Amawulire
UNRA ejeemedde Kaliisoliiso ku luguudo lwe Katosi
Ekitongole ekikola ku byenguudo mu ggwanga kiziimudde ebyalagiddwa Kaliisoliiso okuyimiriza kkampuni y’aba China okukola oluguudo lwe Ktaosi Mukono Kaliisoliiso Irene Mulyagonja yalagidde nti kkampuni eno eya CICO eyimirizibwe era ereme kuddamu kuweeebwa mulimu gw akuzimba nguudo Wabula omwogezi w’ekitongole kya UNRA, Dan Alinange agamba nti […]
Eby’amakomera biranze- babegaanye
Ensonga z’abakuumi mu makomera abatasaasulwa zikyalanda Olwaleero ab’amakomera bakomyeewo mu palamenti okunyonyola lwaki tebasasula bantu baabwe yadde nga tebagobwangako. Akulira amakomera Johnson Byabashaija bino abiwakanyizza ng’agamba nti ssi kituufu era abantu bano tebabanja Aboogerwaako baali bakuumi e Kasese nga bali mu 250 nga bategeezezza palamenti […]
Afumbye omwana we
Poliisi ye Moroto etandise okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo maama eyatokosezza omwanawe muntamu n’amutta ku kyalo Nakapelimen . Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Moroto John Omwony agamba baasindise dda basajja baabwe okuyigga kalittima ono akyaliira ku nsiko. Poliisi yatuuse ewabadde enjego eno […]
Abadda mu za Wama mu bukyaamu baluguddemu
Abayimbi abaddamu ennyimba z’omugenzi Elly Wamala nga tebafunye lukusa bakukubwa mu mbuga z’amateeka. Lydia Wamala ngono yomu ku bawala bomugenzi agamba nti ennyimba za Wamala zirimu obubaka era zisomesa abantu nga n’okuziddamu okuziyimba awatali kuweebwa lukuusa kiwebuula ekitiibwa ky’enyimba zino. Bo abayimbi 15 abakkirizibwa okuddamu […]
ssibuli omu nti alina amazzi amayonjo
Bannayuganda abaweza ebitundu 36 ku kikumi beebatasobola kufuna mazzi mayonjo Kamisona akola ku kubunya amazzi amayonjo mu byaalo mu minisitule y’amazzi Joseph Eyatu agamba nti disitulikiti ezisinze okukosebwa kwekuli Kiruhura, Bugiri, Lyantonde, Ssembabule ne Karamoja. Eyatu agambye nti abantu mu bitundu bino batambula engendo empanvu […]
Aba makomera babanja
Abaaliko abakuumi mu makomera okuva e Kasese beekubidde enduulu nga bagaala kusasulwa olw’okugobwa mu bukyaamu. Ba ofiisa bano abawerera ddala 40 olwaaleero bategeezezza ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku by’okwerinda nti baagobwa wakati w’omwaka 2007 ne 2008 naye nga tebafunye kiwandiiko kyonna. Bano nga bakulembeddwaamu […]
Ebya Pioneer bikyaali bizibu
Ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue Authority kigamba nti kyandiddamu okwetegereza endagaano gyekyakola ne kkampuni ya baasi eya Pioneer. Omwaka oguwedde, ekitongole kino kyadda omukono ku ndagaano ne pioneer egikkiriza okukola nga bw’esonda mpola ebbanja ely’obuwumbi 8. Akulira ekitongole kino Doris Akol agamba nti kkampuni eno […]
Gavumenti yakusasula ababulwako omwana
Kyaddaaki gavumenti ekkirizza okuliyirira abafumbo ababbibwaako omwana waabwe omulungo mu ddwaliro e Mulago mu mwaka gwa 2012 Omuwaabi wa gavumenti Ojambo Chikpi y’ategeezezza bino bw’abadde mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe Ojambo agambye nti baliko webatuuse n’abafumbo bano Michael Mubangizi ne Jennifer Musimenta […]
Okuggala ebizimbe- Musango gwa KCCA
Amadduuka ku kizimbe kya Forest Mall e Lugogo gakyaali maggale oluvanyuma lw’ekitongole kya KCCA okuggala ekizimbe kyonna. Ku mulyango gwaakyo kussiddwaako ekipande kya KCCA era nga n’abasuubuzi tebateganye kulinnya kigere. Abakungu ba KCCA abakola ku by’obuzimbi olwaleero besozze akafubo n’abaddukanya ekizimbe kino okulaba ng’ebikibulako biterezeebwa […]
E Kasese waliwo agambibwa okubeera ne Marburg
Nga kyakalangirirwa nga ekirwadde kya Marburg bwekiwedde mu ggwanga wabaddewo akasattiro mu tawuni ye Kasese oluvanyuma lw’omusajja abadde n’obubonero obwefananayirizaako ekirwadde kino . Olunaku olwogulo minisitule y’ebyobulamu y’alangiridde nga Uganda bwetakyalimu Ebola. Wabula e Kisagazi Alazio Bitaka yeralikirizza ababadde okumpi oluvanyuma lw’okusesema omusaayi nga n’obubi […]