gamu gasabiddwa okuvaayo okutaasa embeera eri mu ggwanga lya Burundi ng’ekizimba tekinnasamba ddagala.
Abantu babiri beebakafiira mu bulumbaganyi buno obuvumirira eky’omukulembeze ali mu ntebe Pierre Nkurunziza okuddamu okwesimbawo.
Omwogezi wa FDC John Kikonyogo ategeezezza nti kano ke kaseera ebibiina nga Africa Union,kkooti y’ensi yonna n’ekibiina ky’amawanga amagate okuyambako okuyimiriza ab’ebyokwerinda abakozesa eryaanyi ku…
Okuddukirira abantu abakoseddwa Musisi mu ggwanga lya Nepal kugenda mu maaso nga n’abafukuula ettaka nabo bakola egyaabwe
Abantu kati 3,726 beebagambibwa okuba nga bafudde ate abalala 6,500 nebalumizibwa.
China, India, Pakistan ne Britain ageegamu ku mawanga agawaddeyo obuyambi.
Eggwanga lya Nepal lyongedde okusaba obuyambi nga lyetaaga okuva ku nyonyi okutuuka ku bulangiti n’abasawo.
Abantu abali mu 200 beebataasiddwa
Allen Kagina kati y’akulira ekitongole kya UNRA ekikola ku by’enguudo.
Ono asikidde Sebbuga Kimeze abadde anonyerezebwaako ku nsonga z’okubulankanya ensimbi z’oluguudo lwe Katosi Mukono n’ez’okuzimba eggali y’omukka.
Kagina yakulembera ekitongole ekiwooza ekya URA okumala emyaka egisoba mu 10.
Abayimbi bakkukkulumidde abantu abababika nga tebannaba kufa
Ng’ayogerera ku mukolo gw’okusabira omuyimbi Harriet Kisakye, akulira abayimbi ne bannakatemba mu ggwanga Andrew Benon Kibuuka agambye nti kino kibamalamu amaanyi n’okwongera okuwawaaza amawulire ate agatali matuufu.
Yye ssabakisiritu wa eklezisa ya St Gyaviira e Bunnamwaaya, asabye abantu okwetegekera okufa nga banyikiza eddini
Yye taata w’omugenzi omukulu Mukubyabyaasi,tasobodde kwogera olw’amaziga agabadde…
Abaali abakozi ba MTN mukaaga basingisiddwa omusango gw’okukozesa olukujjukujju okunyagulula kkampuni eno obuwumbi busatu
Omulamuzi wa kkooti ekola ku gy’obukenuzi Paul Mugamba y’abasingisizza omusango oluvanyuma lw’okukakasa nti abajulizi 40 abaleetebwa oludda oluwaabi baakwatagana mu bujulizi bwaabwe
Omulamuzi agambye nti akikakasizza nti abantu bano bekobaana nebabba ensimbi okuva mu akawunti ya MTN okudda ku akawunti ka Mobile mane…
Abatuuze be Kyamuliibwa mu disitulikiti ye Kalungu ssibasanyufu n’ekyagavumenti okutongoza amazi ga payipu ku kitundu kyabwe wabula nga n’okutuusa kati tebalaba ku ttondo lya tuzzi.
Mu mwezi gwokusatu omwaka guno omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Musevei yatongoza pulojekiti y’amazzi eno mu gombolola ye Kyamulibwa wabula nga byakoma awo amazzi teri.
Abatuuze bemulugunyizza basisinkanyemu omubaka wa palamenti ow’ekitundu kino…
Ekitongole ky’ebyebibira mu ggwanga kiragidde abatuuze abasoba mu 1000 abesenza ku ttaka ly’ekibira kye Kibaale okulyamuka nga olwokuna wiiki eno terunaggwako.
Guno mulundi gwakubiri nga balagirwa okwamuka ettaka lino nga basooka kulagirwa kuvaawo nga August 30, 2014 wabula bannabyabufuzi nebabiyingiramu nebasigalawo.
Akulira ekitongole kino mu disitulikiti ye Kibaale Charles Ariani ategezezza nga okusinga banansi b’eggwanga lya Rwanda…
Abatuuze mu gombolola ye Goma naddala mu kibuga kye Seeta bali mu kutya olwabasudani abayitirivu abeyiye mu kabuga nga n’abakulembeze baabwe twebamanyi kigenda mu maaso.
Ssentebbe wa LC eyokusatu e Goma Erisa Mukasa Nkoyoyo atutegezezza nti nabo nga abakulembeze babalaba bulabi awatali kunyonyolwa kwonna kuva eri gavumenti.
Abatuuze bemulugunya nga buli kintu mu kitundu bwekirinye nga ensimzi…
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi asambazze ebigambibwa nti ab’enyumba ye bakweese olukalala okuli ba memba b’ekibiina kya NRM .
Mbabazi ne muwalawe Lina Mbabazi bazze babalumiriza okukweka olukalala luno nga kiwalirizza abakulira ekibiina kino okuddamu okuteekateeka olulala.
Mbabazi agamba ssemateeka w’ekibiina kya NRM awa obukiiko bw’ebyalo obuyinza okuwandiisa ba memeba abapya sso ssi ssabawandiisi w’ekibiina oba ssentebe.
Wabula…
Pulezidenti Yoweri Museveni agamba waliwo obwetaavu bw’okwegatta okulwanyisa abatujju ba Alshabaab abatabuse ennaku zino
Mu kiwandiiko pulezidenti ky’asindikidde emikutu gy’amawulire, agambye nti akabinja kano okutandika okulumba abantu ba bulijjo kiraga nti tekalina mulamwa
Agamba nti kyenyamiza okulaba nti aba alshabaab balumba supamaketi, n’abayizi abatalina musango era nga kino akitadde ku maanyi agabaweddemu mu ggwanga lya Somalia
Pulezidenti agamba…