Akola ng’omuwi w’amagezi eri gavumenti ku bya mateeka agamba nti tasobola kuwa magezi ku nsimbi mmeka ezirina okusasulwa abafumbo ababbibwaako omwana waabwe ku ddwaliro e Mulago.
Akiikiridde ssabawolereza wa gavumenti Bichachi Ojambo y’ategeezezza omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe nti ssabawolereza w’eggwanga ali bweru ate nga yye tasobola kusalawo nga sekinnoomu.
Omwezi oguwedde, gavumenti yakkiriza okusasula Micheal…
Abakolera ku kizimbe kya Mabirizi baguddemu ensisi, omusajja bw’avudde eri neyettira ku kizimbe kino.
Omuvubuka ono ategerekese nga Deus Kabisire ng’abuuse okuva ku mwaliro gw’okuntikko n’afiirawo.
Aduumira poliisi y’amasekkati ga kampala Henry Kintu agamba nti byebakafunawo biraga nti omusajja ono abadde yafunye obutakkaanye ne muganzi we
Omugenzi kigambibwa okuba ng’alese ekiwandiiko ekiraga nti yesse kubanga alina omuwala gw’ayagala…
Omukozi w’awaka eyalabikira mu katambi nga atulugunya omwana wa mukamawe omusango agukkirizza.
Ono abadde alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabenda ku musango gw’okutulugunya omwana.
Yaaya ono Jolly Tumuhiirwe asoose kwetondera bazadde b’omwana gweyatulugunya era neyejusa ekikolwa kino era n’akkiriza nga bwegumusinga.
Gyebuvuddeko poliisi yali eyagala kukyuusa mpaaba ya musango guno gudde ku gw’okugezaako…
Amyuka Ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi aliko omukoko gw’ebbaluwa gwawandikidde abakulembeze b’amawanga nga East Africa ng'abasaba bayingire mu nsonga z’okugoba sipiika wa Palamenti ya East Africa Margret Zziwa.
Ruhindi avumiridde ekikolwa eky'okugoba Zziwa nebamusikiza Chris Opoka, n'ategeeza nti kyaali kimenya mateeka kubanga ababaka be East Africa balemerererwa okuwaayo okwemulugunya kwabwe mu butongole ku neeyisa ya Zziwa…
Ekibiina ekigatta abatega ensenene basabaze ebyogerwa nti bakozesa eddagala okukwata ensenene.
Kinajukirwa nti ku lunaku olwokuna nankulu wa Kampala Jennifer Musisi, yalangira abakwata ensenene okukozesa eddagala eritta ebiwuka okukwata ensenene n'alabula n'abazirya
Akulira ekibiina kya Old Masaka Basenene Association Kuraish Katongole agambye nti ebyayogeddwa Jennifer Musisi tebiro mitwe namagulu.
Katongole agambye nti bo bannamasaka ensenene bazikwata bulungi nga…
Ekibiina ekiri mu buyinza kikudaalidde omukulembeze w’ekibiina ky FDC Maj Gen Mugisha Muntu.
Olunaku lw'eggulo Muntu yategeezezza ng’ekibiina kya NRM bwekigenda okusaanawo oluvanyuma lwa ttabamiruka waakyo agenda okubeerawo nga 15 omwezi guno.
Omwogezi wa NRM Ofwono Opondo awadde Muntu amagezi okuteeka essira mu kumalawo obutakaanya obuli mu kibiina kya FDC okusinga okudda kubitamukwatako.
Ofono agambye nti Muntu yandiba…
Ssabasaja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Muteebi 11 mutaka mu ssaza lye Mawokota mu kibuga Buwama okukuza emikolo gy’abavubuka mu Buganda.
Omutanda eyaniriziddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, minisita w’abavubuka Herny Kiberu Ssekabembe, abakulembeze ba’amadiini, abakulembeze ba district ye Mpigi, wamu n’abantu abalala.
Entiko ey’emikolo gyonna ebadde ku kisaawe kya Arch- Bishop Kasujja mu Kibuga…
Ab’ekibiina kya FDC bayisizza enteekateeka y’emyaka ena enagobererwa okuddukanya ekibiina.
Bamemba bakkiriziganyizza okukendeeza ku bifo by’abakulembeze okuviira ddala ku byaalo okutuuka ku disitulikiti nga kati n’abamyuka ba ssentebe baggyiddwaawo n’asigala omu.
Kati era emirimu gya FDC gyakutandikira ku byaalo sso ssi ku bifo ebirondebwaamu nga bwegubadde
Ttabamiruka wa FDC ono yayitiddwa kutereeza ebibulamu ng’ekibiina kyetegekera okulonda anaakwata bendera…
Omukulembeze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta asambira mabega nga jjanzi oluvanyuma lwa kkooti y’ensi yonna okumujjako emisango gyonna gy’ebadde emuvunaana..
Ssabawaabi wa kkooti eno , Fatou Bensouda agamba oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi obumatiza nti ddala Kenyatta alina omusango gw’okwewozaako.
Kenyatta abadde avunanibwa kuwagira kitta bantu ssako n’okutyobola eddembe ly’obuntu mu ggwanga lya Kenya ebyaliyo mu 2007.
Ebikujjuko ebitali bimu bigenze mu maaso mu ggwanga lya South Africa okujjukira nga bweguweze omwaka bukyanga Nelson Mandela afa
Wabaddewo okussa ebimuli ku malalao g’omugenzi n’empaka z’emizannyo egitali gimu.
Abavumirira ekiboola langi era beegasse ku namwandu wa Mandela Graca Machel okwetaba mu kusabira omwoyo gw’omugenzi mu kibuga Pretoria.
Abantu bawuliddwa nga bafuuwa emirere okwetoola eggwanga nga tebannasirikirira okumala…