Amawulire

Ekibinja ku bicupuli

Ali Mivule

December 9th, 2014

No comments

Poliisi y’ensi yonna etaddewo ekibinja ekigenda okuyamba okulwanyisa eby’amaguzi ebitali ku mutindo Kiddiridde okukwatibwa kw’abantu 14 nga batunda ebyamaguzi ebikyaamu. Amyuka akulira poliisi y’ensi yonna mu Uganda Elly Womanyi agamba nti ebintu bino babiggye mu kitundu kye Gaza Land, Yamaha Center, Kikuubo ne Container village. […]

Eby’omwana eyabula biranze

Ali Mivule

December 9th, 2014

No comments

Akola ng’omuwi w’amagezi eri gavumenti ku bya mateeka agamba nti tasobola kuwa magezi ku nsimbi mmeka ezirina okusasulwa abafumbo ababbibwaako omwana waabwe ku ddwaliro e Mulago. Akiikiridde ssabawolereza wa gavumenti Bichachi Ojambo y’ategeezezza omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe  nti ssabawolereza w’eggwanga ali bweru ate […]

Yesse lwa mukwano

Ali Mivule

December 9th, 2014

No comments

Abakolera ku kizimbe kya Mabirizi baguddemu ensisi, omusajja bw’avudde eri neyettira ku kizimbe kino. Omuvubuka ono ategerekese nga Deus Kabisire  ng’abuuse okuva ku mwaliro gw’okuntikko n’afiirawo. Aduumira poliisi y’amasekkati ga kampala Henry Kintu agamba nti byebakafunawo biraga nti omusajja ono abadde yafunye obutakkaanye ne muganzi […]

Omukozi eyatulugunya omwana akkirizza emisango- gunsinze

Ali Mivule

December 8th, 2014

No comments

  Omukozi  w’awaka eyalabikira mu katambi nga atulugunya omwana wa mukamawe  omusango agukkirizza. Ono abadde alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabenda ku musango gw’okutulugunya omwana. Yaaya ono Jolly Tumuhiirwe asoose kwetondera bazadde b’omwana gweyatulugunya era neyejusa ekikolwa kino era n’akkiriza […]

Ssabawolereza wa Gavumenti atabuse ku nsonga za Zziwa

Ali Mivule

December 6th, 2014

No comments

Amyuka Ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi aliko omukoko gw’ebbaluwa gwawandikidde abakulembeze b’amawanga nga East Africa ng’abasaba bayingire mu nsonga z’okugoba sipiika wa Palamenti ya East Africa Margret Zziwa. Ruhindi avumiridde ekikolwa eky’okugoba Zziwa nebamusikiza Chris Opoka, n’ategeeza nti kyaali kimenya  mateeka kubanga ababaka be East […]

Abatega ensenene bazizza omuliro

Ali Mivule

December 6th, 2014

No comments

Ekibiina ekigatta abatega ensenene basabaze ebyogerwa nti bakozesa eddagala okukwata ensenene. Kinajukirwa nti ku lunaku olwokuna nankulu wa Kampala Jennifer Musisi, yalangira abakwata ensenene okukozesa eddagala eritta ebiwuka okukwata ensenene n’alabula n’abazirya Akulira ekibiina kya Old Masaka Basenene Association Kuraish Katongole agambye nti ebyayogeddwa  Jennifer  […]

Aba NRM basekeredde Muntu

Ali Mivule

December 6th, 2014

No comments

Ekibiina ekiri mu buyinza kikudaalidde omukulembeze w’ekibiina ky FDC Maj Gen Mugisha Muntu. Olunaku lw’eggulo Muntu yategeezezza ng’ekibiina kya NRM bwekigenda okusaanawo oluvanyuma lwa ttabamiruka waakyo agenda okubeerawo nga 15 omwezi guno. Omwogezi wa NRM Ofwono Opondo awadde Muntu amagezi okuteeka essira mu kumalawo obutakaanya […]

Buwama awuumye

Ali Mivule

December 6th, 2014

No comments

Ssabasaja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Muteebi 11 mutaka mu ssaza lye Mawokota mu kibuga Buwama okukuza emikolo gy’abavubuka mu Buganda. Omutanda eyaniriziddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, minisita w’abavubuka Herny Kiberu Ssekabembe, abakulembeze ba’amadiini, abakulembeze ba district ye Mpigi, wamu n’abantu abalala. Entiko […]

Aba FDC bakendezza ebifo by’obuyinza

Ali Mivule

December 5th, 2014

No comments

Ab’ekibiina kya FDC bayisizza enteekateeka y’emyaka ena enagobererwa okuddukanya ekibiina. Bamemba bakkiriziganyizza okukendeeza ku bifo by’abakulembeze okuviira ddala ku byaalo okutuuka ku disitulikiti nga kati n’abamyuka ba ssentebe baggyiddwaawo n’asigala omu. Kati era emirimu gya FDC gyakutandikira ku byaalo sso ssi ku bifo ebirondebwaamu nga […]

UHURU aluyiseeko

Ali Mivule

December 5th, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga lya Kenya  Uhuru Kenyatta asambira mabega nga jjanzi oluvanyuma lwa kkooti y’ensi yonna okumujjako emisango gyonna gy’ebadde emuvunaana.. Ssabawaabi wa kkooti eno , Fatou Bensouda agamba oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi obumatiza nti ddala Kenyatta alina omusango gw’okwewozaako. Kenyatta abadde avunanibwa kuwagira kitta […]