Amawulire
Bannakyeewa balambise byebagaala
Bannakyeewa ne bannabyabufuzi baliko endagaano gyebatuuseeko ku biki byebagaala bissimbibweeko essira ng’okulonda tekunnaba kutuuka Muno mwemuli okusaba nti akakiiko akalondesa kasattululwe, okukendeeza omuwendo gw’ababaka mu palamenti, okutondawo akakiiko akeetongodde akanakola ku by’okulonda,okuzzaawo ekkomo ku bisanja n’okujja amaggye mu by’obufuzi Mu ngeri yeemu abakulu abasisinkanye bonna […]
Eyawamba abaana wakukola bulungi bwa nsi
Omukyala eyakkirizza omusango gw’okuwamba abaana ba muggya we basatu aweereddwa ekibonerezo kyakukola bulungi bwa nsi. Jamirah Nabatanazi alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ya Mwanga 2 , Morris Ezra Obura n’amusalira ekibonerezo. Omulamuzi agambye nti omukyala ono alaze nti aboneredde, ate nga tazzanga […]
Emmotoka esse omwana
Omwana ow’emyaka 12 ekooneddwa motoka emuttiddewo e Lwengo Omugenzi ategerekese nga Shadiya Nagawa omuyizi mu ky’okuna ku ssomero lya St Ben Primary school erisangibwa e Kiganda Lwengo. Motoka kika kya Saloon no UAW 689H ebadde ewenyuka obuweewo y’ekoonye omwana ono abadde ava okugula ebintu ku […]
Sipiika Zziwa awummuziddwa
Sipiika wa palamenti y’amawanga ga East Africa Margret Zziwa awummuziddwa. Ekiragiro ekiyimiriza Zziwa kiyisiddwa akakiiko akakola ku by’empisa . Kati Munna UPC Chris Opoka agenda kugira ng’akola emirimu gy’obwa sipiika mu nnaku 21 Zziwa z’anamala nga tali mu ntebe. Ekiteeso ekiwummuza Zziwa kiyisiddwa omubaka Abdallah […]
Leeba nfunda
Abasawo abazaalisa mu ddwaliro lya Mukono health centre IV bawanjagidde gavumenti okugaziya leeba kubanga omuwendo gw’abakyala abazaala gweyongedde Leeba eno erimu ebitanda munaana yadde nga bano bazaalisa abakyala 15 buli lunaku Omu ku bakyala abazaalisa Norah Nakimuli agamba nti mu mwezi bakola ku bakyala abasukka […]
Ensonga z’amasanga ziranze
Ab’ekitongole ky’ebyebisolo by’omunsiko mu ggwanga bategezezza nga bwebali abetegefu okukolagana n’akakiiko akatereddwawo okunonyereza mu masanga agaabulankana okuva mu kitongole kino. Akola nga akulira ekitongole kino Raymond Engena ategezezza nga bwebatagenda kulemesa kunonyereza kwonna oluvanyuma lwaminisita w’eby’obulambuzi Maria Mutagamba okulagira abadde akulira ekitongole kino Dr Andrew […]
Obusisiira bukutte omuliro
Mu disitulikiti ye Pallisa abaayo bali mu miranga oluvanyuma lw’omuliro omuliro okusaanyawo obusiisira bw’abatuuze 9. Abatuuze balumiriza nanayini ssomero lya Teso Primaru School okugula amayembe okufuna abaana mu ssomero lye nga era bagalumiriza okubookyera enyumba zaabwe nga era obusiisira obusoba mu 10 bwebwakookyebwa. Micheal Odongo […]
ababadde bakecula abakyala bakwatiddwa
Poliisi mu disitulikiti ye Bukwo eriko abakazi 3 b’ekutte nga bakomola abawala mu bitundu byabwe eby’ekyama ekintu ekikontana n’amateeka g’eggwanga. Aduumira poliisi mu kitundu kino Alfred Baluku akakasizza okukwatibwa kw’abasatu bano oluvanyuma lw’okutyem,ezebwako abalwanyisa obuzzi bw’emisango mu kitundu kino abaatendekebwa okubaguliza ku poliisi ku misango […]
Eyawamba abaana atuyaana
Omukazi avunaanibwa okuwamba abaana b’eyali muganzi we asabye kkooti emuwewulire ku kibonerezo ky’egenda okumusalira. Jamilah Nabatanzi ow’emyaka 21 y’alajanidde omulamuzi wa kkooti ya Mwanga Morris Ezra Obura oluvanyuma lw’okukkiriza omusango guno. Oludda oluwaabi lurumiriza nga Nabatanzi bweyawamba abaana 3 nga 17 November omwaka guno okuva […]
Omusajja asse mukyala we
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nabaiza e Kyengera oluvanyuma lw’omusajja okugwa mukyaalawe mu bulago n’amutuga n’agezaako n’okutta omwana waabwe atemera mu myezi nga 2 naye gw’abadde ayimbyemu akagwa. Kabongo nga mukongo y’atuze mukyala we oluvanyuma lwa landiloodi okubalagira okwamuka ennyumba ye mu kiro ekikeesezza olwaleero […]