Amawulire
Owa NRM ali mu maaso
Ebyakava mu kubala obululu e Amuru biraga nti Munna NRM Jane Francus Amongin y’aleebya banne bwebali mu lwokaano Mu gombola ye Atiak, Amongin afunye obululu 1,500 ate ow’abavuganya nga wa FDC Lucy Akello afunye obululu 1,036 Mu gombolola ye Lamogi, mu muluka gwe Jimo, Amongin […]
Omwana eyafudde, Palamenti etudde, omwana aziikiddwa, Musisi akaabye
Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi akulukusizza amaziga ng’omukyala eyafiiriddwaako omwana, amulombojjera ebintu nga bwebyabadde. Madina Namutebi abadde ne bba basisinkanye Musisi okufuna ebbaluwa omuli obweyamo nti KCCA yakubaliyirira n’okubonereza omuntu eyakoonye omwana waabwe Bakadde b’omwana kati basazeewo nti bagende baziike nga bwebalindiridde ebinaava mu […]
Ettendekero lye Ndejje liggaddwa
Ettendekero lye Ndejje liggaddwa okumala ebbanga eritali ggere. Kiddiridde abayizi okwekalakaasa nga bawakanya eky’okwongeza ebisale. Mu nsimbi ez’ongezeddwa kwekuli ez’okuddamu empappula okuva ku mitwalo 5 okudda ku 10 ate ng’okwewandiisa okukola ebigezo kati bakusasula emitwalo 20 okuva ku mitwalo 10. Abayizi bagamba nti zino nyingi […]
Warid yakusasula Obsessions
Kkooti eragidde kkampuni ya Warid okusasula ab’ekibinja ky’abazinyi n’abayimbi ekya obsessions Bano bakuweebwa obukadde 60 olwa warid okukozesa enyimba zaabwe nga tebafunye lukusa Akulira kkooti ekola ku byobusuubuzi David Wangutusi agambye nti Warid yamenye amateeka ku biyiiye liyite Copyright bweyakozesa enyimba za Obsessions ttaano namba […]
Ababaka bawaddeyo obujulizi ku ggaali y’omukka
Ababaka ba palamenti abakulemberamu okwemulugunya ku ngeri ensonga z’okuzimba oluguudo lw’eggaali y’omukka gy’ekwatiddwaamu olwaleero balabiseeko mu kakiiko akassibwaawo okunonyereza ku nsonga eno. Ababaka bano okubadde Theodore Sekikubo ne Abdu Katuntu baliko ebiwandiiko byebawaddeyo eri akakiiko kano. Ng’awaayo ebiwandiiko bino, omubaka Sekikubo agambye nti kino bakikoze […]
NRM ebadde temanyi nti bagibanja
Poliisi n’era erinye okulinya eggere mu nteekateeka zabannakisinde kya 4GC abakedde okugenda ku kitebe ky’a minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga okukwanga bekikwatako ekiwandiiko nga babanja omuyambi wa Dr. Kiiza Besigye nga ono ye Sam Mugumya. Poliisi ekedde kusalako luguudo lwa sir Apollo wakati mu kulindirira bannakisinde […]
Banyaguludde Ekelezia
Poliisi ye Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi eri ku muyiggo gw’ababbi ba nkuyege tetya ssabo abaalumbye e Kanisa ya Kitasa nebabulawo n’ensimbi ezitanamanyibwa muwendo. Bwana Mukulu w’ekigo ky’ekanisa eno Rev. Fr. Aloysius Kamulegeya ategezezza nga ababbi bano bwebaamenye ofiisi y’omuwandiisi nebabbamu ssente ezawereddwawo abagoberezi. Omwogezi […]
Omukyala agudde mu mwaala n’agwa
Abasuubuzi be Kyengera ku lw’e Masaka baguddemu ekyekango oluvanyuma lwamunaabwe okugwa mu mwala n’afa. Omukyaala ono ategerekeseko erya Nabukeera y’abadde adda ewaka ekiro ne munne ku bodaboda ebkuba n’ebasalako boda n’eremerera omugoba waayo nebagwa mu mwala amazzi negabatwala. Munne yazuuliddwa amangu ddala wabula ye Nbaukeera […]
Aba China babayodde
Waliwo banansi b’eggwanga lya China 45 abakwatiddwa lwakuyingira ggwanga mu bukyamu. Bano bazingiddwako mu bitundu by’e Munyonyo gyebabadde bakolera kampuni ya Bettinga eya Lee and GAO united traders and Investments. Amyuka omwogezi wa minisitule y’ensonga z’omunda w’eggwanga Benjamin Katana agamba bano baakwatiddwa oluvanyuma lw’okutemezebwako poliisi. […]
Cranes ewaze, abawagizi bagobeddwa, olukalala olutandika luluno
Omutendesi wa Uganda Cranes Micho amaze okulangirira tiimu egenda okwambalagana ne Guinea mu mupiira gw’okufa n’okuwona eri Uganda. Uganda yetaaga akabonero kamu okuyitawo oba okuwangula. Mu bagenda okusooka ku kisaawe kwekuli Denis Onyango,Isaac Isinde, Godfrey Walusimbi,Savio Kabugo, Andy Mwesigwa, Baba Kizito,Kizito Luwaga, Tonny Mawejje, Farouk […]