Amawulire
Akabenje kasse omu e Mawokota
Omuntu omu afiiriddewo emmotoka bw’eyabise omupiira n’etomera omupiira n’etomera omusajja abadde asala ekkubo. Emmotoka namba UAL 090W double cabin yeeyabise omupiira n’etomera omusajja ategerekese nga Caesar Kawuma abadde avuga pikipiki. Atwala poliisi mu bukiikaddyo bwe mawokota Beedah Katulebe akakasizza akabenje kano, n’agamba nti kavudde kuvugisa […]
Asudde omwana mu kabuyonjo
Poliisi e Lugazi ekutte omukazi wa myaka 35 lwakuzaala mwana n’amusuula mu kabuyonjo Aisha Nakyazze nga mutuuze ku kyaalo Kikoma e Lugazi agambye nti abadde tasobola kulabirira mwana ate nga bba yamwegaana ng’agamba nti yye tazaala. Nakyazze okukwatibwa kiddiridde abatuuze okumulaba nga takyali lubuto ate […]
Poliisi ekutte abalala ku kufa kw’abasiraamu
Poliisi eyongedde okukwata abantu ku byekuusa ku kuttibwa kwa bakulembeze b’abayisiramu wano mu ggwanga. Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga polly Namaye yadde teyaayatukirizza linya lwa Muntu yenna, y’ategezezza nga bwebaliko bebaakutte ku by’okugezaako okutta Sheik Haruna Jjemba wiiki ewedde n’okutibwa kwa sheik Mustapha Bahiga […]
Emirimu gikyesibye ku kkooti e Nakawa
Emirimu ku kkooti ye Nakawa gikyatambula kasoobo yadde nga babadizza amazzi gebaali baabasalako. Olunaku olw’eggulo emirimu gyazingamye oluvanyuma lw’akulira abalamuzi ku kkooti eno Lilian Nahamya okwongezaayo emisango gyonna okutuusa nga babadizza amazzi oluvanyuma lw’okumala wiiki 3 nga teri yadde ettondo ly’otuzzi. Olunaku olwaleero abakozi okuva […]
Ogw’abasomesa gufundikiddwa
Kkooti ya Cityhall etaddewo olunaku lwa nga 22 omwezi guno okusalawo oba abasomesa ku ssomero lya Acorn International School Bukoto bewozaako. Abasomesa abogerwaako beebali ku ssomero nga bebi ow’emyaka ebiri n’ekitundu ebbira. Oludda oluwaabi luleese abajulizi mukaaga okubadde n’omusawo eyekebejja omulambo gw’omwana Michelle Baraza nga […]
Abasomesa batabuse ku nsimbi z’okwekulakulanya
Abasomesa okuva mu bibiina 48 bazize ensimbi ezabaweereddwa okwekulakulanya nga bagaala ziyite mu bibiina kyaabwe Kiddiridde ab’ekibiina ekigatta ebibiina ebiwola ensimbi ekya gavumenti okutegeeza nga bwekyabadde kisindise ensimbi mu basomesa bano. Ssaawandiisi w’omukago gw’abasomesa bano, James Tweheyo agamba nti minisitule y’ebyenjigiriza ebuzabuuza abantu kubanga bbo […]
Aba DP baanirizza Seya
Ab’ekibiina kya DP bategeezezza nga bwebalia betegefu okuddamu okukolagana ne Alhajji Nasser Ntege Ssebaggala eyalekulidde ogw’okuwa pulezidenti Museveni amagezi. Sebaggala yali munna DP omugundiivu kyokka n’abalekulira oluvanyuma lw’okuwangulwa mu kalulu ka 2011. Akulira DP Nobert Mao agamba Ssebaggala asobola okuddamu okubetaggatako ssinga ava mu kibiina […]
Omusiraamu omulala attiddwa
Waliwo omukulembeze w’abayisiraamu omulala attiddwa mu ngeri etategerekeka Shiek Hajji Muha Sebugwaawo attiddwa ekibinja ky’abagoba ba bodaboda bw’abadde agenze ewa Muganda we okufuna ku nsimbi okwejjanjabisa Muganda w’omugenzi Haruna Jagwe agamba nti omugenze amukubidde ng’asaba amutaase kubanga abadde afunye obuzibu oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya n’owa bodaboda […]
Abe Mulago bewozezzaako ku mwana
Eb’eddwaliro lye Mulago balumirizza abafumbo abagamba nti baacanze omwana waabwe okubeera abalimba era abeenonyeza ebyaabwe Nga boogerako eri bannamawulire, abe Mulago bategeezezza ng’omukyala ono bweyasindikibwa abe kawaala abaali bamulemereddwa kubanga omwana yali amaze okufa. Ono kigambibwa okuba nga bweyatuuka e Mulago yakolebwaako era nebamutegeeza nti […]
Abasoma obusawo e Mulago beediimye
Abayizi abasoma obusawo nga bayambako okujanjaba mu ddwaliro ekkulu e Mulago bediimye nga kanaluzaala ava ku butasasulwa nsako yaabwe. Bano nga basoba mu 150 bagamba nti tebanasasulwa nsako yaabwe eyakakadde akamu n’ekitundu okuva mu mwezi ogw’ekkumi omwaka oguwedde. Abayizi bano kuliko abagaba eddagala, abalongoosa […]