Poliisi eriko abaana 23 b’enunudde nga bano babadde bagenda kuggattibwa ku bayeekera ba ADF
14 bajjiddwa ku musajja amanyiddwa nga Sheikh Abdul Mbazira’ e Namawojjolo ate abalala basangiddwa wa Hajati Mariam Athuman Nalumagga e Mpooma mukono.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti Sheikh Mbazira yali muyekeera wa ADF kyokka n’aweebwa ekisonyiwo
Enanga agamba nti abaana bano bajjibwa…
Omusajja agambibwa okuyiira mukyala we acid n’afa omusango gwe gusindikiddwa mu kkooti enkulu ey’eggwanga
Omulamuzi wa kkooti ye Nakawa Flavia Nassuna y’asindise Kasim Kakaire mu kkooti enkulu yewozeeko ku misango gy’ettemu
Oludda oluwaabi lugamba nti mu mwaka oguwedde, Kakaire yagula abantu abalumba mukyala we Josephine Namanda era n’afa olw’ebiwundu byeyafuna.
Obulumbaganyi buno bwaali ku Kyaalo Naalya ku luguudo…
Abavubuka bakubiriziddwa okujjukira Katonda mu buli kyebakola n’okukola enyo mu ensi eno.
Buno bwebubadde obubaka bwa Faaza John Mugabo akulembeddemu emisa y’okusabira omwoyo gw’omugenzi Emmanuel Mayanja banji gwebamanyi nga AK47 wali ku ekeleziya y’abakatouliki e Lweza.
Faaza omugenzi amunyonyodde nga abadde n’ekitone era omukozi nga n’enyimba ze nga Nalongo bwezibadde zetikka obubaka eri bannayuganda.
Abamu ku bakungubazi kubaddeko…
Abayizi ba zi yunivasite balabuddwa obutakkiriza kukozesebwa bannakigwanyizi ababakumamu omuliro okwekalakaasa.
Bw’abadde ayogerako eri abayizi abekalakaasa ku ttendekero lya Busoga University, amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Lameka Kibikyo ategezezza nga bwewaliwo amakubo omutali buvuyo agasobolwa okuyitibwamu okugonjoola ensonga.
Abayizi ku ttendekero lino bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya eky’okubongeza fiizi.
Wabula Kibikyo abakakasizza nga fiizi zino bwezitagenda kukosa bayizi…
Nga okukakasa baminisita ne ssabalamuzi w’eggwanga kukyagenda mu maaso ku palamenti, omubaka w’abavubuka b’obugwanjuba bw’eggwanga Gerald Karuhanga akyafuba okulaba nga amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Stephen Kavuma takakasibwa.
Nga akulembeddwamu munnamateekawe eyali omulamuzi wa kooti yokuntikko George Kanyeihamba, Karuhanga, galeero akwanze sipiika ekiwandiiko palamenti ereme kukakasa Kavuma okutuusa nga omusango gweyatwala mu kkooti guwuliddwa.
Mu bbaluwa, Karuhanga asabye palamenti…
Omuwendo gw’abalwadde b’omusujja gwomubyenda ogwa Typhoid gweyongedde wano mu Kampala.
Ab’ebyobulamu okuva ku ddwaliro lya Kisenyi Health center 4 bategezezza nga bwebaafunye abalwadde abasoba mu 400 nga bateberezebwa okubeera ne typhoid.
Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr. David Sserukka agamba kati abantu abasoba mu 2300 bebalina ekirwadde kino mu Kampala.
Dr.Serukka agamba okuva bwekiri nti omusujja guno gweyongedde amanyi,…
Omuyimbi Emmanuel Mayanja amanyiddwa nga AK47 afudde.
Ono ye muto w’omuyimbi Jose Chameleone, nga yafudde yakatuusibwa mu ddwaliro lye Nsambya oluvanyuma lw’okugwa mu kinaabiro mu bbaala ya Dejavu e Kabalagala gy'abadde ne banne.
Akulira ekibiina ekigatta abayimbi ne bannakatemba Andrew Benon Kibuuka aagambye nti okufa kwa AK mawulire ga nnaku era ag'ekibwatuukira n'ategeeza nga bwebagenda okukwatagana ne…
Obwakabaka bwa Buganda bukakasizza abantu ba Ssabasajja Kabaka nti ekizimbe kya Masengere kigenda kumalirizibwa mu budde era kikwasibwe omutanda ku mazaalibwa ge
Ssabassajja agenda kuba aweza emyaka 60 egy’obuto nga 13 omwezi ogujja
Omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi Ssengendo agambye nti ebintu 98% eby’okuzimba ekizimbe kino biwedde era nga kati, basigadde kutereeza wamu nakwongera kuwunda kizimbe.
Walusimbi era…
Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze awadde poliisi okutuuka olwaleero okutwala mu kkooti abantu omukaaga abakwatibwa ku byekuusa ku kutta abasiraamu
Ku bakwatibwa kwekuli dereeva wa ambulensi ya Nambooze ng’ono ye Sheikh Abubaker Kayiwa.
Nambooze agamba nti banoonyezza buli wamu, abaakwatibwa nebababula nga batuuseeko ne mu malwaliro
Ono agamba nti kati bagenda kugenda mu kkooti okusaba nti…
Abakulembeze b’ennono okuva e Tororo balabudde poliisi ku ky’okukulembezaamu engeri y’okulwanyisaamu muliro mu kifo ky’okubawa ebisingawo ku kunonyereza
Okulabula kuno kukoleddwa katikkiro w’aba Japadhola bw’abadde mu kusabira abaafiira mu muliro ogwakwata kkampuni ya Crestfoam nga kuno kubadde ku kkanisa ya our Lady of Africa Church Mbuya.
Kiddiridde atwala poliisi enziinya mooto Joseph Mugisa okutandika okusomesa abafiirwa ku…