Amawulire
Abawala bafumbirwa bato
Alipoota efulumiziddwa eraga nti abawala e Uganda abasinga bafumbirwa ku myaka 13. Alipoota eno ekoleddwa mu situlikiti ye Mayuge ne Sembabule n’eraga nti abazadde batuuka n’okusindika abaana baabwe mu bufumbo nga balaba bakuze. Kino kibaawo yadde kiri lwaatu mu ssemateeka nti omuwala akulira ku myaka […]
Muve e Dubai mukomewo ewaka
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye bamusiga nsimbi okuva mu kyombo kya buwarabu okujja kuno batandikewo emirimu egyenjawulo. Museveni agamba nti abawarabu bano basobola okuyamba okuzimba emyalo egyenjawulo olwobumanyirivu bwebagirinamu okuva ewaabwe nga kino kyakuyamba Uganda okutumbula eby’obusuubuzi bwayo mu mawanga amalala. Bino pulezidenti y’abyogeredde ku […]
Abawakanya Pistoruis bajulidde
Omulamuzi wa kkooti ya South Africa akkirizza abemulugunya ku kibonerezo ky’omuddusi Oscar Pistorious okujulira . Pistoriuous yasibwa emyaka 5 mu October lwakukuba muganzi we Reeva Steenkamp ebyaasi ebyamutta wabula n’atasingisibwa musango gwabutemu banji kyebawakanya. Abavunaaba Pistorious bagamba omulamuzi Thokozile Masipa teuataputa bulungi mateeka bweyategeeza nga […]
Nkumba eggulawo mwaka gujja
Yunivasite y’e Nkumba yakuggulwawo omwaka ogujja nga 19 January wabula n’obukwakkulizo obukakali eri abayizi bonna abakomawo. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa ssentebe w’olukiiko olutwala ettendekero lino Dr David Byatike Matovu buli muyizi asoma emisana wakusasula emitwalo 20 okuddabiriza ebyo byebayonoona nga bekalakaasa. Ettendekero lino lirina abayizi b’emisana […]
Dereeva ayimbuddwa
Dereeva w’emmotoka ya KCCA eyafotola omwana ow’emyaka 2 n’ekitundu nganyina ali mu kkooti avunanibwa gwakutundira ku luguudo asambira mabega nga jjanzi oluvanyuma lw’okweyimirirwa. Baguma Anwali kati wakuwoza nga ava bweru oluvanyuma lw’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Lilian Buchana okukkiriza yeyimirirwe ku bukadde 2 ezabuliwo […]
Aba Sudan ssibakuweebwa nkambi
Gavumenti etegezezza nga bwetagenda kuteekawo nkambi yababundabunda bonna ndala eri abo abava mu ggwanga lya south Sudan. Kino kiddiridde alipoota ya poliisi okutegeeza nga abasudani abasoba mu 200 bwebesogga Uganda buli lunaku nga bayita e Nimule. Kati minisita omubeezi akola ku nsonga zababundabunda n’ebigwa tebiraze […]
Eby’omukozi bikutte ekkubo eddala- ebyasooka bifu
Omusango gw’omukozi eyatulugunya omwana wa mukamawe n’agukkiriza guzzemu obungodiila . Omusango gwa Jolly Tumuhiirwe kati gujuluddwa okuva mu kkooti ya City hall ne gudda mu ya Buganda Road. Omuwaabi wa gavumenti Miriam Njuki ategezezza nga fayilo y’omusango guno bweyasindikiddwa mu kkooti ya Buganda Road era […]
Abajaasi bataano bafudde
Waliwo abajaasi b’eggye lya UPDF bataano abafiiride mu kabenje ate 10 nebabuuka n’ebisango. Akabenje kano kagudde ku luguudo luva e Kasese okudda e Fort Portal. Getufunye galaga nga kiloole kwebabadde batabulira bwekiremeredde omugoba waakyo mu kitundu kye Bunjojo mu gombolola ye Bunyangabu mu disitulikiti ye […]
3 bafiiridde mu bubenje obwenjawulo
Abantu babiri beebafiiridde mu kabenje akagudde e Namataba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jjinja Abagenzi babadde batambulira mu mmotoka kika kya Mark two nga bakooneddwa tuleera ebadde egezaako okusala ekkoona Mu ngeri yeemu , omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akabadde e Nasuuti […]
Omubaka we Amuru omukyala alayiziddwa
Omubaka omuggya owe Amuru Lucy Akello alayiziddwa Akulira ekibiina kya FDC Maj. General Mugisha Muntu n’owa UPC olara Otunnu beebamu ku babadde nga Akello alayira mu palamenti. Akello yawangula munna NRM Jane Francis Amongin mu kalulu akaliko n’obugombe Ono y’azze mu kifo kya Betty Bigombe […]