Amawulire
Amataba gabulabe ku bulamu
Ng’amataba gakyatigomya abantu be Ntoroko, embeera yaabwe ey’ebyobulamu nayo yeralikiriza. Mu magombolola 4 agali mu disitulikiti eno mulimu eddwaliro limu erya health centre 4 kyokka nga liri ku lusozi nga era bantu abasinga batindigga engendo empanvu okutuukayo. Ekyeralikiriza kwekuba nga n’eddwaliro ly’enyini lyayingiddemu amazzi kale […]
BBomu endala mu Nigeria
Abantu 10 beebafiiridde mu bbomu ebalukidde ku kyuuma ekiwanda ensimbi kiyite ATM mu ggwanga lya Nigeria Abafudde bonna babadde mu lukalala nga bagenda kujjayo nsimbi. Abadde ne bbomu eno kigambibwa okuba ng’abadde agikwatidde mu baasa era n’atuuse ku bantu n’agibalula
monitor eddizza poliisi
Abakozi ba Kampuni ya monitor Publications olwaleero bongedde amaanyi mu kawefube w’okutumbula eby’obulamu mu ggwanga. Abakozi nga bakulembeddwamu akulira kampuni ya Monitor Alex Asiimwe wamu ne ssabapoliisi Gen Kle Kayihura benyigidde mu kuyonja ebitundu bye Nsambya naddala mu barracks ya Poliisi e Nsambya. Bano era […]
owapoliisi omutaviimu akwatiddwa
Poliisi ye Bukomansimbi eriko omuserikale waayo gwekutte lwakutamirukuka nga ali ku mulimu. Silver Baligonja nga y’atwala poliisi ye Butenga y’akwatiddwa ku biragiro by’akulira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi. Kaweesi okusalawo bwati kyaddiridde okulambula ebitundu bye Bukomansimbi n’azuula nga abasinga ku basajjabe […]
Maama ayokezza muwalawe mu mbugo lwakusirika nga bamusobezzako
Poliisi ye Lwengo eriko maama ow’emyaka 25 gwekutte lwakwokya muwalawe ow’emyaka 7 mu mbugo n’ekisiki ky’omuliro nga amulanga kusirika nga bamusobezzaako. Cathy Nakitto alumiriza muwalawe okusirika obusirisi nga akalenzi k’emyaka 9 kamusobezzako era olw’obusungu n’amuteeka ogw’omukyoto mu mbugo. Anonyereza ku misango […]
Desire yetonze olw’ebifananyi by’obuseegu
Omuyimbi Desire Luzinda aludde ddaaki neyetonda olw’ebifananyi bye eby’obuseegu ebyafuluma Mu bbaluwa gy’atadde ku mikutu gwa YIntaneti ogwa Facebook, Luzinda agambye nti ebifaananyi bino byasasanyizibwa omwagala we gw’aludde ebbanga ng’amwesiga , wabula n’amwefuulira. Ono akakasizza nti kyamazima ebifanannyi bino yabyekubisa mu kyama nga omuntu yenna […]
Ab’obubizzi basuze Luzira
Abavubuka mukaaga abegattira mu kibiina kyabwe ekyabatalina mirimu ekya Jobless Youth basindikiddwa ku alimnda e Luzira. Omulamuzi wa kkooti ya city hall Elias Kakooza asazizzamu okweyimirirwa kwabwe lwabutalabikako olutuula olwaggwa nga tebawadde nsonga yonna. Bano kuliko Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja nga kati baakudda mu […]
Omulangira David Ssimbwa aseeredde
Mu mawulire ag’ennaku omulangira David Ssimbwa aseeredde. Omulangira afiiridde mu ddwaliro e Nakasero gy’amaze ebbanga nga ali bubi. Omwogezi w’obwakabaka bwa Buganda Denis Walusimbi akakasizza okuseerera kw’omulangira era n’ategeeza nga olukiiko olw’enjawulo bwerugenda okuyitibwa okutegeka amaziika. Omulangira abadde atawanyizibwa obulwadde bwa pulesa n’ekirwadde ky’omutima . […]
Aba Somali akwatiddwa
Poliisi ye Tororo eriko banansi b’eggwanga lya Somalia 3 bekutte nga basalinkiriza okuyingira eggwanga mu bukyamu. Fatun Abdi Abdullah, Ali Abdi Mohammed, and Mohammed Abubakar Yusuf, beebakwatiddwa nga bayita ku mugga Malaba okwesogga Uganda. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo […]
Abayizi be Makerere bazzeemu okwekalaakasa
Okwekalakaasa ku ttendekero e Makerere ssikwakuggwa kati. Abayizi b’essomero ly’ebyenfuna ab’omwaka 3 beekalakaasa nga babanja ebyava mu bigezo byabwe byebagamba nti biruddeyo. Abayizi bano bagamba nti kati gino myezi 2 nga tebaweebwanga alizaati zaabwe. Wabula akola ku nsonga z’abayizi okuva ku ssomero lino Umar Kakumba […]