Mu Kenya miranga oluvanyuma lwabamukwata mundu okutta abalombe 36 mu kibuga kye Mandera.
Gyebuvuddeko oomuntu omu yatiddwa mu kibuga kyekimu.
Obulumbaganyi buno bukoleddwa abalombe nga bawumuddemu mu weema zaabwe nebabakuba amsasi agabajje mu budde.
SSabbiiti ewedde , aba Alshabaaba batta abantu abasoba mu 20 mu bulumbaganyi obwakolebwa ku baasi.
Entiisa ebuutikidde abatuuze mu gombolola ye Kitenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi oluvanyuma lwa waragi okutta omu ku batuuze.
Omugenzi ategerekese nga John Muyombya 35 omutuuze kukyalo Kasebwera
Omugenzi abadde mupakasi ku kyalo kino nga akolera abantu obulimulimu wabula nga olunaku lwajjo lwonna y’alumaze yekamirira enkagaali nga era abadde azzeyo n’amakya galeero mu bbala yeyongeremu akagiraasi wabula waragi…
Oluvanyuma lw’okumala omwezi mulamba mu kkomera e Luzira olw’oluyimba lwe olulimu obuseegu, omuyimbi Jemimah Kansiime bangi gwebamanyi nga Panadol w'abasajja awonye kaduukulu.
Omulamuzi wa kkooti ye Makindye Richard Mafabi panado w’abasajja amukirizza yeyimirirwe ku kakadde akatali kaabuliwo nga bbo 2 abamweyimiridde buli omu abadde wa bukadde 2 nazo ezitali zaabuliwo.
Kati Panadol ono alagiddwa okuddamu okweyanjula mu…
Abasuubuzi mu katale ke wakisekka bali mu kwekalakaasa nga balumiriza abakulembeze baabwe okubalyamu olukwe ku ky’okukulakulanya akatale kaabwe.
Bano balumiriza ababakulembera okukwatagana n’abagala okubatwalako akatale kaabwe.
W’owulirira bino nga bagadde amaduuka gonna nga era n’ebyentambula bisanyaladde ku luguudo lw’e kyaggwe.
Yyo poliisi nga ekulembeddwamu John Ruhweza yatuuse dda okwewala effujjo lyonna.
Mungeri yeemu yye omwogezi w’abasuubuzi bano Simon Peter…
Ekisaganda eky’endaga Muntu ezisoose okukubwaawo kyakugabibwa olunaku lw’enkya
Pulezidenti Museveni y’agenda okugaba endaga Muntu zino.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga, abagenda okusooka okufuna endagamuntu beebo abeewandiisiza mu kibuga
Amyuka omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga Benjamin Katana buli kimu kiwedde nga kaadi zakukimibwa ku miruka abantu gyebewandiisiza.
Gavumenti y’eggwanga lya South Africa egobye okusaba mu mateeka okukoleddwa muk’omugenzi Nelson Mandela nga ye Winnie Mandela okwezza amaka ga bba ag’omukyaalo
Mu mpappula z’atadde mu kkooti , Madikizela Mandela agamba nti enyumba eno omugenzi yali yagissa mu mannya ge.
Enyumba eyogerwaako ebalirirwaamu obukadde bwa doola 4 mu emitwalo 30.
Madikizela Mandela namwandu ow’okusatu yali yayawukana ne bba…
Pulezidenti Museveni asabye abavubuka okussa envumbo ku by’okwegadanga bwebaba bakulwanyisa mukenenya
Bino pulezidenti abyogedde ayogerako eri abantu be Kabarole abakungaanye okwetaba ku mikolo gya mukenenya.
Pulezidenti agambye nti ssinga abavubuka beekuma nebewala okwegadanga okutuuka nga bafumbiddwa oba okuwasa kijja kuyamba nnyo.
Mu kampala emikolo gy’olunaku lwa mukenenya gibadde kawempe ku kisaawe.
Wano ebitongole wamu nebibiina by’obwanakyewa webikunganidde okusomesa abantu…
Abantu munaana beebalumiziddwa ebyensusso mu kabenje akagudde e Namanve mu disitulikiti ye Mukono.
Akabenje kano kalese abakoseddwa bamenyese amagulu n’emikono
Taxi namba UAK 811N ebadde eva e Kampala okudda e Lugazi eyambalaganye bukanzu ne Isuzu no UAU 201K ebadde eva e Jjinja okudda e Kampala
Atwala poliisi y’ebidduka e seeta Chemutai Basti agambye nti dereeva wa Isuzu ategerekese…
Poliisi ezudde ebipya ku mukozi eyakwatibwa ku katambi ng’atulugunya bebi ow’omwaka ogumu n’ekitundu
Kizuulidde nti Jolly Tumuhiirwe tayasooka kutulugunya mwana eyalabikira ku katambi.
Ebifulumiziddwa biraga nti omuwala ono era negyeyava yaleka atulugunyizza abaana ba mukama we nga bano yabassa nga mu nkuba n’ebagweerako.
Akulira bambega ba poliisi Grace Akullo agamba nti bagenda kukebera omuwala ono okulaba oba aliko…
Ab’ekibiina kya FDC bagaala ababaka ba Uganda bonna abali mu palamenti ya East Africa bagobwe
Kino kiddiridde okugobwa kwa sipiika Margret Zziwa n’asikizibwa Chris Opoka okumala ennaku 21 zebagenda okumala nga bamubulirizaako
Omwogezi w’ekibiina kya FDC John Kikonyogo agamba nti ababaka bano baakusigala nga battattana ekifananyi ky’eggwanga ssinga tebakolebwaako
Kikonyogo agamba nti eby’abakulembeze b’amawanga okuyingira mu nsonga tekijja…