Amawulire

Endagamuntu ze Wakiso zituuse

Ali Mivule

January 31st, 2015

No comments

Abeewandiisa okufuna e Ndagamuntu e Wakiso kyaddaaki zituuse. Kaadi eziweza emitwalo 48 zeezituuse ku kitebe kya disitulikiti era ng’okuzigaba kutandise Amyuka ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Rosemary Namubiru akubirizza abantu bonna okugenda gyebewandisiza okufuna endagamuntu zino. Namubiru agambye nti endagamuntu zino zakuyamba banna Wakiso naddala […]

MUfti yetondedde abayisiraamu

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Mufti wa Uganda Sheik Shaban Mubajje olwaleero yetondedde abayisiraamu bonna olw’ensobi z’akoze mu myaka 20 egiyise Mu kusaba okw’enjawulo okw’obumu okubadde ku muzikiti gwa kampala mukadde, Mubajje asuubizza nti essuula empya egenda okuggulwaawo. Mu kusaba kuno Sheikh Sulaiman Kakeeto, Amir Ummah Yahaya Ramathan Mwanje n’owa […]

Eggye ku ba Bokoharam lijja

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Omukago gw’amawanga ga Africa guwagidde eky’okutondawo eggye erinalwanyisa aba Boko haram Akulira omukago guno agambye nti akabinja kano kafuuse kamaanyi nga keetaga kukwasisa maanyi. Bano kati bakuwereezaayo abajaasi emitwalo musanvu n’ekitundu Aba Bokoharam bawambye ebifo ebiwera mu Nigeria nga batandise okuyingira mu Benin, Cameroon, Chad […]

Nabakyala Kemigisha mulimba- Kkooti

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

KKooti erangiridde nti Nabakyala we Tooro Best Kemigisha mulimba Kiddiridde omulamuzi w’eddaala erisooka Simon Kintu okugoba omusango gweyali yawaaba munnamateeka Bob Kasango nti yamubbako ensimbi. Omulamuzi agambye nti Nabakyala Kemigisha yalimba poliisi bweyategeeza nti Kasango yamuwangako yadde ekikumi kyokka ate mu kkooti n’agamba nti yamuwa […]

Okulonda e Bugiri gwa mu gwakusatu

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Akakiiko akalondesa kalangiridde olunaku lwa nga 19 omwezi gw’okusatu ng’ogw’okulonderako ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri omuggya Ekifo kino kyafuuka kikalu oluvanyuma lwa ssentebe Marijani Azalwa okusingisibwa omusango gw’okukuba munne bwebaali besimbyeewo David Mulengeni mu kulonda kwa 2011. Akulira akakiiko akalondesa Eng. Badru Kigundu agamba nti […]

Abazigu balumbye abantu- babatemyetemye

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Abantu abatannaba kutegerekeka balumbya abantu bana ab’omumaka agamu nebamatemateema n’enju yaabwe nebagiteekera omuliro. Kenneth Kalongo, Geoffrey Ntezimana, Margret Tusimire ne maama waabwe  Molly Kyomugasho beebaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okulumbibwa misana ttuku Bino bibadde ku kyaalo Yibale mu gombolola ye , Ntuusi ng’amaka […]

Etteeka ku masimu lijje

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Waliwo munnayuganda addukidde mu palamenti ng’ayagala esseewo etteeka erinayamba abakozesa amasimu obutabbibwa. Justus Amanya agamba nti kkampuni z’amasimu zafuuse nzibi zenyini nga zisala n’ensimbi ku masimu agatayiseemu okwo kw’ossa n’emikutu egisakaala Bw’abadde asisinkana sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga, Amanya agambye nti n’akakiiko kenyini akakola ku […]

Aba dereeva bakwatiddwa lwakulwaana

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Abakulembe ba badereeva mu paaka enkadde babiri bagguddwaako emisango nebasindikibwa e Luzira lwakukuba ba dereeva banaabwe Ku basibiddwa kuliko Michael Ssekiziyivu akulira eby’okwerinda aka TAPSCOM era ng’ono mukwasisa mateeka mu KCCA. Basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Pamela Ocaya emisango nebagyegaana Oludda oluwaabi lugamba nti […]

Alwanaganye ne poliisi atiddwa

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

  E Rakai waliwo omusajja akubiddwa amasasi agamutiddewo bw’abadde alwanagana n’abaserikale ba poliisi ababadde bagenze okumukwata. Bernard Kasumba y’atiddwa oluvanyuma lwa lwa poliisi okumuzingako akwatibwe lwakulumba muwalala wa muliraanwa we n’ejambiya n’amutematema era nga kati ye Phionah Namaganda ali muddwaliro mu mbeera mbi. Kusumba abadde […]

Abakozi ba Speke Hotel bediimye

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Poliisi eyiiriddwa okwetolola Hotel ya Speke wano mu Kampala oluvanyuma lw’abakozi okukeera okwediima nga bawakanya embeera embi gyebakoleramu. Poliisi ekulembeddwamu aduumira poliisi mu massekati ga Kampala Henry Kintu nga era agamba nti bafuba kulaba nga abakozi bano abasoba mu 100 teboonona kintu kyonna n’obutakola ffujjo […]