Amawulire
Omulalu asse Namukadde
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kiguma mu Gombolola ye Apuyo mu district ye Kyegegwa omulalu ategerekese nga Patrick Magezi atemera mu gy’obukulu 20 gwebabadde basabira bwavudde mu mbeera n’atematema Namukadde Consolota Nakibuuka omutwe, okutuusa lwamusse. Magezi kati atwaliddwa mu ddwaliro lye Kyegegwa okwongera okwekebejjebwa.
Maama asudde omwana mu kabuyonjo.
Police e mubende eriko omuwala amanyidwa nga Twinomugisha Aidah gw’ekutte , nga ono avunanibwa kuzaala mwana namusuula mu kaabuyonjo. Akulira ba mbega ba police e mubende Twisimye Allan agambye nti abantu abalabye omuwala ono nga ayingira kaabuyonjo n’omwana gweyakazaala bebatemezza ku police.
Omuzigiti gugaddwa.
Poliisi amakya ga leero ezinzeko omuzikiti gwa masjid Noor ogusangibwa ku luguudo lwa William Street ,oluvanyuma lw’ekibinja ky’abasiramu okugulumba amakya ga leero. Kigambibwa nti waliwo ekibinja ky’abasiramu ekikedde okuvva e kibuli nekyegalira mumuzigiti guno ,ekiwaliriza ababadde bagenze okusaala, okwagala okulwaana, era polisi nebiyibgiramu. […]
Omubbi w’emwanyi alula
Poliisi mu disitulikiti ye Lwengo eriko omusajja ow’emyaka 28 gwewonyezza okugajambulwa abatuuze oluvanyuma lw’okukwatibwa lubona nga abba emmwanyi okuva mu musiri gw’omu ku batuuze. Kuraish Ssegawa y’awonye amagombe bwakwatiddwa nga anoga emmwanyi okuva mu musiri gwa Anthony Luwaga. Abatuuze olumuguddeko ekiyiifuyifu n’alajana nga bwabadde […]
Akabenje katuze 1 e Nakasongola
E Kyampisi Omuntu 1 afiiridde mu kabenje 7 nebabuuka n’ebisago ebyamaanyi oluvanyuma lwa baasi eya kampuni ya HMK coaches ebadde eva e Kampala nga edda Gulu okutomera kabangali mu diditulikiti ye Nakasongola. Poliisi esobodde okuddusa abalumiziddwa mu ddwaliro e Nakasongola ne Mulago. Omwogezi wa poliisi […]
Abasibe bagabuddwa Kulisimansi
Abasibe mu kkomera e Luzira kulisimansi y’omwaka guno baakugirya nga balina akaseko ku matama. Ente n’embuzi ezisoba mu 200 byebisaliddwa olunaku olwaleero nga era enyama eno yakugabibwa mu makomera gonna okwetolola eggwanga. Omwogezi w’ekitongole ky’ebyamakomera Frank Baine ategezezza nga enyama eno bwegenda okugabanyizibwa mu basibe […]
Musisi aweze ebivvulu bya kulisimansi ebyamatumbi budde
Nga abasinga ku bannayuganda ensimbi baasibye ku luwuzi okukyakala olinaku olw’enkya ku kulisimansi, abatwala ekibuga aba KCCA balabudde abategesi b’ebivvulu obutageza kuyisa mu ssaawa ez’ekiro ezaabagerekeddwa. Amateeka agaliwo teri kivvulu kirina kusukka ssaawa 6 ez’ekiro Akulira ekibuga Jeniffer Musisi agamba okujjako amasinzizo agakkiriziddwa okusaba okusussa […]
Kayisanyo mu Kampala -abagula ebya ssekukulu betala
Nga ebula ssaawa okutuuka ku kulisimansi, embeera ya kayisanyo mu kibuga wakati. Amakubo agoolekera paaka empya n’enkadde gonna gakwatiridde namunji w’omuntu wakati mu kusitula emigugu n’okukwata abaana abato ku mikono nga boolekera emmotoka ezibatwala mu byalo. Mu Katale ka Owino abantu abawerako balabiddwako nga bagula […]
Abasomesa baweze okwekalakaasa
Abasomesa bawadde minisitule y’ebyenjigiriza okutuusa nga 30 January nga ebawadde obuwumbi bwabwe 25 eza Sacco oba ssi kyo bateeke wansi ebikola. Mu 2012 Pulezidenti Museveni y’awa Sacco y’abasomesa bano obuwumbi 25 nga baali baakuzisasula mu myaka 5 wabula nga kati wakyaliwo okusika omugwa ku ani […]
Abavuganya gavumenti begaanye Ssejusa
Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye okwetaba mu nteekateeka za munnamagye Gen Ssejusa okutuusa nga abanyonyodde engeri gavumenti gyeyamukkirizzamu okudda mu ggwanga nga ate y’ali yamwewerela okumukwata. Ssejusa y’abadde ayise abavuganya gavumenti bamwegatteko nga adda mu maka ge e Naguru sembabule gy’abadde. Nga bakulembeddwamu ssenkagale w’ekibiina kya […]