Amawulire
Gavumenti eyongedde okulumiriza Kiyingi
Waliwo abasiraamu abalala 11 bano bagguddwaako misango gya butujju Bano bakwatibwa omwezi oguwedde nga kigambibwa nti beebaluka olukwe olutta Sheik Mustafa Bahinga e bwebajja ne Sheik Daktoor Muwaya e Mayuge. Ssabawaabi agamba nti abavunaaniddwa baali bakolagana butereevu ne Dr Aggrey Kiyingi okutondawo ekibinja ky’abayekeera ekya […]
Ebikoofira bya Piki bizze
Ebifookira ebyambalwa abatudde mu pikpiki ebibalirirwaamu obukadde 100 byebigenda okugabwa okwetotoola mu ggwanga lyonna mu kawefube w’okulwanyisa obubenje Kawefube ono akulembeddwaamu ab’;ekibiina ekirwanyisa obubenje bwa piki nga omwaka guno bakugaba ebikofiira 2500 Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutongoza okugaba ebikoofira bino, akulira ekibiina kino, Barbra Mwanje agambye […]
Ebisanikira by’ebinnya bizze
Ekitongole kya KCCA kitongozezza ebisanikira by’ebinnya bya kazambi ebiggya oluvanyuma lw’ebikadde kyenkana byonna okubbibwa Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi y’akoze omukolo guno ku luguudo lwa Yusuf Lule ne ku lw’omukaaga mu kibangirizi kya bannamakolero. AMyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba nti ebisanikira ebikadde […]
Mafaabi yegaanye okubba ettaka
Omubaka we Budadiri mu bugwanjuba Nandala Mafabi awakanyizza ebigambibwa nti abba ettaka mu municipaali ye Mbale Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku by’emirimu, Mafaabi agambye nti kituufu alina ettaka eriwera e Mbale kyokka nga lyonna yalifuna mu makubo matuufu. Ono ategeezezza nti tanyagangako ttaka […]
Katikkiro akunze obuganda
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olunaku olwaleero asisinkanye abakulembeze okuva mu bwa Kyabazinga bwa Busoga nga bakulembeddwmu Katukiro. Katikiro agambye nti Obusoga bulina okukolagana ne Buganda mu kutumbula embeera z’abantu naddala mu kutumbula eby’obulamu, ebyenjigiriza wamu n’okulwanyisa obutabanguko mu maka. Mayiga era agambye nti […]
E Jjinja lumubetense
Omusajja ow’emyaka 50 abetenteddwa ejinja erimusanze wansi mu mpuku gy’abadde awumulidde . Enjego eno ebadde ku lusozi lwa Kadam mu disitulikiti ye Nakapiripirit nga eno omugenzi Lokori Chogar ekiyinja gyekimusanze. Aduumira poliisi ye Nakapiripirit Cox Apamaku ategezezza nga bwebasobodde okutaasa abaana beyagenze nabo naye omugenzi […]
South Korea etteeka ku benzi livuddewo
Abenzi mu ggwanga lya South Korea bali mu kujaganya oluvanyuma lwa kkooti etaputa ssemateeka okujjawo etteeka eribakwato era nga kati baakwenda kyeere awatali abakuba ku Mukono. Kkooti eno ejjeewo etteeka lino erimaze kumpi emyaka 60 nga era omuntu abadde asibwa emyaka 2. Abalamuzi 9 abatuula […]
atemyeteemye mukyala we
Poliisi mu disitulikiti ye Luuka eri ku muyiggo gw’omusajja ow’emyaka 37 eyakidde mukyaalawe n’amutematema n’ejambiya. Omukwate ategerekese nga Grace Tenywa, omutuuze ku kyaalo Nakiswiga nga ono poliisi egamba y’asanjaze mukyaalawe Nangobi Zabinah. Omuvunaanwa ono alina abakyaala 2 nga buli omu abeera mu makaage […]
UMEME yakwongera okusiga
Gavumenti eteekateeka kwongera ku nsimbi z’okubunyisa amasanyalaze mu ggwanga. Kino kigendereddwamu kwongera ku muwendo gw’abantu abalina amasanyalaze okuva ku 15% okutuuka ku 100% mu myaka 25 egiggya. Nga aggulawo olukungaana lw’abaguza ekitongole kya UMEME ebikozesebwa ne ba kontulakita, minisita omubeezi ow’ebyamasanyalaze Simon Djang ategezezza ng […]
Banka y’eggwanga enalondoola “mobile money”
Banka enkulu ey’eggwanga yakutandika okulondoola enkola ya Mobayilo mane Kino kiddiridde alipoota okulaga nti abantu abasoba mu bukadde omunaana beebakozesa enkola ya mobailo mane. Mu ngeri yeemu era kino kigenda kukolebwa okusobola okukoma ku bagezi ababadde batandise okukozesa enkola eno okunyaga abantu. Akulira banka y’eggwanga […]