Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye abavubuka okusitukiramu balwanyise ebbula ly’emirimu nga baboola abo bonna abalemesa amakolero okutandikibwa wano mu ggwanga.
Museveni agamba abasimbira ekkuuli amakolero gano bebabalemesezza okufuna emirimu kale nga basaana okubeera abegendereza n’abantu ab’engeri eno.
Bino pulezidenti y’abyogedde ateeka omukono ku ndagaano ne kampuni y’abakyayina eya Guangzhou Dongsong Energy nga bano bagenda okuyamba okuyikuula eky’obugagga…
Abatuuze ku kyalo Golo mu disitulikiti y’e Mpigi baguddemu ekyekango bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga yetuze.
N’okutuusa kati ebikwaka ku musajja ono tebinamanyika, kubanga abatuuze bagamba nti tebamumanyi mu kitundu kino.
Addumira poliisi mu Maserengeta g’eggwanga Joseph Ayiki ategezezza ng’omusajja ono bw’atalina kimwogerako era nga poliisi ekyanonyereza ekimuvirddeko okwettuga.
Omulambo gw’omusajja ono gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago.
Omubaka okuva mu ggwanga lya Uganda era nga muna kibiina kya NRM Daniel Kidega alondeddwa ku bwa Sipiika wa palamenti ya East Africa.
Ono asikidde Margret Nantongo Zziwa eyagobeddwa akawungeezi k’eggulo,oluvanyuma lw’ababaka 36 okuwagira ekiteeso eky’okumugyamu obwesige.
Kidega awangudde ekifo kino ngatavuganyiziddwa oluvanyuma lw’ababaka 3 okuva mu uganda okuli Mike Sebalu,Chris Opoka ne Suzan Nakawuki,ababadde bagezaako okumuvuganya…
Olukiiko lw’eggwanga lukulu lukiriza gavumenti okwewola ensimbi obukadde bwa doola 175 okuva mu banka y’ensi yonna okwongera okutumbula ebyentabula mu kibuga Kampala.
Ekiteeso eky’okwewola ensmbi zino kyasoose kulema kuyita, oluvanyuma lw’omuwendo gw’ababaka okuba omutono, ekyawaliriza amyuka sipiika Jacob Oulanya, okuwumuza okukubaganya ebiroowa emirundi 2.
Ssabaminisa w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda ategezezza palamenti nga gavumenti bwetandise okuteseganya n’abakulembeze abali ku ludda oluvuganya gavumenti ku nsonga za loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago.
Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago amaze ebbanga lya mwaka mulamba nga tali mu offiisi, oluvanyuma lwa bakansala ba KCCA okumujamu obwesige.
Lukwago azze awaaba emisango egyenjawulo, era ng’ogusebweyo guli mu kkooti…
Kkooti enkulu e Masaka eriko taata kagwensonyi ow’emyaka 54 gw’esibye amayisa lwakuzaala mu muwalawe.
Omulamuzi Margret Oumo Oguli y’asingisizza Geoffrey Rwishasha omusango guno olw’okwefuula namunswa n’aleeta amawano.
Rwishasha nga taata w’abaana 6 yakakana ku muwalawe ow’emyaka 14 n’amusobyako ate n’amutikka n’olubuto nga omusango guno yaguzza mu 2011 era abadde ku alimanda okuva olwo.
Rwishasha omusango guno y’agukkirizza wabula…
Agava mu kootii , galaga nga abasuubuzi bomu Katale ka Kisekka bali mu kujaganya oluvanyuma lwa kkooti okuyimiriza ekitongole kya KCCA okubasengula nga okuva mukatale kano akagenda okuddabirzibwa, okutuusa nga 14 January kkooti bwenaaba emaze okuwulira omusango abasuubuzi gwebaawaba nga bawakanya eky'okubasengula.
Ekiragiro kino kiweereddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Festo Nsenga .
Abasuubuzi abamu baali baddukira…
Nga ebula olunaku lumu lwoka nsalesale w’okuweerayo ebirowoozo bye’nongosereza mu ssemateeka atuuke, yye Sipiika wa palamenti rebecca Kadaga anyonyodde ekireesewo okukandalirira,
Akiiko akakola ku byamateeka aka Law reform commission kaatekawo olunaku lw’enkya nga nsalesale w’okufunirako ebirowoozo byonna ebinaatekebwa mu ssemateeka omuggya ,
Nga ayogerako eri banamawulire , Omukyala kadaga agambye ebulwa ly'okufaayo kko n'okulondoola kyekiremeseza ebirowoozo…
Ssabawolereza wa gavumenti atabukidde abakulira ekibiina ky’abannamateeka mu ggwanga lwakwagwala kumulemesa mulimu gwe oluvanyuma lw’okumusaba alekulira nga bagamba emirimu gimulemye wabula kkooti n’egoba okusaba kwabwe.
Bannakibiina bano baawalawala Nyombi okutuusa mu mbuga z’amateeka nga balumiriza nga bwasusse okuwabya gavumenti nga agiwabula ekifuulanenge ku nsonga z’amateeka nga era baamuvumirira ku ky’okuwabula omukulembeze w’eggwanga okuddamu okulonda Benjamin…
Waliwo omusajja omulala akwatiddwa e Lwengo lwakusobya ku mwana omujja na nyina nga waakayita lumu lwokka nga waliwo omusajja eyakoze kyekimu.
Akwatiddwa mutuuze wokukyalo Lubanda nga ono aliko akawala ak’emyaka 4 kaamaliddeko ejjakirizi nga maama w’omwana ono yeyamulonkomye ku poliisi n’akwatibwa.
Okusinziira ku maama w’omwana ono, ssedduvuutu ono y’akozesezza akakakisa nga ali mu nnimiro nakkakana ku kawala…