Amawulire
Aba Taxi bazze ku ssaawa ya kwiini
Abagoba ba Taxi bakedde kudda ku paaka ya clock tower yadde nga KCCA yabafumuula Aba Taxi bano bazze benaanise obujoozi bwa kyenvu obwa NRM nga bagamba nti pulezidenti y’asinga obuyinza era yabakkirizza okudda YYe omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti tebannabakkiriza kukola
Poliisi etabuse ku mwana eyatulugunyizibwa
Poliisi enyonyoddeko ku by’okukyuusa emisango egivunaanibwa omukozi eyalabikidde mu katambi ng’atulugunya omwana wa mukamawe ow’omwaka ogumu. Jolly Tumuhirwe y’asindikiddwa mu kkomera e Luzira ku misango gy’okutulugunya wansi w’etteeka ly’okutulugunya wabula nga kati poliisi ezzeemu okwetegereza okulaba nga aggulwako emisango emirala. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga […]
11 bafudde ekiziyiro
Abantu 11 beebafudde ekiziyiro mu kanyigo akabadde mu kusaba okutegekeddwa mu kisaawe mu ggwanga lya Zimbabwe Abantu bana beebafiiriddewo ate omusanvu nebafiira mu ddwaliro Abafudde beebamu ku babadde bafuluma ekisaawe oluvanyuma lw’omusumba w’erinnya Walter Magaya okumaliriza okuliisa abantu ekigambo. BBo nno abeerabiddeko n’agaabwe bafusalidde poliisi […]
Dereeva eyasse omwana asindikiddwa e Luzira
Dereeva eyasse omwana ku KCCA asimbiddwa mu kooti n’aggulwaako emisango gy’okuvugisa ekimama Baguma Anuali alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya Buganda Road Araali Muhirwa Kigambibwa nti Baguma ku lunaku olw’okubiri nga tasoose kwetegereza kiki ekyaali emabega we yafotoola omwana eyali mu mipiira gy’emotoka awasimbwa […]
Obukubagano mu maka bungi muzukuuke
Abalwanirira edembe ly’abakyala bagala government eyongere amaanyi mu kulwanyisa okutulugunya abakyala nga bwelwanyisa endwadde zinamuzisa ezirumba eggwanga. Okusaba kuno kujidde mu kiseera nga uganda yetegekera okujukira ennaku 16 ezokulwanyisa obutabanguko mu maka. Akulira emirimu mu kitongole kya Center for Domestic Violence Prevention Deus Kiwanuka agambye […]
Owa FDC awangudde mu Amuru- abavuganya balabudde
Ababaka ba parliament bawadde endowooza ezenjawulo ku kalulu k’omubaka omukyala akikirira district ye Amuru akawanguddwa ab’oludda oluvuganya government. Munna FDC Lucy Akello yawangudde n’obululu 7,420 ate muna NRM Frances Okilli Amongin nafuna obululu 6,701 Omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi agambye nti kano kabonero akenkukunala akala […]
Kaliisoliiso atabukidde ssabawolereza
Mu mbeera etali yabulijjo, kalisoliso wa government omukyala Irene Mulyagonja okutte mu mbuga z’amateeka Ssabawolereza wa government Peter Nyombi anyonyole ku mivuyo egyetobese mu kuzimba oluguudo lwa Mukono- Katosi. Bwabadde ayogera eri banamawulire Irene Mulyagonja agambye nti Peter Nyombi yalaga dda kyekubiira bweyasaba Kampuni yaba […]
Omupakasi asobezza ku muwala wa mukamawe
Poliisi ku kyalo Kyabi mu disitulikiti ye Ssembabule ekutte omupakasi asobezza ku muwala wa mukamawe. Omupakasi ono wa myaka 30 era asobezza ku wa myaka 10. Kigambibwa nti ssedduvuutu ono y’alabiriza bazadde b’omwana nga tebaliiwo n’amweganzikako. Bazadde b’omwana ono okulabuka basoose kulaba mwanawaabwe nga alumizibwa […]
Museveni akudalidde Abamuvuganya e Serere
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye banna NRM abaagala okwesimbawo mu bitundu bye Serere obuttakiriza bavuganya gavumenti kubawangula. Museveni etegezezza abatuuze nga ab’oludda oluvuganya gavumenti omuli n’omubaka waabwe omukyala Alice Alaso bwebakunganya obukunganya ensimbi nga mu palamenti mpaawo kyebayinza kubayamba. Museveni ategezezza nga ab’eserere bwebalimbibwa […]
Amataba gasse 2 wano mu Kampala
Enkuba ekedde okutonnya amakya galeero erese abantu 2 bafu. Bano bagudde mu myala egibooze oluvanyuma lw’enkuba okutonya nga engobe mu ggulu. Abafudde kuliko ategerekese nga Nakato omutuuze we Nabweru ssaako n’omulala ow’emyaka 15 naye ategerekeseko erya Faizal nga ono yye mutuuze wa Kyebando Central […]