Amawulire

Essundiro ly’amafuta erya Fuelex liggaddwa

Ali Mivule

January 6th, 2015

No comments

Ekitongole ekiwooza kigadde essundiro ly’amafuta erya  Fuelex wali e Nalukolongo nga ekiriiro ky’emmere ne supamaketi ebibaddeko tebabitalizza. Akulira okungaanya amabanja mu kitongole kino  Abdul Salam Waiswa agamba bano babajibwa omusolo gwa bukadde 70 wabula nga bazze bakyuusakyusa obukulembeze bw’essundiro lino okwebalama omusolo. Essundiro lino lyerimu […]

Seya ayabulidde pulezidenti Museveni

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

Eyali meeya w’ekibuga kampala Alhajji Ntege Sebaggala alekulidde omulimu e eky’okuwabula pulezidenti Museveni. Ssebaggala yalondebwa okuwabula pulezidenti Museveni oluvanyuma lw’obutakakasibwa nga minisita olw’empappula z’obuyigirize. Ng’ayogerako eri bannamawulire, Sebaggala agambye nti mu bbanga ly’amaze ng’awabula pulezidenti Museveni tewali kikyuuse kale nga talaba lwaki asigala ku kifo […]

Eyayokebwa aci ayongera kuba bubi

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

Abantu basatu abagambibwa okuyiira omusuubuzi w’omu kampala acid ku luguudo lwa Northern Bypass baddiziddwaayo ku meere e Luzira. Irene Namanda yayiirwa acid bweyali ne bba nga bava okutuuma bebi waabwe erinnya era nga kino kyabaawo ng’omwaka oguwedde guggwaako Abasatu bano kuliko ne bba w’omusuubuzi ono […]

Abasomesa bakaaye ku kubakyuusa

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

Abasomesa wansi w’omukago gwaabwe ogwa UNATU batabukidde minisitule y’ebyenjigiriza olwokukyusakyusa abasomesa. Kiddiridde minisitule eno okukyusakyuusa abasomesa okuva mu lusoma olujja ngamasomeroa gaasinze okukosebwa kwekuli Makerere College ne Kings College Buddo. Ssabawandiisi w’abasomesa James Tweheyo agamba nti kino kikosa amasomero era nga gavumenti yandibadd ekyewala. Wabula […]

omuyindi taliiko babe

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

Ab’eddwaliro ekkulu e Mulago batubidde n’omusajja enzaalwa ye buyindi ali mu mbeera embi mu ddwaliro e Mulago Omusajja ono atalina kimwogerako yatwalibwa e Mulago ng’akubiddwa abantu abatategerekeka kyokka nga kati ssabbiiti nnamba nga teri Muntu we yalabiseeko Omu ku basawo abamukolako, Dr. Charles Sendikaddiwa agamba […]

Emirambo mu kitoogo

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

E  Busega abatuuze bagudemu ekyobeera, bwebasabasanze omulambo  gw’omwana wa mutuuze munaabwe nga gusuulidwa  mu kitoogo kye Lubigi. Ono  amanyidwa nga Kiseka, kigambibwa nti abade atutte ebanga  lya naku biri nga abuze, wabula mutundu lya leero asangidwa nga afiiride mukitoogo Mungeri yeemu poliisi eriko omulambo gw’omusajja […]

Omusajja akutte omwana

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

Poliisi ye  Lukaya mu disitulikiti ye  Kalungu eriko landiloodi  ow’emyaka 50 gwekutte nga emuvunaana kusobya ku kawala komupangisa we ak’emyaka 12. Alex Jemba y’aleppuka n’ogw’obwasseduvuutu nga era maama w’omwana ono agamba landiloodi ono yageze taliiwo n’amalira ejjakirizi ku kawala ke. Maama agamba abaana bwebaabadde bazannya […]

Aba Taxi beedimye

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

Waliwo ekiwayi ky’aba taxi mu keediimo akali e Kayabwe abavudde mu mbeera nebasalawo okusuula emisanvu mu bubuga obw’enjawulo ku luguudo lw’e Masaka nga bano bagenda bayiwa abasaabaze abatikkiddwa mu motoka ezewaggudde eza paaka  y’e Kayabwe nezisalawo okukola. Waliwo n’emotoka ekubiddwa n’eyiibwa endabirwamu ku siteegi  y’omu […]

Abagambibwa okubeera abatujju bazze mu kkomera

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

Abantu 10 abaakwatibwa omwaka oguwedde ku misango gy’obutujju bongeddwayo ku alimanda e Luzira oluvanyuma lwamunnamateeka w’oludda oluwaabi Edward Muhummuza okusaba kkooti akadde akalala okwongera okunonyereza ku nsonga eno. Bano babadde maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road  Sanyu Mukasa era omusango n’agwongerayo okutuusa nga 19th […]

Kabaka avumiridde okutta Abasiramu

Ali Mivule

January 1st, 2015

No comments

Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Muteebi avumiridde ebikolwa eby’okutta abasiramu ebikyasse enyo ensangi zino. Mububaka bwe obw’omwaka, Omutanda asabye ebitongole ebikuuma dembe okwongera okukola okunonyereza ku kiki ekiviraako abasiramu okutingana, kubanga ebikolwa bino biteeka ebyokwerinda by’eggwanga mu mattigga. Obubaka bw’omutanda buze ng’abakulembeze b’abayisiramu babiri […]