Amawulire
Eyakubye munnamawulire anonyerezebwaako
Poliisi etandise okunonyereza ku aduumira poliisi ya Old Kampala Jorum Mwesigye eyakkakanye ku bannamawulire n’abakuba nga awuttula ensolo. Olunaku lw’eggulo ofiisa ono y’asiiwuse empisa n’awuttula munnamawulire wa WBS Andrew Lwanga n’ayonona ne kamera ye nga akwata abavubuka abaabadde bekalakaasa olw’ebbula ly’emirimu. Omwogezi wa poliisi mu […]
Namwandu wa Kasiwukira azzeeyo e Luzira
Namwandu wa Eria Ssebunya bangi gwebamanyi nga Kasiiwukira ne banne abalala 3 bongeddwayo ku alimanda E luzira ku by’okuvaako okutta Kasiiwukira. Namwandu Sarah Nabikolo Sebunya, mugandawe Sandra Nakungu n’omuserikale wa poliisi Ashraf Dedeni bebaziddwa ku meere. Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Makindye […]
Eby’okwerinda binywezeddwa ku nsalo ya South Sudan
Poliisi ekwataganye n’ebitongole ebirala okuyiwa basajja baayo ku nsalo ya Uganda ne South Sudan oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo abayeekera abagaala okutanula olutalo. Kiddiridde omwuendo gw’abantu abadduka mu ggwanga lya South Sudan okweyongera. Akulira ebikwekweto mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi agamba nti bbo kyebagaala kwekukuuma […]
Bafudde butwa obubadde mu mwenge
Omuwendo gw’abantu abafudde oluvanyuma lw’okunywa omwenge ogulimu obutwa mu ggwanga lya Mozambique gutuuse ku 69. Omwenge guno okukolebwa okuva mu bulo gwakoleddwa waka era nga kiteberezebwa nti obulo buno bwandiba nga buliko obusagwa bwa goonya. Omu ku bafudde mwana muto eyanywedde ku mwenge guno mu […]
Abe Ankole bagaala bugabe
Abalangira n’abambejja mu bugabe bwe Ankole battukizza okusaba nti obukulembeze bwaabwe obw’ennono bukomezebweewo. Bano bakulembeddwaamu katikkiro waabwe Dr. William Katuramu nga bategese emisomo mwebanaayita okusomesa abantu mu Ankole ku bulungi bw’okubeera n’obugabe Ng’ayogerera mu musomo ogusoose , katikkiro agambye nti abantu abatali bamu bakkirizza nti […]
Katikkiro Mayiga agenze mu kkooti ku ttaka
Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga addukidde mu kkooti ng’ayagala biragiro ebisengula abantu abesenza ku ttaka lye erisangibwa e Musaale mu Busiro mu disitulikiti ye Wakiso. Katikkiro ayise mu munnamateeka we Denis Jjuuko ng;agamba nti mwetegefu okulaga nti yagula ettaka lino ku bukadde 30. […]
Croatia efunye pulezidenti omukyala asoose
Eggwanga lya Croatia lilonze omukulembeze waalyo omukyala asookedde ddala. Kolinda Grabar-Kitarovic y’amezze abadde pulezidenti Ivo Josipovic bw’afunye ebitundu 50.5% . Josipovic akkirizza eky’okuwangulwa era n’akulisa munne n’asuubiza okuwaayo obuyinza amangu ddala nga mukyaala Kitarovic amaze okulayizibwa.
Omukazi asudde omwana mu nsiko
Poliisi ye Lugusulu mu disitulikiti ye Sembabule eri ku muyiggo gw’omukazi kalittima eyazadde omwana n’amusuula mu nsiko n’afa. omukyaala ono atanategerekeka omwana y’amusawuse mu kasiko akalilanye faamu y’omu ku batuuze nga eno gyayafiiridde. ssentebe w’ekyaalo Lukwaasi Toffa Ssemwanga, agamba ebbujje lino lyasuuliddwa ku faamu ya […]
Byandaala akyagaanye okugenda ku poliisi
N’okutuusa kati Minisita w’ebeyenguudo Abraham Byandala tanalabikako ku ttabi lya bambega e Kireka gy’abadde asuubirwa amakya galeero. Poliisi ku lunaku olwokusatu yafulumya ekibaluwa ki bakuntumye eri minisita ono oluvanyuma lw’okwebulankanya enfunda bbiri nga talabikako okukunyizibwa ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo lwa Mukono-Katosi. Ekileppusa minisita […]
Abagambibwa okutta abasiraamu mukaaga bakwate
Poliisi yakakwata abantu 6 ku byekuusa ku kuttibwa kw’abakulembeze b’abayisiraamu wano mu ggwanga. Omukaaga bano baakwatiddwa okuva mu bitundu bya kampala ebyenjawulo . Aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi ategezezza nga abamu bwebakkirizza nga bwebabadde bawandiisa abantu okwegatta ku bayeekera ba ADF […]