Amawulire
Lumumba Kasule akakasiddwa okusikira Mbabazi
Olukiiko lwokuntikko olw’ekibiina kya NRM lukakasizza abakulembeze baalwo 4 abaalondebwa gyebuvuddeko. Ku mukutu gw’ekibiina kino ogwa twitter,Kasule Lumumba akakasiddwa ku bwa ssabawandiisi, Richard Todwong nga omumyukawe, Rose Namayanja nga omuwanika sso nga waakumyukibwa Dr. Kenneth Omona . Abana bano baalondebwa omukulembeze w’eggwanga nga ye ssentebe […]
Ebya NRM bijulidde
Okukakasa olukiiko olufuzi olw’ekibiina kya NRM olujja kwongezeddwawo okutuusa ssaawa 7 ez’emisana. Abana bano baalondebwa mu December w’omwaka oguwedde nga kuliko Kasule Lumumba nga ssabawandiisi, Richard Todwong omumyukawe, Rose Namayanja nga omuwanika sso nga yye Dr. Kenneth Omona ye mumyukawe. Bano baalondebwa oluvanyuma lwa ssemateeka […]
Abayisiraamu mwewale entalo
Abayisiraamu baweereddwa amagezi okwewala entalo ezitalina makulu begatte bazuule abatta abakulembeze baabwe. Kino kuddiridde enkaayana wakati w’ekiwayi ky’e kibuli n’abomuzikiti gwa William street okuyunga ettemu lino ku nkaayana z’ebintu by’obusiraamu. Okusinziira ku ssentebe w’ekibiina ekigatta abavubuka abayisiraamu Prof Abas Kiyimba, enjawukana zino zaakuwa abatemu ekyaanya […]
Ebye Mukono-Katosi bigenze mu kkooti
Akakiiko akassibwaawo okunonyereza ku mivuyo mu kuzimba oluguudo lwa Mukono Katosi kakonkomadde nga kalinda minister omubeezi akola ku byenguudo kyokka n’atalabikako Stephen Chebrot yategeeza ababaka ku kakiiko kano nti yakakasizza ababaka nga bw’ajja okubalaba olwaleero kyokka mu ssaawa envanyuma n’atalabikako. Akulira akakiiko kano Eng Sekitoleko […]
Munnayuganda asirikkidde mu muliro
Waliwo munnayuganda asirikkidde mu muliro ogukutte akatale mu ggwanga lya south Sudan. Omuliro gw’afiiriddemu gukutte katale e Nimule. Omugenzi ategerekese nga Geofrey Olwenyi nga we Nebbi. Ayogerera poliisi mu bitundu bye Aswan Patrick jimmy okema, atubuulidde nti ono omulambo gwe gusangiddwa gwa guweddewo, era nga […]
Okuwalampa Rwenzori
Minisitule ekola ku byobulambuzi evuddeyo n’ekkubo eddala mw’enaayita okutunda eggwanga. Bano bataddewo empaka z’okuwalampa olusozi lwa Rwenzori. Amyuka akulira ekitongole ekikola ku kutumbula ebyobulambuzi mu ggwanga John Sempebwa agamba nti kino kikoleddwaako ne mu mawanga amalala era negabuuka n’omudidi gw’ensimbi. Kawefube ono wakubaawo nga 17 […]
Eyavvoola pulezidenti atanziddwa
Omusajja eyagaana okuviira oluseregende lw’emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga atanziddwa emitwaalo 50. Simon Musimenta alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku Buganda road Sanyu Mukasa era n’akkiriza emisango. Abadde avunaanibwa emisango ebiri okuli ogw’obutaviira motoka za pulezidenti n’okuvuga mu ngeri enkyaamu. Oludda oluwaabi lugamba nti ono ng’ali […]
Ebye Mulago bikyaali byampuna
Ebinaava mu kwekebejja omulambo gw’omwana akayaanirwa abazadde abagamba nti omwana waabwe yakyusiddwa mu ddwaliro e Mulago byakufuluma mu ssabbiiti emu Omulambo gw’omwana ono gwakoleddwaako endagabutonde oluvanyuma lwa bazadde b’omwana okulumiriza nti omwana waabwe mulamu Fred Sanyu ne Lovinsa Atwongire bagamba nti bazaala omwana waabwe nga […]
Lwakataka azzeeyo mu kkomera
Eyali omuvuzi w’emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka neera wakusula mu kkomera. Kkooti e Masaka eyongezezzaayo okuwulira okusaba kwe nti yeyimirirwe okutuuka nga 15 omwezi ogujja. Oguvunaanibwa Lwakataka gwakutta abantu mwenda aba famile emu mu disitulikiti ye Rakai Munnamateeka we Hassan Kamba agamba nti omuntu we mulwadde […]
Aba Paaka Yaadi babatabukidde
Abasuubuzi mu katale ka Paakayaadi basabiddwa okukaamuka mu bwangu. Omwogezi wa KCCA Peter Kaujju agamba nti abasuubuzi bano tebasaanye kuyigulwa Muntu yenna kubanga tebajja kukkiriza katale kano kukola Bino bizze nga n’abasuubuzi bawera nti tebalina gyebalaga nga bagamba nti tebasobola kusasula mitwaalo 25 ne 30 […]