Amawulire
Aba NRM baddembe okugenda mu maaso ne ttabamiruka waabwe
Tewakyaali kiyinza kulemese ttabamiruka wa kibiina kya NRM kugenda mu maaso. kino kiddiridde ababaka ba palamenti 2 abaabadde baagala kkooti emuyimirize okubigyamu enta. Ababaka Brenda Nabukenya ne Joseph Sewungu nga bayita mu mannamateeka waabwe Jude Mbabaali bategezezza kkooti nga bwebabivuddemu kubanga kkooti yayongezaayo okuwulira okwemulugunya […]
Omukozi alumirizza bakama be okumutulugunya
Omukozi eyatulugunya omwana wa mukamawe yewozezzaako nga bweyatulugunyizibwa maama w’omwana ono nga tanaliisa mwanawe kakanja . Nga tannakiriza misango mipya egy’okulumya omuntu n’amutuusako obuvune, Jolly Tumuhirwe awunikirizza kkooti nga omukyaala w’awaka Mbabazi Kamanzi bweyamutuntuzanga nga tanagenda ku mulimu. Tumuhirwe ategezezza nga nga Mbabazi olumu bweyegayirira […]
Ebyuuma ebikuba ebicupuli bya doola bikwatiddwa
Poliisi ekutte abantu babiri ababadde bakuba doola za Amerika ez’ebicupuli Ababiri bano bajjiddwa ku kyaalo Mbalwa e Namugongo. Kuliko omukyala omumerika ne munnayuganda kyokka nga tebaatuddwa mannya. Bano bakwatiddwa mu kikwekwero ekikulembeddwa bambega ba Amerika nga bali wamu ne poliisi ya Uganda ekulembeddwamu Peter Nkulega […]
Teri ajja kulemesa Mbabazi- NRM
Ab’ekibiina kya NRM bawakanyizza ebigambibwa nti balina enteekateeka eziremesa ssabaminista w’ekibiina Amama Mbabazi okwetaba mu ttabamiruka ku bbalaza ya ssabbiiti ejja Akola nga ssabawandiisi w’ekibiina Richard Todwong agamba nti abo bonna abanaayita mu kasengejja okuli ne Mbabazi bakwetaba mu ttabamiruka ate era bakubaganye n’ebirowoozo. Todwong […]
Edduuka lya Buganda
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwalero atongozesa edduuka erigenda okutunda ebintu ebyobuwangwa n’ebirala ebikwata ku bwakabaka bwa Buganda. Edduka lino erisangibwa ku kizimbe kya Muganzirwazza erigenda kutunda ebintu omu certificate, ebitabo byo Obwakabaka, ebifaananyi bwa Kabaka, Nabageraka wamu n’ebitun ebirala. Mayiga asinzidde wano n’asaba […]
Atemye mukazi we
Poliisi ye Kyanamuka mu disitulikiti ye Masaka eriko omusajja ow’emyaka 32 gwekutte lwakulumba eyamusigulira omukyaala n’amutematema. Frank Kawooya 27 y’addusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lwa Fred Kakooza okumulumba n’amutema embale ku mutwe n’emikono nga amulanga kumwagalira mukyalawe Monica Namutebi. Kigambibwa nti Namutebi y’asuulawo […]
Omusuubuzi omugundiivu akwatiddwa lwa ssejusa
Waliwo omusuubuzi omututumufu wano mu Kampala akwatiddwa e Kjjansi lwabigambibwa nti aweereza Gen David Ssejusa ensimbi gyeyaddukira. Poliisi yazinzeeko amaka ga Francis Butto Matovu e Lwezza nebaganibwa okuyingira okutuusa ku ssaawa 3 ez’okumakya lwafulumye. Munnamateeka wa Matovu Michael Mabike amangu ddala y’atuuse mu maka g’omuntu […]
Ebya Mukono Katosi biranze
Kkampuni y’aba Merika eya EUTAW eddukidde mu kkooti ng’eyagala biragiro eri ekitongole ky’enguudo ekya Uganda National Roads Authority okugiddizza kontulakita gyebagijjako. Kkampuni eno yajjibwaako kontulakiti lwakusulaawo mirimu n’efunamu kkampuni y’aba china endala okukola emirimu. Eutaw eyise mu bannamateeka baayo aba Muwema and company Advocates ngeyagala […]
Teri kukola kavuyo- aba NRM balabuddwa
Bannakibiina kya NRM balabuddwa ku kukunga banaabwe okukola akavuyo mu ttabamiruka ategekeddwa e Namboole ku bbalaza Akola nga ssabawandiisi w’ekibiina Richard Twodong agamba nti poliisi n’ebitongole ebirala ebikola ku bukuumi bitegeezeddwa ku bantu b’ekika kino era nga bakukwatibwa. Twodong agamba nti enteekateeka zonna kyenkana ziwedde […]
Abamenyi b’amateeka bakwatiddwa
Poliisi e Luweero ekutte abantu 17 lwakwetaba mu bikolwa bya bumenyi bwa mateeka. Bano bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa ng’ennaku enkulu zijja zisembera. Ekikwekweto kino kikoleddwa mu kibuga kye Ngoma mu disitulikiti ye Nakaseke . Kino kiddiridde obubbi bw’ebisolo, emmere n’obunyazi obwabulijjo. Omwogezi wa poliisi mu […]