Uganda eweddemu ekirwadde kyaMarburg.
Minisita omubeezi akola ku byobulamu Sarah Opendi y'alangiridde bwati mu lukiiko lwa bannamawulire olukubiddwa ku kitebe kya gavumenti ekya Mawulire ekya Media center.
Opendi agambye nti obulwadde buno busobodde okubutaayiza era nga buwereddewo ddala
Obulwadde buno kyalangirirwa nti bulumbye eggwanga nga 4 omwezi gwa October oluvanyuma lw'omulwadde okufa mu ddwaliro e Mengo
Mu kaseera obulwadde buno…
Poliisi ye Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi eriko omukazi ow’emyaka 40 gwekutte lwakuwa bantu 30 obutwa.
Dativa Nabatanzi omutuuze we Kagoggo y’awatiddwa lwakulunga bulukuumi mu mmere n’agiwa abalokole b’ekanisa ya Mukama Bwebutukirivu Bwaffe.
Wiiki ewedde abagoberezi 30 baddusibwa mu ddwaliro ly’e Masaka nga bali bubi oluvanyuma lw’okulya emmere erimu obutwa nga era poliisi ebadde ku muyiggo gw’omukyala…
Omuntu omu akubiddwa amasanyalaze agamuttiddewo e Namugongo
Omugenzi ategerekeseeko lya Kasozi omuzimbi.
Amasanyalaze gano kigambibwa okuba nga gayungibwa omukyala ategerekese nga Caroline Natukunda nga gali ku kikomera okuliraana ekinaabiro Kasozi mw’abadde anaabira
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti Natukunda akwatiddwa okunyonyola lwaki yassa amasanyalaze ku kikomera era nga tagajjaako
Ono agambye nti Natukunda wakuggulwaako misango…
Nasiisi w’omuntu akungaanidde ku Masiro ke Kasubi okwetaba mu mikolo gy’okutereka Omulangira David Wasajja Ssimbwa
Omulangira ono yasereera ssabbiiti ewedde
Akedde kusabirwa ku lutikko e Namirembe gy’ayogeddwaamu ngomusajja enjasa biggu
Omulangira wasajja y’abadde taata wa Kabaka Mutebi asigaddewo mu lubu lwa ssekabaka Chwa.
Abayizi 47 beebafudde omutujju bweyebalusirizzaako bbomu mu kibuga kya Nigeria Potiskum
Bbomu eno ebalukidde ku ssomero ly’abalenzi erya sayansi era ng’omutujju agiteze abadde ayambadde ng’omuyizi
Ab’akabinja ka Bokoharam kiteberezebwa okuba nti beebakoze obulumbaganyi buno yadde nga tebannakikakasa
Kampala capital city authority alabuddwa ku kuwera emizigo mu kibuga nga terina mulaani ngundiivu
Omubaka we Ndorwa mu buvanjuba Wilfred Niwagaba agamba nti KCCA yendipapiriza okukola kino nga terina na w’eteeka bantu
Niwagaba agamba nti n’amateeka genyini tegawera mizigo
KCCA yalangiridde enteekateeka ewera muzigo gumu, ebiri ng’eyagala abazimba mu kibuga batandikire ku kalina
Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza ku musuubuzi ayakubiddwa amasasi agaamusse
Charles Lwanga ng’emirimu abadde agikkakkalabiza ku kizimbe kya Mabirizi baamusse adda waka
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti omugenzi yabadde atambula n’omukyala agambibwa okuba muganzi we kyokka nga yabuze amangu ddala ng’amutuusizza mu ddwaliro
Onyango agamba nti kati bayigga mukyala ono okwongera okubanyumiza ebyabaddewo.
Ebadde ntiisa e Mijwala Sembabule, omukulembeze w’essomero bw’agudde mu kidiba ky’amazzi n’afiiriwo.
Vincent Ssenganda nga y’abadde akulira essomero lya Garden of Hope Secondary schoolabadde agenze kuwuga mu kidiba
Maama w’omugenzi, Florence Mukambi nti yabadde agenze n’abayizi okukuba amataffaali kyokka n’asikirizibwa, kwekuwugamu.
Omu ku batuuze Ahmed Dembe agambye nti tebalina poliisi yaku mazzi mu kitundu kino ng’omwami ono yandibadde…
Abayizi bataano aba siniya y’omukaaga tebakoze bigezo ebitandise olwaleero
Abayizi bano bonna nga bava mu ssomero lya Mbale secondary school tebalabiseeko nga kigambibwa okuba nti balwadde.
Abasatu tebakoze kigezo kya Biology ate ababiri tebakoze kigezo kya Economics.
Akulembeddemu okukuuma ebigezo, Bernard Nakisa agambye nti ategeezeddwa nti abayizi balwadde
Ate ku ssomero lye Nkoma ss, ebigezo bitambudde bulungi era ng’abayizi…
Mu ggwanga lya Buyindi amaloboozi agasaba nti abakyala bongerwe okuyambibwa nga bali mu nsonga zaabwe geyongedde
Mu ggwanga lya Buyindi, abakyala baboolebwa nga bali mu nsonga era nga tebakkirizibwa kufumba yadde okugenda mu masinzizo
Ababbaboola bagamba nti mu nnaku zino omukyala abeera mujama, mulwadde era ng’abaako n’ebisiraani.
Beebamu bano bagamba nti omukyala ali mu nsonga tebalina kunaaba era…