Abatembeeyi abawerera ddala amakumi abiri gabamyuuse oluvanyuma lw’omulamuzi okukabatema nti bakusasula emitwalo 45 buli omu olw’ekutembeeyeza ebintu ku nguudo mu bukyaamu.
Bano nga bakulembeddwamu Barbara Zalwango basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Erias Kakooza ku City Hall .
Balina okusasula ensimbi zino oba okusibwa emyezi mukaaga
Bano baakwatibwa okuva ku nguudo z’enjawulo mu Kampala wakati wa 17th and 19th omwezi …
Omukyala eyayiiriddwa acid ng’ali ne bba afudde
Rose Namuddu eyali ne bba n’omwana waabwe owa wiiki babalumbira ku luguudo lwa Northern Bypass nga bava mu kyaalo okutuuma omwana erinnya.
Yye bba Kassimu Kakaire iakyaali mu mbeera mbi nga bweguli ne ku mwana
Yyo poliisi yakakwata omuntu omu ku byekuusa ku bulumbaganyi buno
Omukyala ow’emyaka 21 eyakwatiddwa ku byekuusa ku kubba abaana basatu okuva ku ssomero lya City Parents School agguddwaako emisango n’asindikibwa e Luzira
Jamilah Nabatanzi agguddwaako emisango esatu nga gyekuusa ku kuwamba abantu bw’abadde mu maaso g’omulamuzi Morris Ezera Oburu.
Abaana abawambiddwa kuliko Rebecca Wamboka, Rachael Muduwa ne Marion Matenza.
Omulamuzi asindise omukyala ono e Luzira okutuuka nga 26…
Yunivasite ye Nkumba egaddwa ekiseera ekitali kigere oluvanyuma lw’ennaku 3 nga abayizi bekalakaasa olw’ebisale bya fiizi okwonngezebwa.
Abakulira ettendekero lino baayongezza ensimbi z’okuddamu okutuula ebigezo okuva ku siringisi 100,ooo okutuuka ku 200,000 sso nga omuntu kati bwasubwa okukola olupapula lwonna asasula 100,000 okuva ku mitwalo 2.
Ssentebe w’olukiiko olutwala ettendekero lino Dr David Byatike Matovu ategezezza nga…
Omuyimbi Desire Luzinda kyaddaaki akoze sitatimenti ku poliisi
Luzinda atuuse ku poliisi ku ssaawa mukaaga ayiseewo butereevu okutuuka mu ofiisi w’omwogezi wa Poliisi gy’asisinkanye abalina okumusoya ebibuuzo okumala ebbanga
Mu sitatimenti Luzinda gy’akoze agusalidde muganzi we omu Nigeria gw’agamba nti yeeyafulumya ebifananyi bino nga naye teyakyagaala
Poliisi ebadde enoonya Desire okukola sitatimenti nga batuukako ne mu situdiyo za…
Minisita wa kampala Frank Tumwebaze avuddemu omwaasi ku nsonga z’omwana ayalinnyiddwa emmotoka ku KCCA.
Tumwebaze ategeezezza nga bw’alagidde aduumira poliisi Gen Kale Kaihura okunonyereza ku nsonga eno era aveeyo ne alipoota , enasinzirwako okubonereza abalagajjalidde emirimu.
Ono agamba nti okukwasisa amateeka mu kibuga kikulu naye nga kirina okukolebwa mu ngeri ey’obuvunanyizibwa.
Agenze mu maaso n’ategeeza nti waliwo omuwaatwa…
Poliisi mu disitulikiti ye Kayunga etubidde n’omukazi kiggala ate nga kasiru.
Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu w’abulijjo mu district y’e Kayunga Samuel Masolo anyonyodde nga ono bweyasangiddwa ng’alina omwana omuwere era kiteberezebwa okuba nga yasumagiridde mu Taxi n’emuyisa weyabadde alina okuviiramu.
Ye addumira poliisi mu district y’e Kayunga Johnson Kiconco asabye abasajja obutavumbikiriza mukazi ono kumutikka mbuto ndala.
Wabaddewo akavuvungano nga poliisi eremesa bannakisinde kya 4GC okuyingira munda mu kitebe ky’e ggwanga lya Congo e Kololo nga baagala okukwanga omubaka wa Congo kuno ekiwandiiko ekibanja okutangazibwa ku kukwatibwa kwa munna FDC Sam Mugumya.
Bano bakulembeddwamu omukwanaganya w’ekisinde kino Mathias Mpuuga nga era kuliko n’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye, omuloodi wa Kampala…
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga olwaleero atongozezza ekibanja kya Buganda Twezimbe ku mukutu gwa yintaneti oba gyiyitte Website.
Bw’abadde atongoza ekibanja kino owek. Mayiga agambye nti ekigenderererwa kwekwongera okumanyisa abantu ba Ssabasajja naddala ababeera emitala w’amayanja emirimu egikolebwa mu Buganda omuli n’okwekulakulanya.
Owek. Mayiga era ayongedde okugumya obuganda ng’omulimu gw’okuzimba amasiro ge Kasubi wamu n’ekizimbe kya…
Abantu 200 beebakalaasirizza mu kibuga kya Nairobi ekikulu, Nairobi oluvanyuma lw’abasajja okubuukira omukazi nebamwambula nga bamulanga kwambala nkunamyo.
Abeekalakaasa bano babadde bakutte ebipande ebivumirira ekikolwa kino era nga batadde ekimuli mu kifo awabadde ekikola kino
Wabula bano babadde beekalakaasa nga n’ekibinja ky’abasajja 20 beekalakaasa nga bagamba nti abakyala bayige okwambala