Amawulire

Abalina omusujja mu lubuto beyongedde

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Abantu abateberezebwa okubeera n’omusujja  gwomubyenda bakyeyiwa mu ddwaliro lyomu Kisenyi okufuna obujanjabi. Enkambi eyateereddwawo minisitule minisitule y’eby’obulamu yonna ekibyeko abalwadde abalinda okujanjabibwa. Omusasi waffe Shamim Nateebwa atutegezezza nga abaswo abakola ku balwadde bano bwebatayatukirizza muwendo gw’abalwadde bebakafuna. Abavuzi ba taxi nabo gyebakedde okulambula ku banaabwe […]

Gwebayiira Acid afudde

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Poliisi e Mulago ewaliriziddwa okuggalira omulwadde Kassimu Kakaire  oluvanyuma lw’abemikwano n’enganda z’omugenzi Josephine Namanda  okumulumba. Omusajja ono yeeyali bba w’omugenzi Josephine Namanda ng’ono bamulumiriza okuyiira mukyala we Acid n’ekigendererwa ky’okwezza emaali yaabwe Bino byonna bibaddewo oluvanyuma lw’omukyala ono okufa bwezibadde ziwera nga ssaawa musanvu ezaalero. […]

Etteeka ku Bisiyaga likomewo

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

Disitulikiti  Kadhi w’e Masaka asabye ababaka ba palamenti okwanguya okuzza eteeka ku bisiyaga mu palamenti baddemu okuliyisa. Sheik Swaibu Ndugga agamba yadde nga waliwo abantu b’olubatu abaalisimbira ekkuuli olw’ebigendererwa byabwe, bannayuganda banji baliwagira. Sheik Ndugga agamba nga lizzemu okuyisibwa, lyakutaasa omwana w’omuntu ebikolwa bya Sodomy […]

Buganda yewoze obukadde 500 okumaliriza Masengere

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

Obwakabaka Bwa Buganda bwewozeeyo obukadde 500 okumaliriza ekizimbe kya Masengere. Zino zeezimu ku kawumbi akalamba aketaagisa  okumaliriza omulimu gw’okuzimbe ekizimbe kino . Bino byasanguziddwa Katikiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga bw’abadde aggulawo olukiiko lwa Buganda olw’omwaka guno wali mu Bulange Mengo. Katikiro ategezezza nga […]

Lukwago alumbye Mao- Tuleke tukole kayuyege

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

  Loodi meeya w’ekibuga Kampala Erias Lukwago atabukidde ssenkagale w’ekibiina kya DP  Norbert Mao Olw’okuwera ba memba b’ekibiina  abaagala okwesimbawo mu 2016 kku bifo ebyenjawulo  okunonya akalulu  nga ttabamiruka w’ekibiina tannagulwawo. Lukwago agamba kino kimenya mateeka nga era kinyomoola enkola ya demokulasiya mu ggwanga. Nga […]

Olukiiko lw’abalamuzi lugguddewo

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

Emirimu gyakukosebwa mu kkooti enkulu ne kkooti endala ezokuntikko olw’olukungaana lw’abalamuzi oluggulawo olunaku olwaleero. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asuubirwa okuggulawo olukungaana luno nga era lwakugalwawo ku lwokuna. Olukungaana luno lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti omulimu  gw’essiga eddamuzi mu kukyuusa abantu ba Uganda.   Omwogezi w’essiga […]

Olukiiko lwa Buganda lutudde

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

Olukiiko lwa Buganda olusokedde dala omwaka guno lutudde olwaleero mu Bulange e mengo. Okusinzira ku mukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Nelson Kawalya olukiiko luno lugenda kukubaganya ebirowoozo ku ngeri endagaano wakati wa Buganda ne gavumenti  ya wakati eyazza ebimu ku bintu bwa Buganda gyetereddwa mu nkola. […]

Obubenje bubiri busse 13

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

Abantu 10 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Gulu okudda e Juba. Akabenje kano kagudde wali e  Nisitu mu tawuni ye Nimule oluvanyuma lwa baasi ya kampuni ya Bakulu  UAS 201N ebadde edda e Juba okutomeragana bwenyi ne taxi ebadde […]

Mulonde Museveni- Nankabirwa

Ali Mivule

February 21st, 2015

No comments

Minisita omubeezi akola ku by’obuvubi Ruth Nankabirwa alabudde abalonzi ku kulonda abantu abagenda okutabangula eggwanga Ono bw’abadde ayogerako eri banna NRM e Kiboga, Nankabirwa agambye nti abantu bangi abagenda okuvaayo nga bagaala okulya obukulu kyokka nga kiri eri abalonzi okubagoba nga bakozesa akalulu. Ono agamba […]

Aba NRM batabukidde Mwesigye

Ali Mivule

February 21st, 2015

No comments

Abamu ku bawagizi ba NRM e Kabale batandise kawefube w’okugoba akulira ekibiina kyaabwe mu disitulikiti eno Hope Mwesigye nga bamulanga kuva ku mugendo. Bano bagamba nti Mwesigye buli ekisalibwaawo ekibiina ekiwakanya omuli n’eky’okusimbawo pulezidenti Museveni nga tavuganyiziddwa mu kibiina. Nga bakulembeddwaamu atwaala obukiikaddyo bwe Kabale, […]