Amawulire
Omuyizi yesse lwakugwa bigezo
Mu disitulikiti ye Lwengo Poliisi eri mu kunonyereza ku muyizi w’essomero ow’emyaka 10 eyeetuze nga atya bazadde be okumutta lwakudda mu kibiina. Omwana ono abadde asoma kyakuna ku ssomero lya Bishop Ssenyonga Primary school, era nga olwategedde nti ebigezo abigudde,neyejja mu budde. Okusinziira ku mwanyina […]
Eyazaala mu muyindi addukidde ku poliisi
Maama w’omwana ow’emyaka esatu addukidde ku poliisi nga yemulugunya ku bba gw’alumiriza okwagaala okumutta Damalie Kaija agamba nti bba enzaalwa ye buyindi amutulugunya buli lw’agaana okumuwa ssente nga yatuuse n’okutegeeza nga bw’ajja okumutta n’omwana we Kaija aagamba nti addukidde mu bitongole ebitali bimu okuli aba […]
Endagamuntu tezinnatuuka ku miruka
Okugaba endagamuntu kwandiba nga kwatongozeddwa kyokka nga tekunnatandika mu bitundu bya kampala ebisinga Ku miruka gyonna gyetubadde, abantu abazze okukima kaada zaabwe bagobeddwa. Muno mwemuli ab’omuluka gwa Mengo 1 , 2 ne Kisenyi era embeera yeemu Omu ku balina okugaba endagamuntu zino Peter Angumizamu agambye […]
Bamukubidde bulogo
Abatuuze ku kyalo Ntonyeze mu gombolola ye Bukuya mubende bavudde mu mbeera nebasanyawo amasabo g’omusamize agawerera ddala 50 nga bamulanga kuloga bantu ku kyalo n’okuganza nga baka bassajja. Okusinzira ku ssentebe w’egombolola y’ebukuya Haj Tanula Sulaiman ,omusamize ono abadde amanyiddwa nga Mawejje yeeyambisa eddogo okusengula […]
Abavubuka mu NRM bagaala balimi
Abavubuka mu kibiina kya NRM tebaggwaako byebasaba Kati waliwo ekibinja ekivuddeyo nga kyagaala abalimi nabo bakiikirirwe mu ttabamiruka agenda okubaawo nga 15 omwezi guno. Bano bagamba nti abalimi bakola ekitundu kinene ku bannayuganda nga balina okukikirirwa nga bweguli ku bakyala, abavubuka n’abazirwanako Abavubuka bano bakulembeddwamu […]
Mafaabi afunye omusika
Ekibiina kya FDC kyaddaaki kironze omuntu azze mu bigere by’eyali akulira abavuganya Nandala Mafaabi n’omubaka Jack Ssabbiiti. Omubaka omukyala owe Soroti Angelina Osege kati ye muwanika omuggya ate Anite Among ye mumyuka we SSabawandiisi w’ekibiina kino Alice Alaso agamba nti Osege atandikiddewo emirimu nga y’agenda […]
Abalokole balimua bafere- bakulembeze
Abakulembeze b’abalokole bakkirizza ng’eddiini yaabwe bw’eyingiriddwa ennyo bannakigwanyizi Mu kadde kano kkanisa z’abalokole 4500 z’empandiise okukola emirimu Akulira abalokole, Dr Joseph Sserwadda agamba nti wabaddewo okubuzabuza ku kuwandiisa amakanisa ng’abamu beewandiisa nga bibiina bya bwannakyeewa
Kenya etadde ebyamaguzi bya Uganda
Kenya kyaddaaki epondose n’eyimbula eby’amaguzi bya Uganda byeyali yawambira ku nsalo. Abasuubuzi bonna abalina emmaali yaabwe ku mwaalo gwe Mombasa basabiddwa okugenda okugikima Omwogezi w’abasuubuzi mu kibuga Issa Sekitto agamba nti ekitongole ekiwooza ekya Kenya kikwataganye n’abakola ku mwaalo nebakkiriza bannayuganda okukima ebintu byaabwe Bino […]
Palamenti eragidde ku mwana eyattibwa ku KCCA
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde minisita akola ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga okuvaayo ne alipoota ku kufa kw’omwana eyattibwa ku wofiisi ya KCCA Omwezi oguwedde omwana ow’emyaka 2, Ryan Semaganda yafotoolwa mmotoka ya KCCA nyina bwebalai bamukutte nga bamuvunaana kutembeeyeza ku nguudo za kibuga […]
Ababadde balongoosa basumattuse okufa
Abasajja babiri ababadde balongoosa ku palamenti basumattuse okufa obuguwa obubadde bukutte ebyuuma ebibatambuza bwebukutuse Abakozi bano babadde balongoosa ku mwaliro gw’okutaano. Tekitegerekese lwaki obuguwa buno bukutuse ate ng’anakulira abakozi bano talina ky’anyeze Omu ku balumiziddwa alabiddwaako ng’awandula omusaayi kyokka nga bannamawulire tebakkiriziddwa kumusemberera