Amawulire

Besigye ayogedde ku by’obuyambi we- mutiisatiisa

Ali Mivule

November 6th, 2014

No comments

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye kyaddaaki avuddemu omwasi ku muyambi we Sam Mugumya eyakwatibwa e Congo ku bigambibwa nti yetaba mu bikolwa by’ekiyekera. Besigye ategezezza nga bino bwebiri eby’obufuzi nga kigendereddwamu kutiisatiisa bavuganya gavumenti nga okulonda kwa 2016 tekunatuuka. Besigye agamba gavumenti […]

Ogwa Namubiru gujulidde

Ali Mivule

November 6th, 2014

No comments

Kkooti enkulu eyongezaayo okuwa ensala yaayo ku kujulira kw’omusawo eyasingisibwa  omusango gw’okukuba omwana empiso gyeyali yefumise nga ate alina siriimu. Ensalawo eno eyongezeddwayo  okutuusa nga 28 omwezi guno. Rose Mary Namubiru awakanya ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 3. Ono abadde alabiseeko mu kkooti eno mu maaso g’omulamuzi […]

Kikungwe ne Kaddu Mukasa bandigenda

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Ababaka babiri okuli Sozi Kaddu Mukasa ne Issa Kikungwe boolese okugobwa mu palamenti lwabutalabikako Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga amaze okuwaayo amannya g’ababaka bano eria kakiiko akakwasisa empisa okunyonyola lwaki tebakola mirimu gyaabwe. Kaddu akiikirira bantu be Mityana mu bukiikaddyo ate Kikungwe we Kyaddondo […]

Lwakataka azzeeyo mu kkomera

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Kkooti enkulu e Masaka egaanye okuyimbula kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka Omulamuzi Margret Ouma Oguli agambye nti takakasa nti Lwakataka anaddamu okulabikako mu kkooti ssinga ayimbulwa Omulamuzi era agambye nti omukulu ono asobola n’okuyingirira okunonyereza kwaabwe n’atta omusango. Bannamateeka ba Lwakataka babadde basabye […]

Pulezidenti Museveni aleke amaka gamu

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Akakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo kagaala pulezidenti ave mu maka ge agamu gaweebwe omumyuka we Amagezi gano gaweereddwa abakungu okuva mu minisitule ekola ku nsonga z’abakozi abalabiseeko mu palamenti okunyonyola ku alipoota wa ssababazi w’ebitabo bya gavumenti Ababaka ku kakiiko kano akakulirwa Alice […]

Gavumenti tekoze kimala ku Bundibuggyo

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Abalwanirizi b’eddembe ly’omuntu bagamba nti gavumenti tekoze kimala kutangira ntalo za mawanga mu bitundu bye Rwenzori Entalo zino eziri wakati wa abakonzo n’aba bamba zaaleka abantu abasoba mu kyenda nga balusuddem akaba Mu kiwandiiko ekissiddwaako omukono gw’omunonyereza mu kibiina kya Human rights watch, Maria Burnet […]

Muyambe abakyala mu bulimi

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Gavumenti esabiddwa okukola ennyo okukyuusa ku mbeera z’abakyala Ab’ekibiina ekigatta abakyala abasuubuzi, bagamba nti abakyala bangi bakyasanga obuzibu bungi mu kwewola ensimbi okwetandikirawo emirimu ekibalemesezza okwekulakulanya Akulira olukiiko olufuga ekibiina kino Hope Jemimah Kasimbazi agambye nti gavumenti yandibadde esalawo nti ensimbi eziweza ebitundu 50 ku […]

Burkina Faso- ab’omukago babiyingiddemu

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Abakulembeze okuva mu Ghana, Nigeria ne Senegal bakyaddeko mu ggwanga lya Burkina Faso okwongera okusindikiriza amaggye okukwasa abantu obuyinza Ab’omukago gw’amawanga ga Africa bagamba nti amaggye gamenye mateeka okuwamba obuyinza okuva ku bantu abasindikiriza Blaise Compaore eyalia maamidde obuyinza. Abantu beekyaawa nebagoba omukulembeze waabwe nga […]

Abalina endwadde ezitawona bagala buyambi

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Omuwendo gw’abalwadde abalina endwadde ezitawona nga beetaaga obujjanjabi obwenjawulo bweyongedde Okusinziira ku kibiina ekibudabuuda abalina endwadde ezitawona ekya Hospice Africa Uganda , abalwadde abali mu 250 beebetaaga okuyamba Omukulu mu kibiina kino Dr. Eddie Mwebesa agamba nti ku bano, ebitundu kkumi bokka beebayambiddwa Mwebesa agamba […]

Eddagala lya Ebola

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Okugezesa eddagala eriyinza okujanjaba Ebola ku kutandise mu ggwanga lya Switzerland mu kibuga  Lausanne. Eddagala lino lyakoleddwa abakampuni enkozi ye ddagala eya Glaxosmithline nga era abantu 120 bewaddeyo mu kugezesa eddagala lino. Ebola yakatta abantu abasoba mu 5000 n’okusingira ddala mu bugwanjuba bwa Africa.