Amawulire
Ebisigalira bya faaza bizuuliddwa
Abakungu mu kunonyereza mu ggwanga lya Mexico bagudde ku bisigala bya father muna uganda mu ntaana omwazikibwa abantu abasoba mu 43 omwezi oguwedde. Father John Ssenyondo ng’enaku z’omwezi 30mu mwezi gwokuna omwaka guno okuva mu ssaza lye Guerrero, abantu abatategerekeba bwebayimiriza emotooka mweyali atambulira, olwo […]
Omukulembeze wa Algeria muyi
Omukulembeze w’eggwanga lya Algeria Abdelaziz Bouteflika addusiddwa mu ggwanga lya Bufalansa ng’embeera ye yeralikiriza. Bouteflika atemerera mu gyobukulu 77 addusiddwa mu ddwaliro mu kibuga Grenoble oluvanyuma lwokusanyalala. Wabula abakulu mu government ya Algeria abagaanyi okunonyola ebisingawo kumbeera Bouteflika gyalimu. Bouteflika yatandika okufuga eggwanga lya Algeria […]
Aba 4GC bagenda Congo ku bya Mugumya
Eby’okukwatibwa kwa Sam Mugumya nga ono ye Muyambi w’eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr.Kiiza Besigye bikyalanda. Bannakisinde kya 4GC balangiridde nga bwebagenda okwolekera eggwanga lya Congo mu kibuga Kinsasha ku lwokuna lwa sabbiiti ejja okulaba wa gy’akuumibwa oluvanyuma lw’okukwatibwa. Okusinziira ku maggye […]
Khalifa Aganaga ayigibwa poliisi
Poliisi ye Luweero Enoonya omuyimbi Sadat Mukiibi amanyidwa nga Kalifa Aganaga, nga ono avunanibwa kulya nsimbi zabategesi ba bivulu, kyokka n’atayimba. Poliisi egamba Kalifa yalina okuyimba mu baala emu ku lunaku olwa Monday, era nga yaweebwa n’emitwalo 40, wabula teyalabikako ekyawalirizza abaali bazze okulaba […]
Atuze abaana be
Poliisi e Nakasongola ekutte omusajja akkakkanye ku baana be babiri n’abatta Omusajja ono abaana abasibye miguwa mu bulago n’abatta Ronald Batte kigambibwa okuba nga yagenze ewa mukyala we eyanoba Teopista Ndikibuliirako ani, n’amusaba abaana bamulabeko, wabula olw’okwekengera yasazeewo okutegeezaako poliisi. Ayogerera poliisi mu kitundu kino […]
Panadol w’abasajja bimutabukidde
Omuyimbi Jemimah Kansiime eyakazibwaako Panadol wa Basajja ebintu byongedde okumwononekera, oluvanyuma lw’omulamuzi okumuzzaayo ku alimanda e luzira Kinajjukirwa nti Kansiime omwezi oguwedde yavunaanibwa n’omukwasi w’enyimba Didi Mugisha eyatanzibwa emitwalo 20 nga kanaluzaala yava ku luyimba lweyatuuma Nkulinze , olugambibwa okubaamu ebikolwa ebyekiseegu ebitagambika. Ono olwaleero […]
Ababaka ba Buganda bandibonerezebwa
Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga alagidde ababaka okuva mu kabondo ka Buganda okunyonyola lwaaki babuuzeewo bonna mu lutuula lwa palamenti oba ssi kkyo bakubonerezebwa Kiddiridde nampala w’abavuganya Cecilia Ogwal okwemulugunya ku kubula kw’ababaka bano Ogwal agambye nti yawuliddeko nti ababaka bano abawerera ddala 99 […]
Abapoliisi bakugobwa lwa nguzi
Aba poliisi bonna abakola ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu bakukyusibwa mu kawefube w’okujjamu abalya enguzi. Ekigendererwa kutereeza poliisi ekola ku by’entambula y’ebidduka oluvanyuma lw’okwemulugunya nti bano tebalidde nguzi woowe Kamisona atwala entambula y’ebidduka mu ggwanga Steven Kasiima agamba nti bakakyuusa ba ofiisi […]
Musisi alemedde ku baTaxi- mujja kulonda
Ekitongole kya Kampala Capital City Authority kifulumizza amateeka aganagobererwa ba dereeva ba Taxi mu kulonda abakulembeze Bino bigenda mu maaso yadde ng’aba Taxi baalonda abakulembeze baabwe gyebuvuddeko Akulira abakozi mu kibuga Jenifer Musisi agamba nti okulonda kuno kwakwetabwaamu ba dereeva bokka abawandiisibwa okuva mu paaka […]
Bannamaggye bawandiisiddwa okufuna endagamuntu
Bannamaggye abakaakkalabiza egyaabwe mu ggwanga lya Somalia olwaleero bawandisiddwa okufuna endagamuntu Bano abasoba mu 200 bawandiisiddwa mu disitulikiti ye Nakaseke Abajaasi bano baali tebawandiisibwa olw’ensonga nti baali ku mirimu era nga bakozesezza kaadi zaabwe ez’amaggye mu kubawandiisa Aduumira amaggye Gen Katumba Wamala agambye nti ayagala […]