Nga wasigaddeyo mbale ttabamiruka wa NRM atuuke, ekibiina kino tekinnasasula bbanja lya bukadde 188 ezibabanjibwa abe Namboole.
Omwezo oguwedde, akakiiko ka palamenti akakola ku bitongole bya gavumenti kalagira NRM okusasula abe Namboole olw’olutuula lwebaalina mu mwaka 2010.
Amyuka omuwanika wa NRM, Singh Katongole agamba nti ekibiina kikyetegereza okulaba ddala oba bakibanja ssente mmeka olwo balyooke basasula
Katongole agamba…
Okuwulira okujulira kw’eyali omubaka wa Municipaali ye Arua Akbar Godi ku kibonerezo ky’okutta Mukaziwe kuwedde nga ensalawo ya Kkooti ensukulumu kwakuweebwa gyebujja.
Munnamateeka wa Godi Suzan Wasabula mu kiwandiiko ky’awadde kkooti ategezezza nga kkooti ejulirwamu bweteetegereza bulunji kujulira kwa Muntu we n’okuddamu okutaganjula obujulizi obwamusibisa emyaka 25.
Munnamateeka ono era yemulugunya nga ekibonerezo kino bwekyawebwa omuntu we…
Olutalo ku baserikale ba poliisi abokunguudo abalya enguzi lunyinyitidde nga kati waliwo 22 abakwatiddwa .
Wabula ekiwendo kino tekitaliza nabajigaba nga era waliwo n’abagoba ba baasi 2 abakwatiddwa nga bagaba ekyojja mumiro era kati batemeza mabega wamitayimbwa.
Akulira poliisi y’ebidduka Steven Kasiima ategezezza nga basajja be bano bwebaakwatiddwa lubona nga basaba ekyoja mumiro nga era baakuvunanibwa.
Kasiima agamba…
Nga Uganda yegasse ku nsi yonna mu kukuza olunaku lwa siriimu , e Kamuli miranga oluvanyuma lw’abantu 2 ab’enjawulo okwetta lwakukitegeera nti balina siriimu.
Omu mukyaala bba gweyasuula mu ddwaliro kwekusalawo okwetta oluvanyuma lw’okwekyawa.
Omulala musajja eyasigula mukyaala wamunne wabula avudde mu mbeera ne yetta oluvanyuma lwa nanyini mukyaala okumuweereza obubaka nga yadde y’asigudde mukyalawe akimanye nti…
Ekibiina ky’amawanga amagatte kisuubizza Uganda obuwumbi 18 ez’okulwanyisa ebirwadde okuli Ebola ne Marburg.
Kino kiddiridde endagaano etuukiddwako wakati wa Uganda n’ebitongole by’ekibiina kino ey’okuyamba eggwanga wakati wa 2016-2020.
Ssabaminisita w’eggwanga Dr Ruhakana Rugunda y’akiikiridde Uganda sso nga Ahunna Eziakonwa-Onochie yeyakiikiridde ekibiina ky’amawanga amagatte.
Dr Rugunda ategezezza nga Uganda bw’egenda okwongera okuteekawo enteekateeko z’okukolagana n’ekibiina kino okutambuza obulunji emirimu…
E Lwengo amaka agasoba mu 17 gali ku ttaka oluvanyuma lwa namutikkwa w’enkuba afudembye mu bitundu bino .
Enkuba eno ebaddemu ne kibuyaga ow’amanyi n’omuzira esaanyizzaawo n’ensuku eziwerako nga kw’ogasse emisiri gya muwogo, ebijanjalo n’ebirime ebirala .
Ekyaalo kya Bugaga Zone mu tawuni kanso ye Kinoni kyekisinze okukosebwa
Bosco Ssebyoza nga y’omu ku bafiiriddwa ebyabwe agamba obusolya obusinga…
omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana omuto empiso gy’amaze okwekuba nga ate alina siriimu ayimbuddwa.
Rosemary Namubiru nga aweza emyaka 64 y’asambira emabega nga ejjanzi oluvanyuma lw’omulamuzi wa kkooti enkulu Rugadia Atwoki okulagira ayimbulye.
Kkooti ya Buganda Road y’aggalira Namubiru emyaka 3 oluvanyuma lw’okumusingisa omusango gw’obulagajavu nga kyaali kisobola okuviirako omwana ono okufuna siriimu.
Wabula Namubiru azze ajulira…
Sipiika wa palamenti ya East Africa Margaret Zziwa agamba nti abamugobye bamala biseera kuba tajja kuva mu ofiisi
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Zziwa agambye nti amateeka agagobererwa okugoba sipiika tegagobereddwa kale nga byonna ebyakoleddwa bimenya mateeka
Zziwa agamba nti tewali ngeri Lukiiko lw’atamanyiiko gyeruyinza kutuula nerumugoba.
Olukiiko olwagobye Zziwa lwatudde Nairobi era ababaka nebasalawo nti agira ng’adda emabbali nga…
Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa nga kusaba nti abatuuze be Kasokoso bassibweeko ekiragiro ekibagaana okutunda ku ttaka lyaabwe okutuusa ng’entalo ku ttaka lino ziweddewo
Okusaba kuno kugobeddwa omuwandiisi wa kkooti enkulu Michael Otto ng’agamba nti abatuuze abali ku ttaka lino balibaddeko okuva mu gye 60 ng’agamba nti ye nyini lyo Yoweri Kabanda taligulanga
Omuwandiisi wa kkooti agambye…
Abasuubuzi mu Uganda bawadde gavumenti ya Kenya ennaku 14 okuta ebyamaguzi byaabwe byonna byebakwatira ku mwaalo e Mombasa
Konteyina ezisoba mu 400 zeezitubidde ku mwaalo yadde nga banyini zo baasasula buli kimu.
Mu lukiiko abasuubuzi lwebatuddemu basazeewo nti bakutandika okukozesa omwaalo gwe Dareesalam kubanga abe Kenya babalemesezza.
Omwogezi w’abasuubuzi Isa Ssekitto agamba nti era basabye gavumenti okulemesa ebyamaguzi…