Amawulire
Mbabazi yeegaanyi ekyo’kwekandagga
Agava mukibiina kya NRM galaga ng’olukiiko olukulu olufuga ekibiina kino luyite Central Executive Committee bwelusazeewo nti ssentebe w’ekibiina kino abeere n’obuyinza okulonda ssabawandiisi w’ekibiina kko n’omumyukawe. Amyuka omwogezi wekibiina kino Ofwono Opondo atubuulide nti kino okutuukibwako wabadewo okusika omuguwa, era nga kino kyaviirideko n’eyali ssabaminister, […]
Gen. David Sejjusa akomyeewo ku butaka
Amangu dala nga Gen David Ssejusa kyagye akomewo kubutaka amakya ga leero , abasengejja ensonga bamutunuulide nga alina ekigendererwa ekyeetaga okunoonyerezaako n’obwegendereza . Eyaliko ssenkagala wa FDC Dr. Besigye yoomu kubasoose okwanirza amadda ga ssejusa , nga ono obubakabwe obubaka obufunze abuyisizza kumukutu gwa […]
3 bafiiridde mu kabenje
Abantu basatu beebafiiriddewo mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Abagenzi bategerekese nga Robert Kalumba Paul Nkusi n’omuwala atategerekese mannya kyokka nga muyizi ku ttendekero lya Muteesa one royal university. Akabenje kano kagudde ku kyaalo Kyakumpi nga motoka kika kya Subaru […]
Poliisi abategese okulumba ttabamiruka wa NRM
Poliisi egamba nti egudde mu lukwe lw’abantu abagaala okutataaganya ttabamiruka w’ekibiina kya NRM ku bbalaza Ssabaduumizi wa poliisi Gen Kale Kayihura agamba nti ebibinja bino bya bavubuka abeeyita balunkupe ababadde bategeka enkiiko ezitali zimu mu kibuga Kaihura agamba nti era waliwo ssente eziweebwa abavubuka nga […]
Embeera ewa Kisekka eteredde
Abasuubuzi mu katale ka Kisekka bazzeemu okukakkalabya emirimu oluvanyuma lw’okumala olunaku lulamba nga beekalakasa olunaku lwajjo. Olwaleero abasuubuzi baggudde amaduuka era bangi balabiddwaako nga bakola gyaabwe Ne poliisi eyabadde eyiiriddwa mu katale tekyaliiyo. Olunaku lwajjo abasuubuzi bavudde mu mbeera nebeekalakaasa nga bawakanya eky’oksuengulwa mu katale […]
Kabuyonjo ebisse omusajja
Entiisa ebuutikidde abatuuze mu zooni ye Nabisalu e Makindye omusajja abadde asima tooyi ettaka bwerimubutikidde. Omusajja ono atanategerekeka manya abadde nebanne kyokka, tooyi eno ebadde essusa fuuti 40 n’emugwira. Abatuuze betyogeddeko nabo batutegezeza nti poliisi tenatuuka mu kitundu kino.
Ssabawolereza ali mu kattu
Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku mivuyo mu kuzimba oluguudo lw’egaali y’omuka, katadde ssabawolereza wa government Peter Nyombi kuninga anyonyole kubigambibwa nti yalagajalira omulimu gwe mu kugaba contract eyokuzimba oluguudo luno. Akakiiko kano kalumiriza Nyombi okulemererwa okuwabula government ngatenakiriziganya ne company yaba China, okutandika okukola oluguudo […]
Abasuubuzi ba Kisekka mazzeemu okwekalakaasa
Emirimu gyisanyaladde mu katale kewa Kiseka oluvanyuma lw’abasubuzi okwekalakasa ngabawakanya ekyokumenya akatale kabwe. Abasubuzi bewa Kiseka bamaze ebanga nga balwanagana , wakati wabo abawakanya ekyokumenya akatale kano nabo abakiwagira. Kati poliisi ya military eyiriddwa mu katale kano okusobola okuza embeera munteeko.
Pulezidenti Museveni yakyaawa kkooti y’ensi yonna
Pulezidenti Museveni agamba nti wakulekera awo okukolagana ne kkooti y’ensi yonna. Ng’ayogerera ku mikolo gy’amefuga ga Kenya, pulezidenti Museveni yeebuzizza lwaki kkooti eno yagenda mu maaso n’okuwozesa abakulembeze mu Kenya ng’ate kkooti ya Africa yali nayo esazeewo okubawozesa Ebigambo bya pulezidenti Museveni bizze ng’akulira eggwanga […]
Poliisi esse bataano e Busega
Poliisi kyaddaaki ezudde ebisingawo ku bazigu omunaana abaalumbye supamaketi e Busega. Abataano ku bano baakubiddwa amasasi agaabatiddewo ate abasatu nebakwatibwa. Amyuka omwogezi wa poliisi, Polly Namaye agamba nti abattiddwa kuliko David Kaweesa, Kamoga ssali, ne Christopher Ssenkungu nga bonna babeera ku kitawuluza e Makindye. Namaye […]