Poliisi ye Lwebitakuli mu disitulikiti ye Ssembabule eri ku muyigo gwabatemu abase atwala poliisi ye Nakondo nebadduka n’emmundu ye.
Sgt Godfrey Japyem y’atiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero bweyabadde adda ewuwe nga ava okugula ebintu mu katawuni.
Japyem y’akubiddwa amasasi mu mugongo ne mukifuba n’oluvanyuma nebadduka n’emmundu ye.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Noah Sserunjoji ategezezza nga omuyiggo…
Ababaka ba palamenti batabukidde gavumenti olw’okwesulirayo ogwanagamba ku bidiinidiini ebyeyongera okumerukawo mu ggwanga buli lukya.
Kino kiddiridde banji ku bakulembeze b’ebidiinidiini bino okugaana bakulembeze babyo okubalibwa.
.Ababaka okuli Reverand Bakaluba Mukasa bagamba gavumenti mpaawo kyekoze kulwanyisa nzikiriza zino eziwabya abantu nga ate zeyongera kusimba makanda mu ggwanga.
Agamba singa mpaawo kikolebwa ebyaliwo e Kanungu Kibwetere nga ayokya abantu…
Gavumenti eyisizza ekiragiro ekiyimiriza emikutu gy’amawulire okuwandiika ku butambi bw’obuseegu obw’omuyimbi Desire Luzinda
Bino bisaliddwaawo mu Lukiiko wakati w’abakulu mu poliisi ne minisita akola ku byempisa n’obuntu bulamu Father Simon Lokodo
Poliisi era eragiddwa okukwata Luzinda okunyonyola wwa gyeyekubisiza ekifananyi kino na lwaki yakikola
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti kino kikoleddwa okulaba nti ebifananyi by'obuseegu bitangirwa…
Abazungu babiri nga bannansi b’eggwanga lya Australia bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku luguudo oluva e mubende okudda e mityana
Akabenje kano kagudde ku kyaalo Kisekende mu kafo akamanyiddwa nga Minzaani kilomita nga 3 ng’ova mu kibuga Mubende.
Abazungu bano abatannaba kutegerekeka mannya babadde batambulira ku pikipiki ey’ekika kya B M W nga bava kampala okudda e…
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyaalo Misali e Masaka mu Nyendo , oluvanyuma lw’okugwa ku mulamba gw’omusajja agambibwa okuttibwa abantu abamuyiikidde.
Omugenzi ategerekeseeko lya Kasule nga mutuuze ku kyaalo Kako e Masaka.
Akulira ekyaalo kino Francis Nsubuga agambye nti abantu beebamuyise nga bamaze okugwa ku mulambo guno
Bano baleese embwa enkonzi y’olusu egoberedde okuva awali omulambo era ng’emalidde ku…
Abayizi b’ekibiina ky’omusanvu bafundikidde ebigezo byaabwe olunaku lwaleero .
E Kasese, abayizi abawala abaali bafumbirwa edda nga n’abamu bali mbuto bavudde gyebabadde nebagenda okukola ebigezo
Akulira abalondoola amasomero e Kasese Ernest Thabugha agamba nti abawala abali embuto 10 ne bannakawere bataano beebatudde ebigezo mu ssaza kye Busongora.
Ebitundu ebisinze okukosebwa kwekuli ekye Maliba, Bwesumbu ne Buhuhira .
Thabugha alambudde…
Ssabassajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri asiimye okuggalawo empaka z’ebika ez’omwaka guno.
Empaka zino za nga 16th omwezi guno e Mityana.
Omuwandiisi w’akakiiko akateesiteesi k’empaka zino Joseph Kabunga ategezezza ng’omupiira ogwakamalirizo wakati we Mmamba Gabunga ne Mbogo bwegugenda okuzanyibwa mu kisaawe ky’essazza lya Ssingo ekya Mityana Saza ground.
Omuntu omu y'afiridde mu kabenje akagudde ku nkulungo ye Bwaise.
Abalala babiri babuuse n'ebisago
Akabenje kano keetabiddwaamu motoka kika kya Saloon namba UAS 062 T egezezzaako okuyisa kiroole ky'amataffaali.
Ekimotoka kino kikoonye emmotoka ya Salon n'eva ku kkubo olwo n'ekuba akagulumu nga tennayingirira batambuze babiri n'ettako omu mbagirawo.
Omugenzi ategerekese nga Nakato Najjemba ate ng'akoseddwa tategerekese mannya
Mu ngeri yeemu,…
Abayizi ku ttendekero ekkulu e Makerere bazzemu okwekalakaasa.
Kuluno ekibagye mu mbeera kwekumala ebbanga lya wiiki 2 nga tebasoma.
Abayizi abakozeseddwa beebakola amasomo ga kompyuta agawerera ddala mukaaga
Bagamba nti abasomesa basalawo obutasomesa okutuuka nga basasuddwa ekintu ekikosezzaamu bbo.
Yye atwala poliisi ye Mkarere Jackson Mucunguzi agamba nti ogwaabwe gwakulaba nti abayizi teboonoona bintu nga basazeewo obutakozesa maanyi kubanga…
Ab’ebyobulamu abali eyo mu 80 bebayunguddwa okujanjaba abantu ba beene nga twetegekera olunaku lw’ebyobulamu olutegekeddwa nga 29 November.
Kino kibukuddwa ssentebe w’akakiiko akateesiteesi ak’olunaku luno Dr Musisi olugenda okubeera mu ssaza lya ssabasajja erye Buddu mu lukungaana olukubiriziddwa omwogezi w’essaza lino Dick Lukyamuzi Ssenyondo.
Dr Musisi agamba enteekateeka eno yakukulungula wiiki namba nga abantu ba beene bajanjabibwa…