Amawulire
PLE atandise- awamu bakereeye
Nga ebigezo by’ekibiina eky’omusanvu ebyakamalirizo bikyagenda maaso,waliwo omusomesa akwatiddwa poliisi y’e Nateete ku bigambibwa nti yabbidde abayizi ebibuuzo. Ono nga musomesa ku ssomero erimu e Nateete kigambibwa nti ekiro y’asangiddwa nga asomesa abayizi n’empapula ezigambibwa okubeerako ebibuuzo byenyini ebituuliddwa amakya galeero. Nga ayogerako nebannamawulire amakya […]
Uganda nyweevu- Gavumenti ku Burkina Faso
Uganda ekakase mu demokulasiya nga gavumenti tesobola kuvuunikibwa nga bwebyabadde mu Burkina Faso. Omukulembeze w’eggwanga lya Burkina Faso yavuunikiddwa mu lunaku lumu oluvanyuma lw’okwagala okweyongeza ekisanja yadde ng’abantu be abafuze okumala emyaka 27. Omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku nsonga z’ebyobufuzi Moses Byaruhanga agamba nti abantu […]
Omukulembeze wa Burkina Faso avuunikiddwa
Omukulembeze w’eggwanga lya Burkina Faso Blaise Compaore avuunikiddwa. Ono avuunikiddwa abantu abatandise okwekalakaasa olunaku lwajjo nga bawakanya ekya pulezidenti waabwe okubafuga emyaka 27 ate n’ayagala okweyongeza ekisanja. Omwogezi w’amaggye g’eggwanga y’alangiridde eri abeekalakaasi nti pulezidenti takyaali mu ntebe Omukulu ono nno yasoose kutegeeza nga bw’atajja […]
Abatuuze balemedde ku ttaka
Abantu abatudde ku ttaka okuyita oluguudo lwa Entebbe Express abatanasasulwa basibye omulimu gwonna Eno y’ensonga lwaki kati amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Sekandi agenda kusisinkanamu mukama we ku nsonga eno Ssekandi agamba nti emirimu gyesibye mu bitundu ebimu olw’abantu abakyagaanye okusenguka ekigenda okukosa nsalessale eyassibwaawo […]
Omwana akaabizza abantu
Omwana ow’emyaka omwenda akaabizza abantu bweyegayiridde poliisi obutayimbulwa nyina omuto eyaggalirwa olw’okumutulugunya. Maama w’omwana ono Lucy Atiang okuggalirwa yasooka kwokya mwana ono ng’amulanga kubba nva za kyenyanja zebaali bafumbye. Omwana ono agamba nti kitaawe yafa emyaka esatu emabega kyokka g’okuva olwo nyina amutulugunya era nga […]
Omuyizi akwatiddwa
Poliisi e Kalungu ekutte omuyizi w’emyaka 14 lwakuteekera kisulo omuliro Pauline Asio owa siniya y’okubiri nga muyizi ku ssomero lya St Charles Lwanga Kasasa secondary school kigambiwa okuba nti yeeyakolezezza ekisulo ky’abayizi abawala ku lw’okubiri Ekisulo ekyakutte mwemubadde musula abayizi ba S1, S2, S3 ne […]
Monitor eddukiridde abatalina bitabo
Kampuni ya Monitor publications olunaku olwalero ngeri wamu ne kampuni ya Shreeji stationers industries eddukiridde esomero lya Busiiro primary school erisangibwa mu district ye Luuka, mu kawefube okuletawo enkyukakyuka mu bana Uganda. Essomero lino liwereddwa ebintu ebyeyambisibwa mu kusoma nadala ebitabo. Akulira kampuni ya monitor […]
Bbomu zizzeemu e Nigeria
Bbomu ebalukidde ku paaka ya baaso mu kibuga Gombe ekya Nigeria esse abantu bana n’okulumya abalala 32. Ab’obuyinza mu ddwaliro lye Gombe erikola ku balumiziddwa gamba nti omuwendo guno gweyongera buli lukya ate nga bbo ababaddewo bagamba nti emmotoka 13 zeezisanyeewo mu muliro. Poliisi egamba […]
E Kaberamaido Basaddaase omuntu
Entiisa ebutikidde abatuuze mu gombolola ye Ochero mu disitulikiti ye Kaberamaido oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gw’omusajja ow’emyaka 33 nga gusaliddwako ebitundu byagwo eby’ekyaama. Omugenzi ategerekese nga Simon Peter Olobo omutuuze ku kyalo Amotot nga era kiteberezebwa nti yasaddakiddwa. Okusinziira ku batuuze, omugenzi yabula […]
Ab’e Kabula balindirira Ssabasajja
Enteekateeka z’okukuza olunaku lwa bulungi bwansi ziri mu ggiya nnene mu ssaza lya ssbasajja e Kabula. Omwami wa ssabasajja mu ssaza lino Francis Mugumya Ntambazi kati kawefube w’okukunga abantu amututte nju ku nju buli Muntu agweyo ku lunaku olwo. Lumama Ntambazi ategezeza nga […]