Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Besigye aboggodde ku muyambi we

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye atabukidde gavumenti olw’okulemererwa okuyamba omuyambi we Sam Mugumya okufuna obwenkanya oluvanyuma lw’okukwatibwa. Mugumya yakwatibwa omwaka oguwedde mu ggwanga lya Congo nga era akyaali mu mikono gy’ab’obuyinza mu ggwanga lino. Besigye agamba bukyanga Mugumya akwatibwa mu November w’omwaka oguwedde, taleetebwanga mu kkooti nga ate buvunanyizibwa bwa gavumenti okulaba nga abantu…

Read More

Seya aviiriddemu awo ku bya MTN

Eyali meeya wa Kampala Al-Nasser Ntege Sebaggala aviiriddemu awo mu musango gweyatwala mu kkooti ng’awakanya ekya MTN okukozesa eddoboozi lye Ekyewunyisa nti ate yye gwebalagidde okusasula MTN olw’ensimbi z’eyonoonye mu musango Omulamuzi wa kkooti ekola ku byobusuubuzi Christopher Madrama agobye okusaba kwa Ssebagala nti asasulwe obuwumbi 8 olwa MTN okukozesa eddoboozi lye mu bukyaamu Omulamuzi agambye nti SSebaggala…

Read More

Omubaka akwatiddwa

Omubaka akiikirira abantu be Bukholi mu bukiikaddyo akwatiddwa ku bigambibwa nti alina ky’amanyi ku bayisiraamu abazze battibwa mu Busoga Steven Dede akwatiddwa wamu ne ssente we Namayingo Dan Wanyama Bino byonna birangiridde senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura bw’abadde ayogerako eri bannamawulire .

Read More

Minisita atabukidde abanoonya

Minisita w’empisa n’obuntu bulamu Faaza Simon Lukodo nate azzeemu okutabukira ba malaaya, ababagula wamu n’abantu abatambuza ebifaananyi wamu n’obutambi bwobuseegu. Bw’abadde ayogerako eri banamawulire Father Lokodo agambye nti nga bakolerera wamu ne poliisi, bataddewo ekibinja ky’abakwasisa amateeka abagenda okukola ebikwekweto ku bantu bano. Father Lukodo era akakasizza nti abantu 49 beebakakwatibwa mu bikolwa eby’obuseegu era nga bakuumirwa…

Read More

Ekidyeri kya MV Kalangala kizzemu okukola

Ssanyu gyerere eri abatuuze n’abasuubuzi ku kizinga ky’e Kalangala oluvanyuma lw’ekidyeri kyabwe ekya MV Kalangala okuddamu okukola. Ekidyeri kino kyaali kyaafa kati omwaka ogusukka mu mulamba nga kibadde kiddabirizibwa ku mwalo gwe Mwanza mu ggwanga lya Tanzania. Omwogezi wa minisitule y’ebyentambula  Susan Kataike agamba basobodde okukikanika nga kati kikolera ddala bulungi Kataike alina esuubi nti ebyentambula byakutumbulwa nga…

Read More

Pulezidenti Museveni alabudde ab’e Bugweri obutaddamu Kulonda Katuntu

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni alabudde abalonzi okuva e Bugweri obutaddamu kulonda Abdul Katuntu ku bubaka bw’ekitundu kino mu kulonda okujja. Bino pulezidenti abyogedde ayaniriza abawagizi b’ekibiina kya FDC abasoba mu 600 abasaze eddiiro nebegatta ku NRM ku mukolo ogutegekeddwa eyali omumyuka wa ssabaminisita w’eggwanga  Kirunda Kiveidhinda ku ssomero lya Idudi Muslim primary school. Bano abalubudde nti kebaddamu…

Read More

Mubajje ayolekedde Masaka-Ebyokwerinda binywezeddwa

  Eby’okwerinda binywezeddwa ku muzikiti gwe Kitenga mu disistulikiti ye Masaka nga abaayo balindirira Mufti Wa Uganda Shaikh Shaban Ramadhan Mubajje okusaalirayo Juma. Okusooka kyategezebwa nga Mufti bweyali ow’okusaalira ku muzikiti omukulu e Masaka wabula Disitulikiti Khadhi w’e Masaka sheik Swaib Nduga n’abakulembeze abalala nebamugoba nga bagamba aba supreme baagala kweddiza muzikiti gwabwe. Omubaka wa pulezidenti e Masaka …

Read More

2 bafiiridde mu Kabenje

  E Lwengo abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka  ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Abagenzi bategerekese nga  Wasswa Mubiru ne  Steven Ziwa bonna nga batuuze bomu tawuni ya  Kingo mu disitulikiti ye Lwengo. Akabenje kano kavudde ku ttipa y’omusenyu namba UAK 224L okwabika omupiira n’eremerera omugoba waayo n’esaabala Mubiru ne Ziwa ababadde ku bodaboda namba …

Read More

Omuyizi yeetuze

Eby’ensoma bikyankalanye  ku ssomero lya  Mutanywana SS mu disitulikiti ye Kasese oluvanyuma lw’omu ku bayizi okwetugira mu kisulo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya  Rwenzori sub region  Bashir Bakari Muga omugenzi amumenye nga  Sanairi Thembo owa siniya 4. Bakari agamba omulambo gw’olenzi guangiddwa nga gulengejjera ku mulabba oluvanyuma lw’okweyimbamu ogwakbugu. Omu ku babadde basoma n’omugenzi , Joward Masereka…

Read More

Mubajje apondose e Masaka

E Masaka ekibinja ky’abayisiraamu ekiwagira Mufti  Sheikh Shaban Mubajje kipondoose nekikyuusa omuzikiti webagenda okumukyaliza ku Juma y’enkya oluvanyuma lw’abalala okuwera okutaataganya enteekateeka eno. Omubaka wa pulezidenti e Masaka  Linos Ngompek ategezezza nga bwebatuuse ku nzikiriziganya wakati w’ekiwayi ky’e Kibuli ekikulemberwa Supreme Mufti Sheikh Zubai Kayongo n’aba Old Kampala Mufti Mubajje aleme kusaalira ku muzikiti omukulu e…

Read More