Namwandu wa Eria Ssebunya bangi gwebamanyi nga Kasiiwukira ne banne abalala 3 bongeddwayo ku alimanda E luzira ku by’okuvaako okutta Kasiiwukira.
Namwandu Sarah Nabikolo Sebunya, mugandawe Sandra Nakungu n’omuserikale wa poliisi Ashraf Dedeni bebaziddwa ku meere.
Bano balabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Makindye Richard Mafaabi abazizza ku alimanda bw’ategezezza nga okunoyereza ku musango gwabwe bwekutanaggwa.
Wabula…
Poliisi ekwataganye n’ebitongole ebirala okuyiwa basajja baayo ku nsalo ya Uganda ne South Sudan oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo abayeekera abagaala okutanula olutalo.
Kiddiridde omwuendo gw’abantu abadduka mu ggwanga lya South Sudan okweyongera.
Akulira ebikwekweto mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi agamba nti bbo kyebagaala kwekukuuma bannayuganda obutakosebwa mu lutalo
Kyokka era Kaweesi agamba nti bakyetegereza embeera nga bayita…
Omuwendo gw’abantu abafudde oluvanyuma lw’okunywa omwenge ogulimu obutwa mu ggwanga lya Mozambique gutuuse ku 69.
Omwenge guno okukolebwa okuva mu bulo gwakoleddwa waka era nga kiteberezebwa nti obulo buno bwandiba nga buliko obusagwa bwa goonya.
Omu ku bafudde mwana muto eyanywedde ku mwenge guno mu bubba ku mukolo kwegwagabuddwa
Abakungu mu ggwanga lya Mozambique bagamba nti abantu abalala…
Abalangira n’abambejja mu bugabe bwe Ankole battukizza okusaba nti obukulembeze bwaabwe obw’ennono bukomezebweewo.
Bano bakulembeddwaamu katikkiro waabwe Dr. William Katuramu nga bategese emisomo mwebanaayita okusomesa abantu mu Ankole ku bulungi bw’okubeera n’obugabe
Ng’ayogerera mu musomo ogusoose , katikkiro agambye nti abantu abatali bamu bakkirizza nti obukulembeze buno bwetaagisa
Ssentebe w’ekitundu kye Nyamitanga Jonas Nuwagaba agambye nti obugabe buno…
Katikkiro wa Buganda owek. Charles Peter Mayiga addukidde mu kkooti ng’ayagala biragiro ebisengula abantu abesenza ku ttaka lye erisangibwa e Musaale mu Busiro mu disitulikiti ye Wakiso.
Katikkiro ayise mu munnamateeka we Denis Jjuuko ng;agamba nti mwetegefu okulaga nti yagula ettaka lino ku bukadde 30.
Agamba nti kyamwewunyisizza okulaba nga waliwo abantu babiri abazimbye ku ttaka lye…
Eggwanga lya Croatia lilonze omukulembeze waalyo omukyala asookedde ddala.
Kolinda Grabar-Kitarovic y’amezze abadde pulezidenti Ivo Josipovic bw’afunye ebitundu 50.5% .
Josipovic akkirizza eky’okuwangulwa era n’akulisa munne n’asuubiza okuwaayo obuyinza amangu ddala nga mukyaala Kitarovic amaze okulayizibwa.
Poliisi ye Lugusulu mu disitulikiti ye Sembabule eri ku muyiggo gw’omukazi kalittima eyazadde omwana n’amusuula mu nsiko n’afa.
omukyaala ono atanategerekeka omwana y’amusawuse mu kasiko akalilanye faamu y’omu ku batuuze nga eno gyayafiiridde.
ssentebe w’ekyaalo Lukwaasi Toffa Ssemwanga, agamba ebbujje lino lyasuuliddwa ku faamu ya Merabu Kamategesi nga era abatuuze ababadde batyaaba enku bebagudde ku mulambo nebatemya…
N’okutuusa kati Minisita w’ebeyenguudo Abraham Byandala tanalabikako ku ttabi lya bambega e Kireka gy’abadde asuubirwa amakya galeero.
Poliisi ku lunaku olwokusatu yafulumya ekibaluwa ki bakuntumye eri minisita ono oluvanyuma lw’okwebulankanya enfunda bbiri nga talabikako okukunyizibwa ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo lwa Mukono-Katosi.
Ekileppusa minisita y’ebbaluwa gyagambibwa okuwandiikira ab’ekitongole ky’ebyenguudo nga 14th Dec 2013 nga abalagira okuteeka…
Poliisi yakakwata abantu 6 ku byekuusa ku kuttibwa kw’abakulembeze b’abayisiraamu wano mu ggwanga.
Omukaaga bano baakwatiddwa okuva mu bitundu bya kampala ebyenjawulo .
Aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi ategezezza nga abamu bwebakkirizza nga bwebabadde bawandiisa abantu okwegatta ku bayeekera ba ADF nga era essaawa yonna baakutwalibwa mu kkooti bavunanibwe.
Poliisi eriko ekibinja ky’abavubuka ky’egumbuludde nga babadde boolekera ku kitebe kya poliisi e Naguru n’ekiwandiiko ekisaba olukusa okukuba enkungaana mu kibuga Kampala wakati.
Bano poliisi ebasaliddeko wali e Bakuli nga era mu kavuvungano kano munnamawawulire wa WBS Andrew Lwanga akubiddwa abaserikale nga ne kamera ye eyononeddwa .
Aduumira poliisi ya Kmapala eyomumaserengeta afande James Ruhweza akakasizza nga…