Enkola yabanabyabufuzi okwagala okwesimbawo awatali abavuganya eyongedde okukwata abalala omubabiro nga kati etuuse ne mu babaka ba palamenti .
Amyuka ssentebe w’ekibiina kya FDC Salam Musumba asembye sipiika wa palamenti era omubaka omukyala ow’e Kamuli Rebecca Kadaga yesimbewo awatali amuvuganya.
Musumba era abasabye abantu b’e Kamuli obutawuliriza ngambo nti ayagala kusiggukulula Kadaga nti era tekisoboka kubaawo.
Ategezezza nga…
Amagye gajunguludde ebigambibwa nti abayeekera bebaalumbye disitulikiti ye Kyegegwa.
Kino kiddiridde ebyafulumidde mu mawulire nga bwewaliwo bamukwata mmundu 7 abaabadde n’amafumu abaalumbye disitulikiti eno nebawamba n’omuntu omu wabula oluvanyuma nebamuyimbula awatali kakwakulizo konna.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokubiri Maj Ronald Kakurungu ategezezza nga bano bwebateberezebwa okubeera abanyaguluzi sso ssi bayeekera .
Kakurungu ategezezza nga bano enfunda ssatu kawefube waabwe…
Poliisi egumbuludde ekibinja ky’abatuuze e Kawempe abakedde okwesala omugujje nga baagala kafulu w’okuvuga emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka ayimbulwe mangu.
Bano kubaddeko abavuzi ba bodaboda ne bannabyabufuzi nga balaga obutali bumativu n’engeri omusango gwa Lwakataka gyegukwatiddwamu.
Bano bagamba Lwakataka awa abantu banji emirimu mu kitundu kino olwagalagi z’alina kale nga bwatabaawo banji balya enfuufu.
Poliisi nga ekulembeddwa agiduumira mu…
Kabaka waba Zulu Goodwill Zwelithini asabye bannansi ba South Africa okusigala nga bakkakkamu era balekere awo okutta abagwiira
Omukulu ono abadde asongeddwaamu olunwe okuvaako obulumbaganyi buno obwakafiiramu abantu musanvu.
Abantu abasoba mu 300 bakwatiddwa olw’okukola effujjo.
Enkumi n’enkumi z’abantu beebakungaanye okuwulira obubaka bwa kabaka ono
Ono agambye nti kikyaamu okusonga ku yye yekka kubanga obulumbaganyi buno bwaava dda kyokka…
Omusajja afumise mukozi munne ekiso n’amuttirawo lwakumusanga ng’akwata mu ka seefu.
Isa Arinaitwe ng’abeera Fortportal y’afumise Faisal Mpagi ow’emyaka 22 namutirawo .
Mpagi kati omugenzi asanze Arinaitwe nga abba sente mu loogi ya Pentagon guest house esangibwa e Kawempe n’amufumita ekiso kyokka nga naye amaze n’abulawo n’emitwalo 70
Bino bibadde biri biti
Ebadde ntiisa e Kibalinga Mubende omukyala bw’afumise…
Abakozi ba Orange Telecom abasoba mu 50 beebatalina mirimu wetwogerera
Bano bafunye leero ebbaluwa ezibaraga nti tebakyaali bakozi ba kkampuni ya Orange
KKampuni ya Orange yagulwa eya Africel omwana oguwedde era ng’abakozi okuva olwo babadde ku bunkenke
Kati ekibiina ekirwanirira ensonga z’abakozi ekya NOTU kiyingidde mu nsonga zino nga kiwandiikidde gavumenti ne kkampuni eno okwemulugunya ku ngeri gy’egobyeemu…
Gavumenti olwaleero ewadde ebibiina by’obufuzi obuwumbi kkumi okwetegekera okulonda kwa 2016
Kino kirangiriddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng. Badru Kiggundu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire olweggulo lwaleero.
Kiggundu agamba nti ensimbi zino zakugabanwa wakati w’ekibiina mukaaga ebirina ababaka mu palamenti.
Muno mwemuli aba DP, UPC, JEEMA, FDC, ne CP.
Kiggundu agambye nti akakiiko kamaze okwuandiikira ebibiina bino okuwaayo okusaba ssente zino…
Minisita wa mazzi omugya Ronald Kibuule alagidde abatunda amazzi ekidomola obutasussa siringi 100.
Bino abyogedde atongozza amazzi aga National Water agatuuse ku kyalo Lwanyonyi nga abeeno bamaze ebbanga nga amazzi ga kekwa.
Abatuuze okusinga babadde bakozesa bidiba n’okulembeka ag’enkuba yadde nga ekitundu kino kyesudde kirometre emu yokka okuva ku luguudo lwe Jinja.
Minisita Kibuule alangiridde nti amazzi wonna…
Atwala poliisi ya Ogom mu disitulikiti ye Pader yewadde eddagala erifuuyira ensiri neyetta lwakulememerwa kuzuula mmundu ezamubbibwako ku nkomerero y’omwaka oguwedde.
Charles Ocakacon taata ow’abaana 6 yeyejje mu budde oluvanyuma lw’emmundu z’eyali aterese ewuwe okubibwa nga agenze ne mukyalawe mu Katale okugula ebyomumaka.
Omuserikale ono abadde yaakalabika mu kkooti enfunda 2 okwewozaako ku mundu zino ezabibwa nga…
Ssenkulu w’ettendekero lya Makerere Prof Mondo Kagonyera avumiridde abayizi abatandise okutwalira amateeka mu ngalo ku ttendekero lino.
kino kiddiridde ebbiina ly’abayizi okukakana mu eyali omuyizi ku ttendekero lino David Ojok nebamukuba nebamutta ku kisulo kya Nkurumah.
Kagonyera agamba poliisi esaanye okunonyereza era abo bonna abetaba mu ttemu lino bavunanibwe.
ono era atadde abakulira abayizi ku ninga okulwana okulaba…