Amawulire
Omwana eyattiddwa, Musisi yetonze
Bazadde b’omwana eyafootoddwa ku KCCA olunaku lwajjo bagaanye okuziika omwana okutuuka nga baliyiriddwa. Bino babituseeko mu kafubo kebabaddemu ne KCCA ku ofiisi zaabwe mu kampala Kati bategereganye nti omulambo guno guddizibwe e Mulago okutuusa nga batuuse ku kukkaanya Olukiiko luno lwetabiddwaamu maama w’omwana Madina Namutebi […]
Abatembeeyi bakusasula eziwera
Abatembeeyi abawerera ddala amakumi abiri gabamyuuse oluvanyuma lw’omulamuzi okukabatema nti bakusasula emitwalo 45 buli omu olw’ekutembeeyeza ebintu ku nguudo mu bukyaamu. Bano nga bakulembeddwamu Barbara Zalwango basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Erias Kakooza ku City Hall . Balina okusasula ensimbi zino oba okusibwa emyezi mukaaga Bano […]
Gwebaayiridde Acid afudde
Omukyala eyayiiriddwa acid ng’ali ne bba afudde Rose Namuddu eyali ne bba n’omwana waabwe owa wiiki babalumbira ku luguudo lwa Northern Bypass nga bava mu kyaalo okutuuma omwana erinnya. Yye bba Kassimu Kakaire iakyaali mu mbeera mbi nga bweguli ne ku mwana Yyo poliisi yakakwata […]
Eyawambye abaana akkirizza omusango
Omukyala ow’emyaka 21 eyakwatiddwa ku byekuusa ku kubba abaana basatu okuva ku ssomero lya City Parents School agguddwaako emisango n’asindikibwa e Luzira Jamilah Nabatanzi agguddwaako emisango esatu nga gyekuusa ku kuwamba abantu bw’abadde mu maaso g’omulamuzi Morris Ezera Oburu. Abaana abawambiddwa kuliko Rebecca Wamboka, Rachael […]
Nkumba yunivasite eggaddwa
Yunivasite ye Nkumba egaddwa ekiseera ekitali kigere oluvanyuma lw’ennaku 3 nga abayizi bekalakaasa olw’ebisale bya fiizi okwonngezebwa. Abakulira ettendekero lino baayongezza ensimbi z’okuddamu okutuula ebigezo okuva ku siringisi 100,ooo okutuuka ku 200,000 sso nga omuntu kati bwasubwa okukola olupapula lwonna asasula 100,000 okuva ku mitwalo […]
Luzinda akoze sitatimenti
Omuyimbi Desire Luzinda kyaddaaki akoze sitatimenti ku poliisi Luzinda atuuse ku poliisi ku ssaawa mukaaga ayiseewo butereevu okutuuka mu ofiisi w’omwogezi wa Poliisi gy’asisinkanye abalina okumusoya ebibuuzo okumala ebbanga Mu sitatimenti Luzinda gy’akoze agusalidde muganzi we omu Nigeria gw’agamba nti yeeyafulumya ebifananyi bino nga naye […]
Ensonga z’omwana afiiridde ku KCCA zirinnye enkandaggo
Minisita wa kampala Frank Tumwebaze avuddemu omwaasi ku nsonga z’omwana ayalinnyiddwa emmotoka ku KCCA. Tumwebaze ategeezezza nga bw’alagidde aduumira poliisi Gen Kale Kaihura okunonyereza ku nsonga eno era aveeyo ne alipoota , enasinzirwako okubonereza abalagajjalidde emirimu. Ono agamba nti okukwasisa amateeka mu kibuga kikulu naye […]
Kiggala alemedde ku poliisi ye Kayunga
Poliisi mu disitulikiti ye Kayunga etubidde n’omukazi kiggala ate nga kasiru. Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu w’abulijjo mu district y’e Kayunga Samuel Masolo anyonyodde nga ono bweyasangiddwa ng’alina omwana omuwere era kiteberezebwa okuba nga yasumagiridde mu Taxi n’emuyisa weyabadde alina okuviiramu. Ye addumira poliisi mu […]
poliisi etabukidde aba 4AC
Wabaddewo akavuvungano nga poliisi eremesa bannakisinde kya 4GC okuyingira munda mu kitebe ky’e ggwanga lya Congo e Kololo nga baagala okukwanga omubaka wa Congo kuno ekiwandiiko ekibanja okutangazibwa ku kukwatibwa kwa munna FDC Sam Mugumya. Bano bakulembeddwamu omukwanaganya w’ekisinde kino Mathias Mpuuga nga era kuliko […]
Buganda Twezimbe efunye ekibanja ku Yintaneti
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero atongozezza ekibanja kya Buganda Twezimbe ku mukutu gwa yintaneti oba gyiyitte Website. Bw’abadde atongoza ekibanja kino owek. Mayiga agambye nti ekigenderererwa kwekwongera okumanyisa abantu ba Ssabasajja naddala ababeera emitala w’amayanja emirimu egikolebwa mu Buganda omuli n’okwekulakulanya. Owek. Mayiga […]