Amawulire
Abayizi babbidde
Abaana babiri (2) mu somero lya Kabweyakiza Vision High S.S mu gombolola ye Maduddu Emubende ababadde bagenze okuwuga bafiridde mu kidiba kya mazzi. Akulira bambega ba poliisi emubende Twishime Allan abagenzi abameenye nga Bogere Samuel myaka 14 ngono abadde asoma sinior esooka S.1 wamu ne […]
Ekimotoka kibasaabadde
Abantu bana baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga biwala ttaka oluvanyuma lw’ekimotoka ekibadde kyetisse amatafaali okulemerera omugoba waakyo nekibasaabala wali e wa Bakuli. Ku balumiziddwa kwekubadde ne dereeva waakyo. Aduumira poliisi ya Old Kampala Emmanuel Ocamuringa ategezezza nga ekimotoka kino bwekigaanye okusiba nekikoona owa […]
Ogwa Babaka gw amwezi gujja
Kkooti yokuntikko etaddewo ennaku z’omwezi nga 10 omwezi ogujja okuwulirako okwemulugunya kw’ababaka ba palamenti abana abaagobwa okuva mu kibiina kya NRM nga bawakanya n’eky’okugobwa ne mu palamenti. Omulamuzi Stella Arach Amoko ku lwabanne abalala omukaaga ategezezza nga okuwulira omusango guno bwekuluddewo kwekuteekawo olunaku luno. […]
aba UNRA basenguddwa
Ekitongole ky’ebyenguudo mu ggwanga kyegaanye eby’okubanjibwa obukadde obusoba mu 600 ez’obupangisa. Ofiisi z’ekitongole kino ku luguudo lw’omukaaga mu industrial area zikedde kugalwa bawanyondo ba kkooti ku bigambibwa nti ekitongole kino kimaze ebbanga nga tekisasula za bupangisa. Bawanyondo ba kooti okuva mu kampuni ya Trust general […]
Abasiraamu benyigire mu byobufuzi
Supreme Mufti alamulira e Kibuli asabye abayisiraamu obutasigala mabega mu biseera bino eby’okunoonya akalulu benyigire mu by’obufuzi by’eggwanga . Sheikh Zubair Kayongo ategezezza nga eby’obufuzi bino bwebisobola okutwala ediini y’obusiraamu mu maaso. Bino abyogeredde mu kusabira emyoyo gy’abagenzi e Kitosi mu disitulikiti ye Mpigi. Seeka […]
Teri Kakuyege ng’okulonda tekunnaba kutuuka
Ekibiina kya NRM kitabukidde ba memba baakyo abatandise okuyigga akalulu ng’ekiseera tekinnaba kutuuka Ekibiina kino kigamba nti memba yenna asangibwa ng’ayigga akalulu ng’obudde tebunnatuuka wakujjibwa mu lwokaano n’okubonerezebwa mu ngeri endala nnyo Bino ababaka babituseeko mu lusirika olufundikirwa olunaku lw’enkya e Kyankwanzi oluvanyuma lw’ababaka okubadde […]
Mutumbule obulambuzi bw’awaka
Gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kusomesa wamu n’okumanyisa bannayuganda ebikwata ku bifo by’obulambuzi ebiri mu ggwanga, okusobola okwongera ku muwendo gw’abalambuzi abava munda mu ggwanga. Okunonyereza kulaga nti abalambuzi abasinga okujja mu ggwanga bava mitala w’amayanja, songa bannayuganda naddala abalina ku nsimbi bagenda emitala w’amayanja […]
Emiriro gisusse e Masaka
Emiriro egisusse mu kitundu gye Masaka gitandise okweralikiriza abali mu buyinza Atwala essaza lye Buddu Mary Babirye Kabanda y’ayogedde bino bw’abadde akyalidde ab’oku mwalo gwe Lambu abayokebwa omuliro gyebuvuddeko Ono agambye nti ne poliisi kijikakatako okufulumya alipoota ku miriro egibaddewo okwewala embeera eyo okuddamu Kabanda […]
Omusirikale afudde
Omusirikale wa poliisi abadde akikirira poliisi mu kibuga New York Julius Sharita afudde. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango yakakasiza amawulire gano. Sharita yakolerako mu bitongole bya poliisi ebyenjawulo omuli okukulira ekitongole ekinonyereza mu district ezenjawulo nebifo ebirala. Omwoyo gwe Omukama agulamuze kisa.
Teri ajja kuntiisa- Lukwago
Loodimeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago akaladde n’ategeaza nga bw’atajja kufukamirira Muntu yenna kumuzza mu ofiisi Lukwago agamba nti abantu bamulonda era agoberera byebamusindika okukola nga tewali nsonga lwaki akukuta Lukwago okwogera bino ng’akulira oludda oluvuganya gavumenti yakategeeza nti eteseganya zaabwe ne gavumenti ku nsonga […]