Amawulire

abafere ba siriimu babakutte

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

Abasawo basatu ababadde bakyusakyusa ebivudde mu musaayi bakwatiddwa Abakwatiddwa ye Rose Namukose , Ben Nakibuuka, ne Abbey Makumbi. Bano era babadde bakyanga alizaati ezivudde mu kukebera abantu siriimu. Omu ku bali mu lutalo lw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya, Don Byakatonda anyonyola Bano bakwatiddwa poliisi ng’eyambibwaako ekibiina […]

Bbomu mu kirombe esse 36

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

Mu Kenya miranga oluvanyuma lwabamukwata mundu okutta abalombe 36 mu kibuga kye Mandera. Gyebuvuddeko oomuntu omu yatiddwa mu kibuga kyekimu. Obulumbaganyi buno bukoleddwa abalombe nga bawumuddemu mu weema zaabwe nebabakuba amsasi agabajje mu budde. SSabbiiti ewedde , aba Alshabaaba batta abantu abasoba mu 20 mu […]

Owe Bukomansimbi afudde waragi

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

Entiisa ebuutikidde abatuuze mu gombolola ye Kitenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lwa waragi okutta omu ku batuuze. Omugenzi ategerekese nga  John Muyombya 35 omutuuze kukyalo  Kasebwera Omugenzi abadde mupakasi ku kyalo kino nga akolera abantu obulimulimu wabula nga olunaku lwajjo lwonna y’alumaze yekamirira enkagaali […]

Panadol w’abasajja awonye ekkomera

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

Oluvanyuma lw’okumala omwezi mulamba mu kkomera e Luzira olw’oluyimba lwe olulimu obuseegu, omuyimbi Jemimah Kansiime bangi gwebamanyi nga  Panadol w’abasajja awonye kaduukulu. Omulamuzi wa kkooti ye Makindye  Richard Mafabi panado w’abasajja amukirizza yeyimirirwe ku kakadde akatali kaabuliwo nga bbo 2 abamweyimiridde buli omu abadde wa […]

Abe wa kisekka beekalakaasizza

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

Abasuubuzi mu katale ke wakisekka bali mu kwekalakaasa nga balumiriza abakulembeze baabwe okubalyamu olukwe ku ky’okukulakulanya akatale kaabwe. Bano balumiriza ababakulembera okukwatagana n’abagala okubatwalako akatale kaabwe. W’owulirira bino nga bagadde amaduuka gonna nga era n’ebyentambula bisanyaladde ku luguudo lw’e kyaggwe. Yyo poliisi nga ekulembeddwamu John […]

Endagamuntu zifuluma nkya

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Ekisaganda eky’endaga Muntu ezisoose okukubwaawo kyakugabibwa olunaku lw’enkya Pulezidenti Museveni y’agenda okugaba endaga Muntu zino. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga, abagenda okusooka okufuna endagamuntu beebo abeewandiisiza mu kibuga Amyuka omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga Benjamin Katana buli kimu […]

Namwandu wa Mandela atabuse

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Gavumenti y’eggwanga lya South Africa egobye okusaba mu mateeka okukoleddwa muk’omugenzi Nelson Mandela nga ye Winnie Mandela okwezza amaka ga bba ag’omukyaalo Mu mpappula z’atadde mu kkooti , Madikizela Mandela agamba nti enyumba eno omugenzi yali yagissa mu mannya ge. Enyumba eyogerwaako ebalirirwaamu obukadde bwa […]

Museveni alabudde ku mukenenya

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Pulezidenti Museveni asabye abavubuka okussa envumbo ku by’okwegadanga bwebaba bakulwanyisa mukenenya Bino pulezidenti abyogedde ayogerako eri abantu be Kabarole abakungaanye okwetaba ku mikolo gya mukenenya. Pulezidenti agambye nti ssinga abavubuka beekuma nebewala okwegadanga okutuuka nga bafumbiddwa oba okuwasa kijja kuyamba nnyo. Mu kampala emikolo gy’olunaku […]

Munaana balumiziddwa mu kabenje

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Abantu munaana beebalumiziddwa ebyensusso mu kabenje akagudde e Namanve mu disitulikiti ye Mukono. Akabenje kano kalese abakoseddwa bamenyese amagulu n’emikono Taxi namba UAK 811N ebadde eva e Kampala okudda e Lugazi eyambalaganye bukanzu ne Isuzu no UAU 201K ebadde eva e Jjinja okudda e Kampala […]

Omukozi eyatulugunya omwana bulijjo akikola

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

Poliisi ezudde ebipya ku mukozi eyakwatibwa ku katambi ng’atulugunya bebi ow’omwaka ogumu n’ekitundu Kizuulidde nti Jolly Tumuhiirwe tayasooka kutulugunya mwana eyalabikira ku katambi. Ebifulumiziddwa biraga nti omuwala ono era negyeyava yaleka atulugunyizza abaana ba mukama we nga bano yabassa nga mu nkuba n’ebagweerako. Akulira bambega […]