Eyali omusomi w'amawulire ku NTV Rose Nankabirwa afudde
Nankabirwa afudde aweza emyaka 35 ng'aludde ng'atawanyizibwa ekirwadde kya kokoolo.
Yaddusibwa mu ddwaliro e Nairobi ku lw'omukaaga okusobola okufuna obujjanjabi obusingako kyokka nga abasawo tebasobodde kumutaasa.
Bbo abantu ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okuweereza obubaka obukubagiza ab'enganda ze.
Ku mikutu gya Facebook ne Twitter enkumi n’enkumi zikyaweereza obubaka.
Nankabirwa y’afudde kookolo akawungeezi akayise …
Abatuuze be Seeta mu kibuga kye Mukono bakidde abasajja babiri nebabateekera omuliro abasubirwa nti babadde babbye pikipiki.
Aba BodaBoda okuva mu bitundu bye Kyaliwajjala bazze bagoba ababbi bano okuyita e Namugongo, Ssonde okutuuka e Bukerere gyebabakwatidde nebabakuba kko n’okubatekera omuliro
Poliisi w’etuukidde nga bano baakaze dda nga kati emirambo egitutte mu ggwanika e Mulago.
Abagenzi bategerekese nga Rogers…
Bannamaggye mu ssaza lye Buddu baziza ettaka kwebabadde bakolerera emirimu gyabwe eri obwakaba bwa Buganda.
Ettaka lino lisangibwa mu kitundu kye Katwe -Saaza mu disitulikiti ye Masaka.
Ettaka lino liriko n’ekizimbe ekigenda okutandika okukozesebwa nga ofiisi y’omwami wa Ssabasajja owa Mituba- Mukaga Jude Muleke.
Akulira eggye ezibizi e Masaka Major Twaha Ssenyonga agambye nti basobodde okuwaayo ettaka lino,…
Ekibira kya Mabira kiweddeko abantua baali bakyesenzaako
Kino kyazuuliddwa ababaka ba palamenti abalambudde ekibira kino
Nga bakulembeddwaamu ssntebe waabwe Michael Werikhe, ababaka bano bagambye nti n’ebifo ebyaali bikaze nga temukyaali miti nabyo bijja bitereera ng’ekibira kino kyakuddamu okukwata
Minisita akola ku byobutonde bw’ensi Ephraim Kamuntu agamba nti gano mawulire malungi era nga kijja kuyamba okukuuma ekibira
Ekibira kino kyaali…
Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga olwaleero ategeezezza obuganda ng’enteekateeka z’amazaalibwa ga Ssabasajja ag’emyaka 60 egy’obuto bweziwedde.
Owek. Mayiga agambye nti n’emikolo gyonna egigenda okukulembera amazaalibwa gano giwedde omuli n’okutegeka empaka z’obugaali,okukola bulungi bwansi, mu divizoni ye Lubaga, olunaku lw’enkya zonna ziwedde.
Kamalabyonna era agambye nti emisinde gya Ssabasajja egigenda okubeerawo nga 12 ku ssande gimaze…
Abantu 31 bafiridde mu kabenje wakati wa bus ne loole mu ggwanga lya Morroco era ngabasinze okuffa babadde baana basomero ababadde bava mu misinde gy’empaka.
Abantu abalala 9 balumiziddwa mu kabenja kano akagudde mu kibuga ekimanyiddwa nga Tan-Tan, ekisangibwa mu maseregenta g’eggwanga lino.
Okunonyereza kulanga ng’obubenje bwebweyongedde mu ggwanga lya Morocco era ng’abantu 10 bebafiira mu bubenje…
Abakulembeze b’ekibiina kya NRM mu disitulikiti ye Sembabule basembye omubaka we Mawogola Sam Kuteesa yesimbewo awatali amuvuganya mu kulonda kw’omwaka ogujja nga ssentebe w’ekibiina kyabwe mu district eno.
Bano era bamusembye yesimbewo ku bubaka bwa Mawangola ngatevuganyiziddwa.
Mu nsisinkano gyebabaddemu mu maka ga Kuteesa, bano basazeewo nti tewaba ategana okwesimba ku Kuteesa ku bifo byombi mu kamyufu…
Kooti enkulu wano mu Kampala egombye omusango gw’abakyala 19 okuva mu bibiina ebiwakanya government, abawawabira abasirikale ba poliisi ngababalumiriza okubambula mu lujudde ly’abantu.
Abakyala bano ngabakulembeddwamu akulira abakyala mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe babadde bagala abasirikale okuli Grace Turyagumanawe, Moses Kafeero, Judith Nabakoba, Grace Akulo n’abalala bagombwe mu poliisi ngabagamba nti bano babambula wamu n’okubafuyira…
Ebibiina by’obwanakyewa bisabye akakiiko k’ebyokulonda okutema empenda okulaba nga ng’abalonzi mu kalulu ka 2016 beyongera.
Okunonyera kulaga nti bana uganda ebitundu 42% baazira okulonda kya 2011, era ng’omuwendo gw’abantu abalonda guze gukengera okuva mu mwaka gwa 1996.
Akulira ebibiina kya Citizens Coalition for Electoral Democracy, Livingstone Ssewanyana agambye nti kyenyamira okulaba nga abakulembeze abaddukanya eggwanga balondebwa bantu…
Ssabalamuzi w’eggwanga Bart Katureebe alabudde bannamateeka ku kunyunyunta abantu bebaweereza nga bagaala okugaggawala mu bwangu
Katureebe agamba nti bannamateeka abamu batuuka n’okusaba emisango gyongerweeyo n’ekigendererwa ky’okwongeza mu nsimbi zebasaba
Omukulu ono abadde ayogerera ku Lukiiko olutegekeddwa ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority n’ekibiina ekitaba bannamateeka nga bateesa ku ngeri y’okutereezaamu empa y’emisolo