Omukyala eyakkirizza omusango gw’okuwamba abaana ba muggya we basatu aweereddwa ekibonerezo kyakukola bulungi bwa nsi.
Jamirah Nabatanazi alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka owa kkooti ya Mwanga 2 , Morris Ezra Obura n’amusalira ekibonerezo.
Omulamuzi agambye nti omukyala ono alaze nti aboneredde, ate nga tazzanga ku musango munene okwo kw’ossa n’obutamala budde bwa kkooti.
Omukyala ono alagiddwa okuyonja…
Omwana ow’emyaka 12 ekooneddwa motoka emuttiddewo e Lwengo
Omugenzi ategerekese nga Shadiya Nagawa omuyizi mu ky’okuna ku ssomero lya St Ben Primary school erisangibwa e Kiganda Lwengo.
Motoka kika kya Saloon no UAW 689H ebadde ewenyuka obuweewo y’ekoonye omwana ono abadde ava okugula ebintu ku dduuka
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi, agamba nti batandise omuyiggo…
Sipiika wa palamenti y’amawanga ga East Africa Margret Zziwa awummuziddwa.
Ekiragiro ekiyimiriza Zziwa kiyisiddwa akakiiko akakola ku by’empisa .
Kati Munna UPC Chris Opoka agenda kugira ng’akola emirimu gy’obwa sipiika mu nnaku 21 Zziwa z’anamala nga tali mu ntebe.
Ekiteeso ekiwummuza Zziwa kiyisiddwa omubaka Abdallah mwinyi.
Ekiteeso ekyemulugunya kunkola za Zziwa kati kitegeeza nti kyakuleetebwa nga ssi sipiika
Zziwa aludde…
Abasawo abazaalisa mu ddwaliro lya Mukono health centre IV bawanjagidde gavumenti okugaziya leeba kubanga omuwendo gw’abakyala abazaala gweyongedde
Leeba eno erimu ebitanda munaana yadde nga bano bazaalisa abakyala 15 buli lunaku
Omu ku bakyala abazaalisa Norah Nakimuli agamba nti mu mwezi bakola ku bakyala abasukka mu nkumi ettaano omwezi kale nga bakalubirizibwa
Nakimuli agamba nti gavumenti tekoze kimala…
Ab’ekitongole ky’ebyebisolo by’omunsiko mu ggwanga bategezezza nga bwebali abetegefu okukolagana n’akakiiko akatereddwawo okunonyereza mu masanga agaabulankana okuva mu kitongole kino.
Akola nga akulira ekitongole kino Raymond Engena ategezezza nga bwebatagenda kulemesa kunonyereza kwonna oluvanyuma lwaminisita w’eby’obulambuzi Maria Mutagamba okulagira abadde akulira ekitongole kino Dr Andrew Seguya okugira nga addako ebbali.
Engena ategezezza nga abanonyereza ku misango okuva…
Mu disitulikiti ye Pallisa abaayo bali mu miranga oluvanyuma lw’omuliro omuliro okusaanyawo obusiisira bw’abatuuze 9.
Abatuuze balumiriza nanayini ssomero lya Teso Primaru School okugula amayembe okufuna abaana mu ssomero lye nga era bagalumiriza okubookyera enyumba zaabwe nga era obusiisira obusoba mu 10 bwebwakookyebwa.
Micheal Odongo nga ye mwogezi wa poliisi mu bitundu bino agamba ennyumba zizze zikwata…
Poliisi mu disitulikiti ye Bukwo eriko abakazi 3 b’ekutte nga bakomola abawala mu bitundu byabwe eby’ekyama ekintu ekikontana n’amateeka g’eggwanga.
Aduumira poliisi mu kitundu kino Alfred Baluku akakasizza okukwatibwa kw’abasatu bano oluvanyuma lw’okutyem,ezebwako abalwanyisa obuzzi bw’emisango mu kitundu kino abaatendekebwa okubaguliza ku poliisi ku misango gyonna.
Ono era ategezezza nga bwebakutte n’abawala 2 ababadde bamaze okukekejulwa mu…
Omukazi avunaanibwa okuwamba abaana b’eyali muganzi we asabye kkooti emuwewulire ku kibonerezo ky’egenda okumusalira.
Jamilah Nabatanzi ow’emyaka 21 y’alajanidde omulamuzi wa kkooti ya Mwanga Morris Ezra Obura oluvanyuma lw’okukkiriza omusango guno.
Oludda oluwaabi lurumiriza nga Nabatanzi bweyawamba abaana 3 nga 17 November omwaka guno okuva ku ssomero lya City Parents School n’abakukulira e Ndejje.
Wabula Nabatanzi agamba yakola…
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nabaiza e Kyengera oluvanyuma lw’omusajja okugwa mukyaalawe mu bulago n’amutuga n’agezaako n’okutta omwana waabwe atemera mu myezi nga 2 naye gw’abadde ayimbyemu akagwa.
Kabongo nga mukongo y’atuze mukyala we oluvanyuma lwa landiloodi okubalagira okwamuka ennyumba ye mu kiro ekikeesezza olwaleero lwabutasasula .
Oluvanyuma Kabongo ono naye yeyimbyemu ogwakabugu yetuge wabula omugwa negukutuka…
Poliisi ekubye omukka ogubalala mu bagoba ba taxi ababadde baggye emmotoka zaabwe okuva mu paaka ya USAFI okuzizza ku siteegi ya Kisansa.
Abakoseddwa bebakwata olw’eMuyenga ne Kabalagala abakedde okuggya emmotoka zaabwe mu USAFI nga bekwaasa balabidde ku banaabwe abe Gaba nabo abazzeeyo mu paaka yaabwe
Mu ngeri yeemu, ba dereeva bano bagamba nti tebakola ssente mu USAFI…