Amawulire
Abavubi b’ekalangala balumbiddwa ensekere
Agavva e kalangala kubizinga bye Banga galaga nga ensekere bwezirumbye ekizinga kyonna , wabula nga ekyenyamiza kwekuba nti zituuse ne mubitundu by’ekyaama by’abantu. Abatuuze bagamba nti bajudde ebiwundu mubuli katundu okuviira dala kumutwe mu nkwawa okutuuka ebuziba, wabula nga ensibuko yakino tenamanyika Annet Nabukeera, nga […]
Abavubuka ba ssanduuke bawonye ekkomera
Ate okuvaako mu kooti abavubuka abakaalakaala ne ssanduuke babuukira mabega nga jjanzi ,oluvanyuma lw’omulamuzi wa kkooti ya City hall okugoba omusango ogubade gubavunaibwa gw’okukuba enkungaana ezimenya amateeka ogubadde gubavunanibwa. kinajukirwa nti Bano baabagalira e ssanduuke y’abafu nebagitwala ku kibumbe ky’amefuga mu kwekalakaasa olw’ebbula ly’emirimu mu […]
Kanisa erabudde abaweereza abaana mu bazungu
Kanisa ya Uganda evumiridde ekikolwa kyabazadde eky’okugaba nga abaana baawe eri abazungu babalabirire , nga kino mukaseera kano kibafudde baddu benyini . Bwabadde awa obubaka bwa mazaalibwa, ssabasumba we kanisa ya Uganda His grace Stanley Ntagali agambye nti ensangi zino abazadde beesabye abaana baabwe nebasalawo […]
ssentebe Mapenduzi ye ssentebe esinze omwaka guno
Alipoota erambika enkola ya gavumenti ez’ebitundu eyabuli mwaka giyite local government score card efulumzidwa , nga eraze nga gavumenti zino bwezikolera ddala obulungi, naddala mu kukwatagana n’abantu babulijjo Alipoota eno eyakoledwa ekitongole ekya ACODE eraze nga ssentebe wa disitulikiti ye Gulu Martin Ojara Mapenduzi bwakize […]
Abbye bodaboda bamwokezza
E Lwengo waliwo omubbi wa pikipiki akubiddwa emizibu n’omulambo gwe negukumwako omuliro. Bino bibadde wali ku kitoogo kye Dongwa nga yye omulala yemuludde n’adduka oluvanyuma lw’okugezaako okutta omuvuzi wa Bodaboda Joseph Kiwanuka bamubbeko pikipikiye UEB 168N. Ababiri bano baatukiridde Kiwanuka akolera ku siteegi ye Ddegeya […]
omusumba ali mu kattu ku by’okusobya ku atanetuuka
E Masaka waliwo omupaatiri alumirizibwa okusobya ku muwala atanetuuka n’amufunyisa olubuto ate n’alwegaana. Omuwala ono ow’okukyaalo Kasaali yawaabye dda eri omubaka wa pulezidenti e Masaka nga alumiriza omupatiri ono okumuttikka eramugema eby’okusoma n’abivaako ate n’amala n’amwegaana. Omukyaala ono kati omukulu agamba omupaatiri ono ekyewunyisa […]
Ababbi 2 batiddwa e Kololo
Poliisi eriko abasajja 2 besse wano e kololo, nga bano babadde bagezaako okunyaga ensimbi okuva kubabadde bazitambuza Abatidwa kuliko Zubair Tweheyo n’omulala atanamanyika manyage , sso nga yye zubair Ali nga ono yabade abalagirira amakubo akwatidwa . Bano okutibwa babade bagezaako okunyaga ensimbi okuva ku […]
Ttabamiruka wa NRM asombodde abawerako
Ate wowulirira bino nga ttabamiruka w’ekibiina kya NRM agenda mu maaso nga era abakungu abasoba mu 10,000 bebasuubirwa okumwetabamu. Wabula wabaddewo okwemulugunya okuva eri bannamawulire nga abamu bbanaabwe amanya gaaabwe bwegajiddwa ku lukalala lw’abagenda okubeerayo e Namboole. Wabula yye omwogezi w’ekibiina kino Ofwono Opondo agamaba […]
Ssekikubo alabudde bannayuganda ku bya Ssejusa
Amadda ga munnamagye Gen. David Ssejusa kukyagyamu bannayuganda omwasi. Ssejjusa y’akomyewo olunaku olw’eggulo oluvanyuma lw’ebbanga nga adduse mu ggwanga lwakutegeeza nga bwewaliwo olukwe lw’okutta abakukunavu mu magye ku by’omukulembeze w’eggwanga okusikiza mutabaniwe ku bukulembeze bw’eggwanga. Kati omubaka wa Lwemiyaga Theodore Ssekikubo yemulugunya ku ngeri Ssejusa […]
Omukozi eyatulugunya omwana asibiddwa emyaka 4
Omukozi w’awaka eyatulugunya omwana wamukamawe asibiddwa emyaka 4. Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Lillian Buchyana amusaliddeko omwaka gumu ku kibonerezo eky’emyaka 5 ekisembayo ku musango guno. Omulamuzi ategezezza nti yadde nga Jolly Tumihirwe 22 yemulugunya ku maama w’omwana naye okumutulugunya, omwana gweyabonyabonya y’ali talina […]