Amawulire
Lukwago alabudde gavumenti ku by’okumuzza mu ofiisi
Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago alabudde gavumenti obutageza kwebulankanya ku ky’okumuzza mu ofiisi mu mwezi 2 omwaka ogujja nga bweyasuubizza. Gavumenti nga eyita mu ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda olwokutaano oluwedde yeyama okuzza Lukwago mu ofiisi okumalawo okusika omugwa mu kibuga Kampala. […]
Museveni alabudde abavubuka
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye abavubuka okusitukiramu balwanyise ebbula ly’emirimu nga baboola abo bonna abalemesa amakolero okutandikibwa wano mu ggwanga. Museveni agamba abasimbira ekkuuli amakolero gano bebabalemesezza okufuna emirimu kale nga basaana okubeera abegendereza n’abantu ab’engeri eno. Bino pulezidenti y’abyogedde ateeka omukono ku ndagaano ne […]
Omusajja Yetuze
Abatuuze ku kyalo Golo mu disitulikiti y’e Mpigi baguddemu ekyekango bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga yetuze. N’okutuusa kati ebikwaka ku musajja ono tebinamanyika, kubanga abatuuze bagamba nti tebamumanyi mu kitundu kino. Addumira poliisi mu Maserengeta g’eggwanga Joseph Ayiki ategezezza ng’omusajja ono bw’atalina kimwogerako era nga […]
Kidega asikidde Zziwa
Omubaka okuva mu ggwanga lya Uganda era nga muna kibiina kya NRM Daniel Kidega alondeddwa ku bwa Sipiika wa palamenti ya East Africa. Ono asikidde Margret Nantongo Zziwa eyagobeddwa akawungeezi k’eggulo,oluvanyuma lw’ababaka 36 okuwagira ekiteeso eky’okumugyamu obwesige. Kidega awangudde ekifo kino ngatavuganyiziddwa oluvanyuma lw’ababaka 3 […]
Gavumenti bagikkirizza okwewola okutumbula eby’entambula
Olukiiko lw’eggwanga lukulu lukiriza gavumenti okwewola ensimbi obukadde bwa doola 175 okuva mu banka y’ensi yonna okwongera okutumbula ebyentabula mu kibuga Kampala. Ekiteeso eky’okwewola ensmbi zino kyasoose kulema kuyita, oluvanyuma lw’omuwendo gw’ababaka okuba omutono, ekyawaliriza amyuka sipiika Jacob Oulanya, okuwumuza okukubaganya ebiroowa emirundi 2.
Rugunda avuddeyo ku bya Lukwago
Ssabaminisa w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda ategezezza palamenti nga gavumenti bwetandise okuteseganya n’abakulembeze abali ku ludda oluvuganya gavumenti ku nsonga za loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago. Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago amaze ebbanga lya mwaka mulamba nga tali mu offiisi, oluvanyuma lwa bakansala ba KCCA […]
Eyazaala mu muwalawe asibiddwa mayisa
Kkooti enkulu e Masaka eriko taata kagwensonyi ow’emyaka 54 gw’esibye amayisa lwakuzaala mu muwalawe. Omulamuzi Margret Oumo Oguli y’asingisizza Geoffrey Rwishasha omusango guno olw’okwefuula namunswa n’aleeta amawano. Rwishasha nga taata w’abaana 6 yakakana ku muwalawe ow’emyaka 14 n’amusobyako ate n’amutikka n’olubuto nga omusango guno yaguzza […]
Kkooti eyimirizza KCCA okumenya akatale ka Kisekka
Agava mu kootii , galaga nga abasuubuzi bomu Katale ka Kisekka bali mu kujaganya oluvanyuma lwa kkooti okuyimiriza ekitongole kya KCCA okubasengula nga okuva mukatale kano akagenda okuddabirzibwa, okutuusa nga 14 January kkooti bwenaaba emaze okuwulira omusango abasuubuzi gwebaawaba nga bawakanya eky’okubasengula. Ekiragiro kino kiweereddwa […]
Kadaga anyonyodde ekilwisizzayo ebirowoozo ku ssemateeka
Nga ebula olunaku lumu lwoka nsalesale w’okuweerayo ebirowoozo bye’nongosereza mu ssemateeka atuuke, yye Sipiika wa palamenti rebecca Kadaga anyonyodde ekireesewo okukandalirira, Akiiko akakola ku byamateeka aka Law reform commission kaatekawo olunaku lw’enkya nga nsalesale w’okufunirako ebirowoozo byonna ebinaatekebwa mu ssemateeka omuggya , Nga ayogerako […]
Ssabawolereza Nyombi ajereze bannamateeka
Ssabawolereza wa gavumenti atabukidde abakulira ekibiina ky’abannamateeka mu ggwanga lwakwagwala kumulemesa mulimu gwe oluvanyuma lw’okumusaba alekulira nga bagamba emirimu gimulemye wabula kkooti n’egoba okusaba kwabwe. Bannakibiina bano baawalawala Nyombi okutuusa mu mbuga z’amateeka nga balumiriza nga bwasusse okuwabya gavumenti nga agiwabula ekifuulanenge ku nsonga z’amateeka […]