Amawulire
Omubbi w’emmwaanyi attiddwa
E Kalungu Abatuuze bakkakanye ku mubbi w’emmwanyi nebamukuba mizibu egimugye mu budde. Allen Matovu nga mutuuze we Gayaza- Kawoko akwatiddwa lubona nga akungula byatasiga mu musiri gwa Kulazikulabe nebamuligita emigoba nte egimuggye mu budde. Okutwalira amateeka mu ngao kuno kubadde ku kyalo Kitabyama oluvanyuma lwa […]
Ettoffaali liri Mawokota
Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga olunaku olwaleero akutte olunaku olw’okubiri nga atalaaga esazza ly’e mawokota, mukaweefube w’okukungaanya etofaali ,kko n’okusakirira obuganda . Akawungeezi akayise Katikiro yatalaaze e Gombolola ye Muduum, Mpigi town council kko ne gombolola y’e kiringa ente kko Kamengo, era nga webwazibidde […]
Abe Kyambogo bakyagaanye okusasula abasomesa
N’okutuusa kati abakulira ettendekero lye Kyambogo tebanasasula nsako y’abasomesa nga ebula ennaku 2 zokka nsalasale eyatekebwawo abasomesa okuteeka wansi ebikola okutuuka. Abasomesa bano abasoba mu r 700 baawa abakulira ettendekero lino okutuusa nga 14 November nga basasudde ensako yaabwe ey’emwezi 2 egiyise oba sikyo bekalakaase. […]
Amasomero 15,000 mu kampala gakola mu mukyaamu
Kizuuliddwa nga amassomero gomukampala ebitundu 39% mu Kampala bwegatali mu bitabo bya minisitule y’ebyenjigiriza nga era tegamanyi. Kampuni ya Agile Learning Company yakoze okunonyereza mu disitulikiti ye Wakiso ne Kampala nekizulibwa nga amasomero 1500 bwegatamanyiddwa. Okunonyereza kuno kwagendereddwamu kumalawo massomero n’abasomesa abempewo. […]
Forest Mall eggaddwa
Ekitongole kya Kampala capital city authority kiggadde ekizimbe kya Forest Mall Ekizimbe kino yadde kimaze emyaka egisoba mu ebiri tekirina permit kukola Ekizimbe ekyogerwaako kisangibwa Lugogo okumpi ne Game Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bannanyini bizimbe bonna balina okubeera n’ekiwandiiko ekibakkiriza okukola emirimu […]
Okusabira eyali akulembera Zambia
Eggwanga lya Zambia olwaleero lisabidde eyali omukulembeze waalyo Michael Sata Ono yafa omwezi oguwedde ng’aweza emyaka 77 Nasiisi w’omuntu yeeyetabye mu kusaba mu kisaawe ky’abazira mu kibuga Lusaka Sata eyamanyika ennyo olw’okuwandula ebigambo era nga baali bamukazaako erya King Combra yafuuka pulezidenti mu mwaka gwa […]
Abatembeeya ensenene baggaliddwa
Nga sizoni y’ensenene kyeggye etandike, abazitembeeya bandisanga obuzibu okukikolera ,mu kibuga Abawerera ddala kkumi ababadde bazitambuliza mu kibuga olwaleero bagguddwaako rmisango ku kkooti ya Cityhall mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende Emisango nabo tebabadde babi nebagikkiriza Omulamuzi kati abalagidde buli omu okusasula engassi ya mitwalo 200,000 […]
Temwawula mu disitulikiti
Gavumenti esabiddwa okusooka okwetegereza ensonga y’okutondawo disitullikiti empya okulaba oba ddala zeetagisa Ssabbiiti ewedde, ababaka abatuula ku kakiiko akakola ku gavumenti z’ebitundu bawagidde eky’okukutulamu disitulikiti ye Wakiso, Kibaale, Kabale, Arua ne Kasese. Kati akulira ekibiina ekigatta gavumenti z’ebitundu Fred Gume agamba nti disitulikiti empya zoolese […]
Ani atta abantu mu kibuga
Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga benyamidde olw’ettemu erisusse mu kibuga Kino kiddiridde okuttibwa kw’omusuubuzi Charles Lwanga abadde akakkalabiza egigye ku kizimbe kya mabirizi Ababaka okubadde Kassiano Wadri, Alice Alaso, Ababiku Jessica ne Bayiga Lulume ettemu lino balitadde ku mundu eziyitiridde obungi mu banu Bagaala gavumenti […]
Ab’omu kikuubo baakuwa emisolo
Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa abasuubuzi mu kikuubo nga bawakanya okuwa emisolo Omulamuzi Lydia Mugambe abasabye okulinda ekinasalibwaawo kkooti mu musango omukulu. Bano baali baasaba kkooti nti esooke ewere eby’okusasula emisolo eri ekibiina ekibakulira ekya Kikuubo business community limited okutuuka ng’okwemulugunya kwaabwe kuwuliddwa Omulamuzi agambye […]